تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: OKWEETUKUZA

الدرس Ebikolebwa eby'obubumbwa

Allah yatondera omuntu ku bitendo eby'enjawulo eby'omuwendo ebimufuula asinga okuba ow'enkizo singa aba ng'abikoleddeko. Ogenda kutegeera mu musomo guno ebikolebwa eby'obubumbwa n'amateeka agabifuga

  • Okutegeera ebikolebwa nga bya mu bubumbwa
  • Okutegeera amateeka agafuga ebikolebwa eby'omububumbwa

Enkola ez'obubumbwa

Bino bye bintu Allah bye yatondera mu bantu, era ebyo omusiraamu singa aba abikoze abeera mujjuvu, n'asobola okubeera n'ebitendo ebisinga obulungi n'endabika esinga obulungi, lwa nsonga nti obusiraamu bwaatunuulira enjuyi ezendabika y'omusiraamu n'ezo ezimufuula omujjuvu n'abeera nga mulungi ku ngulu ne munda.

Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "obubumbwa bulimu ebintu bitano: okukomola, okusala ebyooya ku bitundu by'ekyaama, okukendeza ku masulubbu, okukendeeza ku njala, okujjamu ebyenkwaawa" hadith yafulumizibwa bukhari no.5891, ne muslim no.257. Era yagamba okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye: "bintu kkumi bya mu bubumbwa: okukendeeza amasulubbu, okukuza ekirevu, okusenya, okuyimunguzza mu nyindo, okukendeeza ku njala, okulongoosa enyigo ezaawula ebiyungo (kuba ziwagamiramu obukyaafu), okukunyuula eby'enkwaawa. Okusala ebyooya by'ekyaama, n'okutawaaza" swahaba eyayogera hadith yagamba:"eky'ekkumi nakyeerabira naye kiyinza kuba okuyimunguzamu kamwa. (Muslim yeyafulumya hadith ya 261)

Okukomola (okutayirira)

Okukomola omusajja kw'ekujjakko ekiriba ky'omutwe gw'obusajja, era okutayirira kusinga kukolebwa mu nnaku ezisooka nga muto. Okutayiyirira kye kimu ku bintu eby'omububumbwa ekyetteekwa ku basajja, era kulimu emigaso mingi egy'obulamu.

Okusala ebyooya by'ekyaama

Kwekujjawo ebyooya ebiba bikuze ku bitundu by'ekyaama ng'obisala oba mu ngeri yonna endala.

Okukendeeza amasulubbu

Okulekako amasulubbu kiri mu bintu ebikkirizibwa yadde nga tekikubirizibwa, omusiraamu singa aba agaleseeko alina obutagakuza kuwanvuwa nyo, era n'okugakendeeza nga.

Okukuza ekirevu

Obusiraamu bukubiriza okulekako n'okukuza ebirevu. Era obutabisala oba otambulira mu buufu n'enkola za nabbi muhammadi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye.

Okusenya

Kitegeeza okukozesa akati oba ekirala kyonna mu kuyonja amanyo, era kiri mu bintu ebikubirizibwa.

Okusalako enjala

Kisaanidde eri omusiraamu okukendeeza enjala ze zireme butafuuka kifo kikunganya bukyaafu.

Okukunyuula ebyenkwaawa

Kisaanidde eri omusiraamu okujjawo eby'enkwaawa ng'abikunyuula oba mu ngeri endala yonna kiyambeko obutavaamu kisu kibi.

Okunaaba enyingo z'ennwe

Kikubirizibwa omusiraamu okunaaba enyingo ezigatta ennwe z'engalo ze.

Okukozesa amazzi mu kutawaaza, n'okuyumunguza mu kamwa n'okufeesafeesa mu nyindo:

bino byaayogeddwaako mu mpisa z'okumala ekyetaago, ne mu kufuna wuzu

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار