تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU

الدرس Ebivunaanwa (Rights) bya bazadde ababiri

Tumanya mu musomo guno ekitegezebwa mu kuyisa obulungi abazadde ababiri neb bimu kubikukwatako.

. okunnyonnyola obunene bwe kifo kya bazadde ababiri mu busiraamu..okukubiriza eri okuyisa obulungi abazadde ababiri no kweewaza obutabanakuwaza.. okumanya ebyeteeka bya baana ebikulu eri abazadde ababiri.. okunnyonnyola ezimu ku mpisa mu kukolagana na bazadde ababiri.

Ekifo kya bazadde ababiri mu busiraamu

Obusiraamu bwaagulumiza abazadde ababiri olugulumiza olusiinga obunene,nebulilaanyisa okulongoosa gyebali ne nsonga esiinga obunene mu busiraamu nga kwe kwawula Allah, Allah yagamba nti:{yasalawo omulezi obutabeerako Kye musiinza okujjako yye na bazadde ababiri okubayisa obulungi}[Al-isra:23]. Allah yafuula abazadde ababiri ensonga yo kubeerawo kwa baana bo bulenzi nabo buwala,mu mbeera yonna abaana gyebagezaako(okulongoosa eri abazadde) tebasobola kuzza kintu kyonna mu bulungi eri abazadde okusinziira ku bulungi bwa bazadde eri bbo, wadde okubasasula kulwebyo byeyabasaanza omuli okukoowa no kunakuwala,no buteebaka no kuyimilira,no kuwummula okutono,olwo kuwummula kwa baana baabwe,ne mu kkubo lyo kubaluunda no kubafaako.

Nemu bwenkanya bwa Allah kwekugerera ba taata (abazadde) emigabo ku baana baabwe, nga kubasasula olwa kaweefube omulungi gwe bakola mu kkubo lyo kubalabilira, Allah yagamba nti:{era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bazadde be}[Al-Ankabuuti:8], era Allah yagamba:{kolegana nabo mu nsi mu mbeera ennuungi}[Luqman:15],omu ku baswahaba weyabuuza nabbi صلى الله عليه وسلم : owaaye omubaka wa Allah, muntu ki gwennina okusiinga okuyisa obulungi? nabbi صلى الله عليه وسلم namugamba nti:«maama wo» omusajja namugamba nti oluvannyuma ani gwemba nzizaako? nabbi nagamba nti:«maama wo» omusajja namugamba nti oluvannyuma ani gwemba nzizaako nabbi namugamba nti «maama wo» omusajja namugamba nti ani gwemba nzizaako nabbi namugamba nti:« taata wo »(Al-bukhari 5971,ne muslim 2548).

Obulungi bwo kuyisa obulungi abazadde ababiri

Okuyisa obulungi abazadde kyatteeka,era kikakata ku baana,mu kubayisa obulungi mulimu empeera nnene, nga ye nsonga eviirako yo kujja kwo mukisa ne riziki,era ye nsonga yo kuyiingira ejjana ku nkomerero, nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:"ennyiindo ye eveeko,ennyiindo ye eveeko:nabuuzibwa nti ani owaaye omubaka wa? nagamba nti oyo yenna asaangawo bazadde be mu bukadde bwaabwe,omu ku bombiriri oba boombi, oluvannyuma natayiingira janah "(muslim 2551).

No kuyisa obulungi abazadde ababiri gumu ku milimu egisiinga era egisiinga okwagalwa ewa Allah: Abdullah bun masuud Allah asiime kuyye yabuuza nabbi صلى الله عليه وسلم : mulimu ki ogusiinga okwagalibwa ewa Allah? nabbi nagamba nti:« esswala mu biseera byaayo», Namubuuza oluvannyuma mulimu ki oguddako? nabbi nagamba nti:«okuyisa obulungi abazadde ababiri »namubuuza oluvannyuma mulimu ki oguddako? nabbi nagamba nti :«okulwaana mu kkubo lya Allah »(Al-bukhari 527,ne muslim 85).

Okuyisa obulungi abazadde ababiri kyankizo okusiinga jihad eya Sunnah, mazima omusajja yajja eri nabbi صلى الله عليه وسلم nagamba nti nwaane jihad? nabbi namugamba nti:“oyina abazadde?" omusajja nagamba nti:yye, nabbi namugamba nti:nti "mubbo mwooba olwanira(bayise bulungi eyo ye jihad yo)".(Al-bukhari 5972,ne muslim 2549).

Okunakuwaza abazadde

Okunakuwaza abazadde ababiri kiri mu mazambi agasiinga obunene,mu Hadiith mazima nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:"amazambi agasiinga obunene:" okugatta ku Allah no kunakuwaza abazadde ababiri ---"(Al-bukhari 6919,ne muslim 87).

