Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Ekitundu ekiriwo kati: ESSWALA

Omusomo Obudde obutakkirizibwa kusaaliramu sswala za kyeeyagalire.

Waliwo ebiseera ebigaanibwa okusaaliramu esswala eza kyeeyagalire. Mu musomo guno ogenda kutegeera ebiseera bino.

  • Okutegeera ebiseera ebigaanibwa okusaaliramu esswala eza kyeeyagalire.

Ebiseera ebigaanibwa okusaaliramu esswala eza kyeeyagalire

Omusiraamu akkirizibwa okusaala esswala eza kyeeyagalire mu biseera byonna okujjako ebiseera ebyo obusiraamu byebwagaana okusaaliramu olw'ensonga ez'enjawulo: ebiseera ebimu abatali basiraamu babikozesa mu kusinza kwaabwe, ebimu biseera bya kuseesa mu muliro jahannam, ebirala enjuba eba esitukira mu mayembe ga sitaani, wamu n'ensonga endala, era omusiraamu tasaaliramu sswala okujjako okuliwa esswala ez'etteeka, oba okusaala esswala eza kyeeyagalire ezikolebwa olw'ensonga; ng'esswala y'okuyingira omuzikiti, naye kuno okugaana kukola ku kusaala kwokka, wabula okujjukira Allah, n'okumusaba (edduwa) byo bikkirizibwa buli kiseera.

Ekiseera ekisooka

Oluvanyuma lw'obudde bw'esswala ya subuhi okutuusa ng'enjuba evuddeyo era n'esitula amafumu gaayo agasooka nga galabika bulungi, era mu bitundu ebirina embeera y'obudde etakyuukakyuuka, kino kitwaala eddakiika nga (20).

Ekiseera eky'okubiri

Enjuba bweeba eri wakati w'eggulu okutuusa ng'etandise okutambula ng'edda ku ludda lw'ebugwa njuba, naye kano kaba kaseera katono ng'obudde bwa zuhuri tebunnayingirawo.

Ekiseera eky'okusatu

Oluvanyuma lw'esswala ya aswiri okutuusa ng'enjuba eguddeyo yonna.

Mazima omusomo ogumaliriza bulungi


Tandika ekibuuzo