القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU
الدرس Empisa zo kwogereza
Okwogereza kwe kulangirira kwo musajja eri avunaanyizibwa ku mukyala nga ayagala obufumbo gyaali ku nkola ya Allah ne kunkola yo mubaka weصلى الله عليه وسلم.
Mu byengera bya Allah -okuteekerawo okwogereza empisa mukko mwemuli okusiima no kuloonda okulungi no butebenkevu,ne kuyaamba buli omu okukwaatagana no mulala.
Mu mpisa zo kwogereza
1.omusiraamu obutogereza mu kwogereza kwo musiraamu omulala.omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba:"omuntu tatuunda mu kutunda Kwa muganda we,era tayogereza mu kwogereza Kwa muganda we, okujjako nga amuwadde olukusa"(Al-bukhari 5142,ne muslim 1412).
Okutunula ku gwa'yogereza kweebyo ebimusikiriza eri obufumbo, omubaka صلى الله عليه وسلم weyagamba mughiirah bun shu-ubah mu kaseera weyayagala okwogereza:"mutunuulire kubanga kiyinza okuleeta enkolagana wakati wammwe "(tirimith:1087),no kutunula kwooyo ayogereza era ddeembe lya mukazi (no mukazi ayina eddeembe okutunula kwooyo amwogereza),era abamanyi abamu bagenda ne kigamba nti era naye agwaana ekyo(okutunula ku musajja).na makulu ge kigambo nti kiyinza okuleeta enkolagana wakati wammwe: omukwano guyiinza okubeerawo lubeerera wakati wammwe.
Ne Hadiith nga eva ku jabir bun Abdullah mazima omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:omu mummwe waaba ayogerezza omukazi waaba asobodde okutunula kweebyo ebiyinza okumuleetera okumuwasa akikole", jabir nagamba nti nenjogereza omuwala namwekweeka nga okutuusa wennalaba ekinsikiriza okumuwasa awo ne mmuwasa,(Abu dauda 2082).
Mu mpisa zo kutunula kwooyo gwe bogereza
Mu mpisa zo kwogereza ezisiinga obukulu omusajja no mukazi kwekulongoosa okulondoola kwaabwe(okuloonda omukyala oba omwaami)nga beesigama ku misingi emituufu egyo egiziimbirwaako amaka agalimu emirembe no kunyweera (stability)no butebenkevu nga Allah akkirizza.
Mu mpisa zo kwogereza omusajja kwekululunkana okuwasa omukyala omuzaazi nga ayagala ayiinjiwaze ezzadde eddoongoofu, omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم weyagambira nga alaamira:"muwase abakazi abayina omukwano abazaazi;njakwenyumiriza mu muwendo gwammwe omunene mu maaso ge mirembe egya sooka (egya kulembera) ku lunaku lwenkomerero"(Abu dauda 2050).
Okweebuuza(consultation) no kweebuuza ku Allah no kusaba, omusiraamu yeebuuza ku mulezi we na musaba, era neyeebuuza ne ku bannannyini ku tegeera no kulunggamya mu mbeera zonna, okusalawo okuwasa kusalawo kukulu mu bulamu bwo muntu, ayina okukola kyonna mu kweebuuza no kweebuuza ku Allah no kusaba.
Enjuuyi zoombi ziyinza okubeera mu ddaala elya waggulu mu bweelufu na mazima mu kunnyonnyola ensonga ne mbeera zonna (situations), tewali kamogo kayina kukweekebwa oba okugenderera okuliimba ebyo ebinaakosa enkolagana wakati wenjuuyi ebbiri mu maaso (future) oluvannyuma lwo kuwasa.
Okulondoola ennamula na mateeka aga sharia agakwaatagana ku kwogereza,kuba kusuubira kuwasa tekuba kuwasa, tekikkirizibwa ku kwaatagana mu ngalo wadde okweyawula (nemubeera mwekka) wadde okugoonza mu bigambo oba okweekuba akawoowo no kwewundira oyo ayogereza.