القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU
الدرس Ekifo ky'amaka amasiraamu mu Busiraamu
Ekibiina kikolebwa n'akibinja ky’abantu ssekinnoomu abafaanagana mu muwendo; Ng’ensibuko, olulimi, ebyafaayo, n’ekisinga obukulu mu bwonna ye ddiini. Abantu bano ssekinnoomu bavu mu maka g’obufumbo wakati w'abaami n’abakyala, era nabo bakola amaka amapya agavaamu abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala abagenda okugenda mu maaso n’olugendo, era mu ngeri eno ekibiina kijja kusigala era kigenda mu maaso.
Obulamu obulungi obw’obufumbo gwe musingi gw’obulamu bw’ekibiina, era n’olwekyo kyetaagisa okufaayo ku musingi, nga guno gwe maka.
Newankubadde ng’omuntu mu butonde bwe, bwakuwangala n'abintu ebilaala, era tafuna kubudaabudibwa okugyako nga abeera mu kitundu kyokka ekirimu enkolagana eziwerako, alina okugabanya okwaagala n’enneewulira ezimu eri abantu abamu abatonotono, era nga gemaka. Amaka mu Busiraamu kye kitundu ky’embeera z’abantu ekirimu omusajja n’omukazi abagattibwa wamu olw’obufumbo obukkirizibwa, n’ezzadde erivaamu.
Obusiraamu bweyama okukuza n'okulabirira ekitongole kino, okutandika n’okukubiriza abantu okufumbirwa, okugenda mu maaso n’okukuuma eddembe ly’abaana, n’okumaliriza n’okulungamya enkolagana wakati w’abantu bonna mu maka agamu. Ensengeka eno ey’amaka kye kifaananyi ekimasamasa eky’abantu nga Allah Omugulumivu bwe yakigenderera.
Ekifo kya Amaka mu Busiraamu
Yasimba Allah Omugulumivu mu basajja n’abakazi okwegomba okw’obuzaale eri munne, era yafula obufumbo engeri entuufu ey’okutuukiriza okwegomba kuno, n'okuzaala, n’okukuuma ekika ky’omuntu. Obusiraamu bukubirizza obufumbo mu Qur’an Entukuvu ne Sunnah za Nabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku ye.
Okuzimba amaka g’Obusiraamu gw'esigamizimbwa ku mpagi bbiri enkulu:
Obuwagizi bw’eby’omwoyo
Mulimu okubudaabudibwa mu by’omwoyo, omukwano n’okusaasira ebiragiddwa mu kigambo kya Allah Omugulumivu: (Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.) (Ruum:21)
Okuyambako mu byesimbi
Kizingiramu okutuukiriza obulombolombo obubiri mu ndagaano ya niika, ne buli mufumbo okwewaayo okukola ebyetteka gyali, omuli okuwa obuyambi, okulabirira, n’okuyimirizaawo ebirungi by’awaka n’abaana.
Obusiraamu bukubiriza abafumbo bombi okwegendereza okukuuma enzimba eno n’okugikuuma, sikulwa nga egwa n’ebasaasaana abantu ssekinnoomu abali wansi w’ekisiikirize kyayo. N’olwekyo, ekubiriza obugumiikiriza n’okugenda mu maaso n’omukwano gw’obufumbo, ne bwe kiba nti tewali mukwano wakati w’abantu bombi. Allah Omugulumivu yagamba nti: {mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi.} [An-Nisa: 19].