Ekitundu ekiriwo kati: Omukyaala omusiraamu
Omusomo Ebivunaanwa(Rights) byo mukazi mu busi
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Eddiini eyo busiraamu eyekubidde oludda lwo kusinza Allah yekka yafaayo- no kuyigiriza kwaayo okuva ewa Allah no kulungamya kwe okwamagezi-ku mukazi omusiraamu,no kumukuumira ekitiibwa kye,no kukakasa ekitiibwa kye ne ssanyu lye,ne nsonga ezimuleetera essanyu lyo bulamu(happy life), okubeera ewaka(okweewala)ebifo ebyokuteeberezebwamu(areas of suspicion )ne bye bikemo ne bibi no bwononefu.ebyo byonna biva mu kusaasira Kwa Allah okunene eri omukazi yekka,ne kitundu (society) kyonna, okufaayo kuno kuyina ebifaananyi(ebyokulabirako) ebiwera
Okuwa ekitiibwa ne kifo ekya waggulu
Umar bun khatwaab Allah asiime kuyye agamba nti:"wallahi mazima twaali mu jahiriyyah nga tetubala (tetulabawo) bakyala nga nsonga, okutuusa Allah weyassa kubbo kyeyassa,nagaba byeyagaba"(Al-bukhari 4913,ne muslim 1479)ekitangaala Kyo busiraamu nekyaaka olubelyebelye lwe myaaka egisukka 1400, nebusitula (obusiraamu) ekifo kyo mukyala omusiraamu,ne bumujjako obulyazamaanya obwo obwaali bukolebwa amawanga ne bibina bya bantu,ne mweekyo mazima omukazi oba omukyala yali tagwaana kubaako na kikye, wadde okusika, omukyala yali asikirwa (nga kyabusika )oba nga ayokyebwa baawe (omwaami we) waaba afudde,nga wekyaali nti yali agulibwa no kutundibwa(nga kyamaguzi), embeera eno nesigala nga esasaanyizibwa-mu bungereza (England) ekyo kulabirako -okutuusa ku ntandikwa ye kyaasa ekya makumi abiri.
Obwenkanya wakati wo mukazi no musajja
Ensibuko/Ekikolo kyo kutonda
Obusiraamu bweenkanya wakati wo musajja no mukazi mu byetteeka bya sharia,ne mu kusasula ne mpeera zaabyo ku nsi ne kunkomerero, Allah yagamba nti:{oyo yenna akola omulimu omuloongoofu omulungi omusajja oba omukazi nga mukkiriza tugenda kumuwangaaliza mu bulamu obulungi tugenda kubasasula empeera yabwe ne kisiinga obulungi ku lwe'byo bye baakolanga}[nahl:97],era Allah yagamba:{oyo yenna akola omulimu mu milimu emilongoofu nga musajja oba mukazi nga mukkiriza abo bagenda okuyiingira ejjana era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono}[Annisaa:124], omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yabuuzibwa ku musajja asaanga obutolobevu(wetness) ate nga tajjukira nti yelooteredde(wet dream), omubaka nagamba nti:«anaaba», no musajja alaaba okwelooterera (wet dream) naye natasaangawo kutoba(wetness), omubaka nagamba nti:«tanaaba», maama sulaimu nagamba: omukazi waalaba ekyo ayina okunaaba? omubaka nagamba nti:«yye, mazima abakazi baganda ba basajja »(Abu dauda 236).
Nooyo eyasooka okukkiriza obubaka bwo mubaka صلى الله عليه وسلم yali mukyala,ye maama wa bakkiriza khadijah Allah asiime kuyye, abakyala bali mukuseenguka okwasooka okugenda mu Ethiopia era mu kibiinja ekyasooka okujja okuva e madiinah ne bawerera nabbi صلى الله عليه وسلم .
Omukazi awandiikibwako mu byafaayo byo busiraamu nga ebyo kulabirako ebya'kayakana, ebimanyiddwaako ebitendo ebirungi (ebitenderezebwa) no bugazi bwo kumanya kwabyo no kutegeera kwaabyo obubaka bwo busiraamu,yabeeraanga (omukyala)mu mbeera ezisiinga obunji nga musaale/akuleembera mu nsonga eno (field, mu kaseera abasiraamu webajja/webaafuna bingi mu nsonga ze ddiini yaabwe ku bakazi abasiraamu abamanyi abasaale/abakulembera mu kumanya ne mu kuyigiriza: akuleembera mubbo ye maama wa bakkiriza Aisha Allah asiime kuyye.
Era omukazi yetabika/yetaba no musajja mu nsinza ezekikuungo/ezaawamu,mu mbeera yo bwetteeka oba eyekyeyagalire oba ekkirizibwa; nga umrah ne hijja, ne sswala yo kusaba enkuba ne sswala ya idd ebbiri,ne sswala ya zi jjuma ne za jjamah, era omukyala alagirwa okukoowoola abantu okujja eri obusiraamu,no kulagira ebirungi no kuziyiza ebikyaamu,ne bitali ebyo mu byokulabirako ebyeyolefu mu kwenkanankana wakati wenkula ebibiri mu mukuteekebwako amateeka go busiraamu, tewali kijjibwaamu mweebyo okujjako ekiyina akakwaate okusinziira ku kwawukana kwo butonde bwaabwe bombiriri.
No busiraamu okuteekawo etteeka (principle) lyo kwenkanankana mu kuteekebwako amateeka ge ddiini nga etteeka elya'wamu, okujjako nga bulondoola enjawulo yo butonde wakati wenkula ebibiri,ne biva mu kwawukana kwe milimu (tasks),ne buteekawo enkola (obusiraamu)ku milimu gino ne buteeka buli omu mu kifo kye ekituufu, ekyo ekileetera obulamu okufuna obujjuvu mu bulamu, omusajja avunaanyizibwa ku kulabirira omukyala na baana,era Kimukakatako okubakuuma no kufaayo ku nsonga za bantu be nyyumba (family) zonna, omukyala avunaanyizibwa ku nyyumba ye ne ku mwaami we na baana be, ayina obuvunaanyizibwa obugwaana kuyye okweetikka(bwayina okweetikka).
Obusiraamu bwateerawo omukyala eddeembe lye nsi(citizen's right) ne lye mbeera ezaabulijjo ( social) ne lye mbeera ezo'buntu ,nga lye ddeembe elyaweebwa omukyala okuva mu ntandikwa yo bubaka olubelyebelye lwe myaaka egisukka mu 1400,nga ebibiina (ebitongole) bye nsi ne bilwanirira eddeembe ku mulembe guno nga tebinajja.
Ebivunaanwa byo mukyala (eddeembe, rights) byo mukyala ebye nsi ne bye mbeera ezaabulijjo ( social)
Ebivunaanwa (eddeembe, rights) byo mu mbeera zo buntu no mwaami
Neebyo ebikulembedde bya kulabirako bulabizi okunnyonnyola erimu ku ddeembe lyo mukazi mu busiraamu, wabula eddeembe sharia yo busiraamu lyeyamuwa liingi nnyo.