Ekitundu ekiriwo kati: AMAKA AMASIRAAMU
Omusomo Amateeka ga kakwaate wakati webikula ebibiri
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Sharia yo busiraamu yafaayo okuteeka ensonga za bantu mu mbeera nyiingi (fields),ne mweebyo ku ludda lwe nkolagana wakati wa basajja na bakazi, Allah yakola ekisajja ne kikazi nga buli ludda lusikiriza olulala,ne biva mu kusikiriza kuno bibeera bilungi mu mateeka na kuwasa,ekitali ekyo mazima kibeera mulyango gwa bibi na kikemo ekisiinga ebikemo, omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:"siyina kyendese luvannyuma lwange kikemo nga kyekisiinga omutawaana eri abasajja okusiinga ekikemo kya bakazi "(Al-bukhari 5096,ne muslim 2741)
Ekya kabenje ekisiinga okukwaatagana okubeera wakati wo musajja no mukazi kyekatwaalamu kwekugwa mu bwenzi,ne sharia entukuvu teyalekeraawo kuziyiza bwonoonefu buno, wabula yaziyiza nokubuseemberera obusemberezo,ne ntandikwa zaabwo, neekyo okutwaala gyebuli, Allah yagamba:{temuseembereranga obwenzi mazima kyo kya buwemu era kkubo bbi}[Al-isra: 32], ne nabbiصلى عليه وسلم yagamba nti:«amaaso abiri okweenda kwaago kutunula,na matu abiri okweenda kwaago kuwulira,no lulimi okweenda kwaalwo kwogera,no mukono okweenda kwaago kukwaata,no kugulu okweenda kwaalwo kutambula,no mutima gwagala ne gwegoomba ebyo ne bikakasibwa obwereere oba ne bubiliimbisa»(Al-bukhari 6243,ne muslim 2657,ne njogera yiye).
Okululunkana Kwa sharia entukuvu eri obutagwa mu kukyama kwonna oba ensobi ebisobola okuvaamu emitawaana eminene (serious consequences) yateekawo(sharia) omuwendo mu mateeka (principles) mu nkolagana ya basajja na bakazi mweebyo ebikowoola eri obwetaavu/ebirimu obwetaavu; nga okutunda no kugula nebitali byo mu nkolegana ezikkirizibwa oba eza nakola ntya:nga okujjanjabibwa kwo mukazi ewo musawo omusajja nga waliwo ekisonyiyisa Kyo butabeerawo kwo musawo omukazi,ne mu mateeka (principles)gano:
Okukakkanya amaaso
Okweewala okukwaata oba okukwaatagana mu ngalo
Okweewala okweyawula okute(okubeera no mukazi mwekka)
Waliwo amateeka ageyawulidde omukazi omusiraamu, kyatteeka kuyye okugatambulirako/okugekuumirako wewabaawo obwetaavu okukolagana(okwatagana) na basajja
Kyatteeka omukazi omusiraamu okwekuumira ku mateeka ge kyambalo kyo busiraamu,nga kuteeka mu nkola kiragiro Kya Allah, oluvannyuma okuwaliriza abasajja okumawa ekitiibwa no butamunakuwaza(kunyiizibwa);ne kikolwa oba ne kigambo oba no kutunula, Allah yagamba nti:{era gamba abakkiriza abakyala bakakkanye amaaso gaabwe era bakuume obwereere bwaabwe teboolesa byakwewunda byaabwe okujjako ebyo ebyeyolese mu byo bateeke ebikaaya ku byambalo byaabwe ( juuyuubu)[Nuru:31],era Allah yagamba nti:{owaaye nabbi gamba bakyala bo ne bawala bo ne bakyala ba bakkiriza babeere nga bebikkirira ebikaaya byaabwe ,ekyo kyekyanguwa okuba nga bamanyika (nti bakitiibwa )olwo nno baleme kunyiizibwa .okuva edda Allah yali muyitirivu wa kusonyiwa era nga muyitirivu wa kusaasira}[Al-ahzab:59].