القسم الحالي: OKUSIIBA
الدرس Okusiiba okwa kyeeyagalire
Allah yalaalika okusiiba omweezi gumu mu mwaaka, naye ate yatukubiriza okusiiba ennaku endala kwooyo awulira ng'asobola okuzisiiba, nga mu kkyo aba anonya mpeera ez'eyongera ku kusiiba okwetteeka, era nga mu nnaku eza kyeeyagalire:
Luno lwe lunaku olw'ekkumi mu mweezi gwa muharram (ogusooka mu mwaaka gw'obusiraamu), era lw'elunaku Allah lweyataasa Nabbi we musa emirembe gibeere ku yye ku mulabe we faraawo, omusiraamu alusiiba nga yeebaza Allah ku lwookuba nti yataasa Nabbi muusa , ate era tulusiiba nga tugoberera Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye kuba naye yalusiiba, era Nabbi bweyabuuzibwa ku kusiiba olunaku lwa ashura yagamba: "Allah asonyiwa amazambi g'omwaaka oguyise ag'oyo agusiibye" (hadith eri mu ktabo kya muslim:1162). Era kikubirizibwa okusiiba oluberyeberye lwaalwo olunaku olw'omwenda ng'era bwekyaava ku Nabbi Muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye nti yagamba: "nti singa mba mulamu okutuusa ku mwaaka ogujja nja kusiiba n'olunaku olw'emwenda" (muslim:1134)
Luno lwe'lunaku olw'omwenda mu mweezi ogwa dhul-hijja, gwe mweezi ogwe kkumi na bbiri ogusembayo mu mwaaka ogw'obusiraamu, ku lunaku luno ba hajji abagenze okukola hijja bakungaanira mu lusenyi arafa nga basaba Allah, n'okumusinza, era lwe'lunaku olusinga obulungi mu mwaaka gwonna, era kikubirizibwa ku muntu atali mu hijja okulusiiba, Nabbi Muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyabuuzibwa ku kusiiba olunaku lwa arafa yagamba: "Allah asonyiwa aba alusiibye amazambi g'omwaaka ogwaayita wamu n'oguddako" (muslim:1162)
Shawwaal gwe mweezi ogwe'kkumi mu mwaaka ogw'obusiraamu, Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omuntu asiiba omweezi gwa ramazan oluvanyuma n'agugoberezaako ennaku mukaaga mu mweezi gwa shawwaal abeera ng'asiibye omwaaka mulamba" (muslim:1164)
Swahaba abu hurayira atugamba: mukwaano gwange (Nabbi) yannaamira ebintu bisatu, ssibirekanga mpaka lwendifa: okusiiba ennaku ssatu mu buli mweezi, okusaala esswala ya kalasamayanzi (dhuha), n'okusaala witiri nga sinneebaka" (eri mu bukhari:1178, muslim:721)