القسم الحالي: OKWEETUKUZA
الدرس Embeera ez'eyawulidde mu kweetukuza
Okusiiga ku sitookisi ez'eddiba wamu n'ezolugoye
Mu bwangu bw'obusiraamu kwe kuba nti busobozesa omusiraamu bwaaba afuna wuzu okusiiga n'ekibatu kye ekibisi ku sitookisi ze oba engatto ze ezibikka ekigere kyonna mu kifo ky'okunaaba ebigere, era ekyo kiriko obukwakkulizo obukifuga.
Kikkirizibwa okusiiga ku khufu (sitookisi ez'eddiba) wamu ne sitookisi ez'olugoye nga tufuna wuzu singa omusiraamu azambala ng'ayina wuzu (nga mutukuvu okuva eri ekizuusi ekinene n'ekitono).
Ebbanga lyetumala nga tusiiga ku sitookisi
Kikkirizibwa okusiiga ku ssitookisi nga tufuna wuzu naye mu kunaaba jjanaba kikata okunaaba ebigere mu mbeera zonna.
Tutandika okubala obudde bw'okusiiga ku sittokisi okuva ku lusiiga olusoose oluvanyuma lw'okumala ekyetaago
Ekintu kyonna ekisibwa ku kiyungo ekiba kimenyese oba nga waliwo ekiwundu kisobole okuyambako mu kuwonya amangu wamu n'okukendeeza ku bulumi.
Kimala okukozesa ekibatu ekibisi okusiiga ku bandegi singa wabaawo obwetaavu, obutayawulamu oyo afuna wuzu oba anaaba.
alina okunaaba ebitundu ebitaliiko bandegi, olwo ebibikkidwa ekiseminti ekyo nakiyisaako ekibatu kye ekibisi.
Ebbanga lyetukkirizibwa okusiiga ku bandegi
Omuntu asigala akkirizibwa okusiiga ku ki seminti oba bandegi ne bwekitwaala ebbanga ddene kasita waba nga wakyaaliwo obwetaavu bwaakyo, era kimukakatako okujjako bandegi anaabe ekiyungo butereevu singa aba nga awonye.
Okutayammama
Omusiraamu bwaaba tasobola kkozesa mazzi mu kufuna wuzu oba okunaaba olw'ensonga y'obulwadde oba obutabaawo bwa mazzi, oba nga amazzi gaalinawo gamumala kunywa kwokka: akkirizibwa okukozesa ettaka nga akuba tayammamu okutuusa lwaafuna amazzi, oba wanaasobolera okugakozesa.
Tutayammama tutya
Omusiraamu akuba ebibatu bye byombiriri ku ttaka olukuba lumu
Ayisa mu kyenyi kye eryo ettaka eriba lisigadde mu bibatu bye
Ayisa ku ngulu kw'ekibatu kye ekya ddyo ng'akozesa ekibatu ekya kkono na bweekityo ku kibatu ekya kkono