Ebyetteeka bya baana eri abazadde

١
Okubagondera mweebyo byebalagira nabyo mu bulungi ebbaanga lye kimala nga kiri mu busobozi(nga omwaana akiyinako obusobozi), wabula siinga bamulagira mu okukola obujeemu tabagondera mubbwo(obujeemu),kuba tewali kugondera kitonde mu kujeemera omutonzi.
٢
Okubeera nabo mu bulungi newebaba beeyisizza bubi eri omwaana, abaffe waliyo okuyisa obubi okusiinga okumukowoola eri okugatta ku Allah no kubeera mu muliro paka? nabweekityo Allah yagamba nti:{webaba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo kyatalinaako kumanya tobagonderanga,naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi}[Luqman:15].
٣
Okubafaako no kulongoosa gyebali, ekyo kubeerawo nakukola ebika byo kulongoosa byonna no buweereza no kugonda,no kubaagala no kukolagana nabo mu mpisa ezisiinga obulungi.Allah yagamba nti:{Allah yasalawo omulezi obutabeerako Kye musiinza okujjako yye na bazadde ababiri okubayisa obulungi}[Al-isra: 23].
٤
Obutabanakuwaza(obutabanyiiza)oba okwonoona gyebali(okweyisa obubi gyebali) ne kintu ekisembaayo wansi mu bika byo kunakuwaza, wadde ne kigambo "kyokubeeganya"no kusiingira ddala mu mbeera yo bukadde bwaabwe, Allah yagamba nti:{siinga omu kubbo oba bombiriri akaddiwa nga wooli tobagambanga ekigambo kyo kubenyinyala(okubeeganya) tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo ebye'nsa}[Isra :23].
٥
Okukakkanya ebiwawatiro /okubeetowaliza no kwekakkanya mu maaso gaabwe,Allah yagamba nti:{beetoowalize era wekkakkanye gye bali olwomubasaasira era gamba ayi mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga webandera nga ndi muto}[Isra:24].
٦
Okubeebaza lubeerera no kulabawo(recognition) obulungi bwaabwe, Allah yagamba nti:{era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi abazadde be bombiriri nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu era nga okumujja ku mabeere(kubaawo) mu bbaanga lya myaaka ebiri (era ne tumugamba) nti neebaza webaze era weebaze bazadde bo,gyendi yeeri obuddo(yewokudda).
٧
Okubalabirira(okubawa obuyambi) mu mbeera ennuungi (okusinziira ku mbeera ye kitundu nti endabirira yooyo ayina ebeera bweti neyooyo atayina nayo ebeera bweti), nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti «gwe ne mmaali yo muli ba kitaawo, mazima abaana bammwe ba bamu ku basiinga obulungi mu byemufuna,mulye mu baana bammwe byebafuna»(Abu dauda 3530).
٨
Okubasabira mu bulamu bwaabwe (nga bakyaali balamu) no luvannyuma lwo kufa, omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم : yagamba nti:"omuntu waafa emilimu gye gyonna gikutukawo okujjako emilimu esatu:saddaaka ekulukuta(nga okuziimba omuzikiti,okusiimba omuti,okusiima oluzzi nebifaanana bwebityo)oba okumanya kweyagasa nako,oba omwaana omuloongoofu amusabira"(muslim 1631).
٩
Okugulumiza(okuwa ekitiibwa)mikwaano gya bazadde ababiri oluvannyuma lwo kufa kwaabwe, Nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«mazima okuyisa obulungi okusiinga omwaana kwekuyuunga abantu ba mukwaano gwa taata we »(muslim 2552).

Empisa ezo eze tteeka mu nkolagana ya bazadde ababiri (mu kukolagana na bazadde ababiri)

١
Okuwuliriza okulungi gyebali ,no kubawa ebirowoozo mu kunyumya kwaabwe (ku mboozi yaabwe gyebanyumya) no butefuula bize(busy) kukkwo(okunyumyakwaabwe,emboozi yaabwe) ne kintu kyonna nga essimu ne kitali yyo
٢
Okwaanguwa okukola ekyo kyebagala nga tebannaba kukisaba,no kuggyawo buli kyonna ekiyiinza okubanyiiza nga tekinnaba ku batuukako.
٣
Okwaanguwa okwanukula okukoowoola kwaabwe,no kwoolesa okusiima na kwanukula no butakeerewa.
٤
Okuwaayo okuwabula okugonvu okwa magezi mu mbeera nga omu ku bazadde ababiri agudde mu bugyeemu/akoze ekyawukana na mateeka.
٥
Okwolekeza obugumikiriza no kulongoosa no kuwa ekitiibwa eri obukambwe(obukakanyavu) bwa bazadde no bulyazaamaanya bwaabwe -siinga buba bubaddewo-(okukola obugumikiriza no kulongoosa gyebali wadde bbo bakunakuwaza)
٦
Obutabeera waffujjo (sturbbon)eri abazadde no kubasomooza.
٧
Okuyitiriza okumweenya (smiling) eri ebyenyi byaabwe.
٨
Okubeera nabo mu nsonga zo muntu sekinnoomu no kuwa endaba yaabwe ekitiibwa.(okutuula nabo mu lukiiko ne muteesa no kuwa endaba yaabwe ekitiibwa).
٩
Okululunkana eri okwogera nabo no kunyumya no kubawa akabaanga(space okunyumya), kakibeere ku nsonga zo bulamu obuliwo(current affairs) wekiba nga kyebaagala.
١٠
Mu mbeera yo kwawukana olwe nsonga yo lugendo, kyatteeka ku mwaana okuwuliziganya nabo no kubatebenkeza.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار