القسم الحالي: ESSWALA
الدرس Okwaziina
Allah yateerawo abasiraamu okwaziina basobole okukowoola abantu n'okubategeeza nti obudde bw'esswala butuuse.
Okukima esswala kwo kuba kw'akutegeeza bantu nti esswala egenda kusaalibwa.
Azaani yateekebwaawo etya?
Abasiraamu webaatuukira e madiina, baalinga bakungaana mu kiseera ky'eswala nga tewali amaze kubakowoola, era lwaali lumu n'eboogera ku nsonga eyo: abamu nebagamba tufune ekidde ng'ekyaaba kulisitaayo, abamu nebagamba: tufune ejjembe nga lifuuyibwaamu ng'engombe ng'erya ba yudaaya, Umar n'agamba: lwaaki tetufuna omuntu n'akowoolanga abantu bajje basaale? Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye n'agamba: "owange bilal, situka okowoole abantu bajje basaale" (kitabo kya bukhari:604, muslim: 377).
Azaani n'okukima esswala biramulwa bitya
Azaani wamu n'okukima esswala bikakata ku basaala jjama so ssi kwoyo asaala yekka, era bwebagireka nga bagenderedde, esswala yaabwe etuuka naye nga bafunye omusango.
Kikubirizibwa okwaziina mu ddoboozi eddungi ng'ate lya waggulu abantu basobole okuwulira bajje basaale.
Omwazinyi mu kwaziina kw'esswala y'okumakya (subuhi) ayongeramu ekigamba nti (asswalaatu khayiru mina nnawum, asswalaatu khayiru mina nnawum) ekitegeeza (esswala nungi okusinga otulo) oluvanyuma lw'okugamba (hayya ala-l-falaah)
Okuddamu omwazinyi byaayogera.
Kikubirizibwa eri oyo aba awulidde okwaziina, okuddamu omwazinyi byaayogera byenyini, okujjako singa omwazinyi agamba (hayya ala sswala) oba (hayya ala-l-falaah) olwo yye addamu ng'agamba: (laa haula wala quwwata illa billahi), oluvanyuma lw'okwaziina asoma edduwa egamba: (Allahuma rabba hadhihi dda-a-wati ttaamma wa sswalaatil-qaa-ima, aati muhammada al-wasiilata wal-fadhiilata, wab-athuhu maqaama mmahmuuda alladhi wa-ad-tahu) etegeeza nti (owange gwe Allah nyini kukowoola kuno okujjuvu, era nyini sswala eno egenda okusaalibwa, nsaba nabbi wo muhammadi ekifo ekisinga okuba ekya waggulu kyebayita [wasiila] wamu nekifo eky'amanyi ekirala kyebayita [fadhiila] era omuzukiirize mu kifo ekitenderezebwa [mwagenda okuwolereza abantu] ekyo kyewamusuubiza).