القسم الحالي: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI
الدرس OKUFUNA OKUBI NE NKOLEGANA ZE BYE'NSIMBI EZA AGAANIBWA
Okufuna muli mukwo ekyo ekirungi ekikkirizibwa, era muli mukwo okubi okutakkirizibwa, Allah yagamba, "abange mwe abakkiriza muweeyo mweebyo ebirungi byemufunye neebyo byetubafulumirizza okuva muttaaka (ebimera), temugenderelamu ebibi mubyo nti byemuba muwaayo
Ne muhadiith ya abuhurairah Allah asiime kuyee, mazima Nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti: «ekiseera kigenda kujja eri abantu, nga omuntu tafaayo biki bya jjamuu ssente (era azijjjawa) ziva mu halal oba ziva mu haraam? (al bukhari 2083)
kweekulya emmaali ya bantu mu bukyaamu, oba okufuna mumbeera sharia jeeziya
AMAKUBO GO KUFUNA OKUBI
ENSONGA EZIKULEEMBERA OKUFUNA OKUBI
Obubi bwo kufuna okubi
Emiteeko gye bitakkirizibwa mu nkolegana ze bye'nsimbi
Ebitakkirizibwa mu bintu
Buli ekiri haraamu nga Kyo kyennyini;nga ennyama ye kintu ekifudde kyokka,Omusaayi(ogwa kafekye) Ne nnyama ye mbizzi,nebikyaamu,nebiri nagisi nebilala,era biri mubintu omwoyo gwe bigaana mu butonde (naturally) ebyesittaza omwoyo). Allah yagamba nti:{gamba siyina kyensaanga mu binzisimbwaako mu byokulya ebiriibwa nga biri haraamu okujjako ekifudde kyokka, Omusaayi omufu(ogwa kafekye) ne nnyama ye mbizzi ebyo bikyaafu oba bwoononefu----} {Al aniaamu:145}
Buli nkolagana yonna eya wukana no busiraamu: nga riba,no kuzannya zzaala,no kukuumpanya, nebilala webityo ebirimu obulyaazaamaanya eri abaddu no kulya emmaali za bantu mu bukyaamu no muteeko guno omwoyo gugwaagala,kyetaagisa okukinafuya,nekibonerezo ekiziyiza okukigwaamu. Allah yagamba nti:{mazima abo abalya emmaali za bantu mu bulyaazaamaanya mazima balya muliro mu mbuto zaabwe era bajja kutuuka mu muliro}[Nissa:10],Era Allah yagamba nti:{Abange mwe abakkiriza mutye Allah muleke ekyo ekiba kisigadde ku riba wemubanga muli BAKKIRIZA(278) wemubanga temukikoze awo mulangilire olutalo ku Allah no mubaka we [278,279]