تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU

الدرس Omubaka omwaami (husband)

Tumanya mu musomo guno oludda mu bulamu bwo mubaka صلى الله عليه وسلم mu makaage ne nkolagana ye ne bakyala be.

. okumanya embeera ya nabbi صلى الله عليه وسلم mu makaage.. Okumanya empisa eza'waggulu ezo nabbi صلى الله عليه وسلم zeyali awangaalamu na bantu ba makaage (bakyala be).. okugoberera nabbi صلى الله عليه وسلم mu nkolagana na bakyala.

Mu kigendererwa kya Allah okufuula ababaka be abantu; basobole okubeera nga kyakulabirako eri abantu mu kubagoberera(okubakoppa),no kweyisa mu mpisa zaabwe no kukola ebifaananyi emilimu gyaabwe, essanyu lyo musiraamu ku nsi ye ne kunkomerero ye libeera mu kugoberera ekitabo kya Allah ne Sunnah za nabbi weصلى الله عليه وسلم no kutambulira mu bigere bye(steps); nabweekityo kigwaanira omusiraamu okululunkana okumanya ebyafaayo bya nabbi صلى الله عليه وسلم ne nkola ye; asobole okulafuubana okubifaana(ebikolwa bya nabbi) mu buli mbeera ze.

Obulamu bwa nabbi صلى الله عليه وسلم mu makaage ne bakyala be kye kyo kulabirako ekisiinga eri abantu bonna, nga ye nabbi صلى الله عليه وسلم ekyo kulabirako ekyo ekigwaana buli mwaami ayagaliza famile obulamu obulungi ku nsi,no kuwangula ejjana ku nkomerero, Allah yagamba nti:{mazima ddala muyina ekyo kulabirako ekiringi mu mubaka wa Allah eri oyo yenna akkirizza Allah no lunaku lwenkomerero era naayogera nnyo ku Allah nga amuteendereza}[Al-ahzab :21].

Mu mpisa zo mubaka صلى الله عليه وسلم ezamaanyi ne bakyala be

Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye, mazima omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«abasiinga obulungi yooyo asiinga okuyisa obulungi mukyala we,era nze abasiinga okuyisa obulungi omukyala »(tirimith 3895) nabbi صلى الله عليه وسلم alagira abasajja mu kibiinja kye okulongoosa eri abakyala baabwe,natendereza (nawaana) oyo yenna akola ekyo, oluvannyuma nannyonnyola nti ye kyakulabirako mweekyo.

Okufaayo Kwa nabbi صلى الله عليه وسلم okuweweeza bakyala be no kukola byebaagala ebyo ebiri mu mateeka ( ebikkirizibwa nga okuzannya)

Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye, yagamba:“nalaba nabbi صلى الله عليه وسلم nga ambika essuuka ye, nga ntunuulidde abaddugavu(Abyssinians) nga bazannyira mu muzikiti okutuusa wennawulira nga ne'bowa(bored) kale ne nsiima(nennegomba) embeera yo muwala omuto ayagala ennyo okusanyuka"(Al-bukhari 5236,ne muslim 892),mu kugoberera omubaka صلى الله عليه وسلم omwaami okubeera nga ategeera,afaayo kweebyo mukyala we byayagala,asiima ebyetaago bye ebyo mwooyo ebikkirizibwa na bituukiriza gyaali.

Omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yabala(yateeka) okuzannya kwo musajja ne mukyala we mu kuzanya okukkirizibwa,najjawo okuzannya okuvumirirwa(okutakkirizibwa), nagamba صلى الله عليه وسلم nti:”buli kyonna omuntu kyazannya nakyo (kyazannyisa)kya bulimba, okujjako bisatu:okukanyuga okuva mu kasaale ke(okukuba ensaale) no kuteendeka embalaasi ye no kuzanya ne mukyala we, mazima byo byaddala"(Ahmad 17337).

Era kyanyweera okuva ku Aisha Allah asiime kuyye mazima ye yaliinga nga ne nabbi صلى الله عليه وسلم mu lugendo yagamba nti:namuvuganya (mu kudduka) ne musooka ku bigere (ne musiinga mu kudduka),wennasitula ekizito ne muvuganya nansiinga, nagamba nti "kuno(kuno olusooka/okusiinga) kwakuvuganya kuli"(Abu dauda 2578) nabbiصلى الله عليه وسلم yali azanyyisa bakyala be era nga abasaagisa obulamu bwo bufumbo tebusigala nga bubowa(bored).

Amagezi go mubaka صلى الله عليه وسلم mu kukolagana (enkwata)ne bizibu bya famile(amaka)

Tewali nyyumba mu mayumba etaliimu ebimu ku bizibu wakati wa bantu baayo(members), nabbi صلى الله عليه وسلم yatukubira ebifaananyi ebyewunyisa ennyo mu ngeri yo kukolagana ne bizibu bino: Hadiith nga eva ku Anas Allah asiime kuyye yagamba: nabbi yali owomu ku bakyala be,omu ku ba maama ba bakkiriza (omu ku bakyala ba nabbi) na'siindika essowaani eriko emmere,oyo omukyala nabbi صلى الله عليه وسلم gyeyali nakuba omukono gwo muwereza(oyo eyali aleese emmere), essowaani ne'gwa neyatika, nabbi صلى الله عليه وسلم nagatta ebitundu bye ssowaani eyatise, oluvannyuma natandika okukunngaanya emmere eyo eyali ku ssowaani,nga agamba nti:«maama wammwe obujja bumukutte»oluvannyuma nakwaata omuwereza okutuusa weyaweebwa essowaani yooli ali mu nnyumba ye (oli eyasiindise emmere), nabbi nawaayo essowaani ennamu eri oyo gwe bayasirizza essowaani ye,naleka enjase (gye bayasizza) mu nnyumba yooyo eyagyaasizza(5225).

Ekifuba kya nabbi صلى الله عليه وسلم tekyafuunda ku bikolwa ebyo ebifuluma olwempulira ezo butonde eza bakyala be oba abantu be nnyumba ye,yali akwaatagana nabuli mbeera nabukugu na magezi .neweyali nga embeera etegeeza kulwaana na kuyomba/kukayana, nabbi صلى عليه وسلم yali akyuusa embeera na magezi ge no butatambulira ku mpulira (emotions) no busungu,nakkakkanya obunkeenke(stress) era nga'wa obwenkanya enjuuyi zonna.

Nabbi صلى الله عليه وسلم yali akkirizza singa omukyala abeera munyiivu gyaali nakyolesa,ekyo nabbi nakyolekeza okulongoosa no kusaasira (ekyokunyiiga), Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye yagamba nti: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yangaamba nti:«mazima nze mmanyi wooba nga oli musiimu(musanyufu) gyendi,era newooba nga oli munyiivu gyendi (nga toli musanyufu gyendi)» Aisha yagamba nti: nenggaamba:okimanyiilawa ekyo (okimanya otya)? nabbi nagamba nti:«wooba nga oli musiimu (musanyufu)gyendi, mazima ogamba : nedda ndayira omulezi wa Muhammad,ate wooba nga oli munyiivu gyendi (nga toli musanyufu gyendi) ogamba :nedda ndayira omulezi wa Ibrahim Aisha yagamba nti: nenggaamba : wenggaamba wallahi owaaye omubaka wa Allah kituufu nsenguka erinnya lyo(weemba munyiivu gyooli)(Al-bukhari 5228,ne muslim 2439).

Okuwangaala okulungi okwa nabbi صلى الله عليه وسلم ne bakyala be

Nabbi صلى الله عليه وسلم yali ayambaanga abakyala be mu nsonga ze nnyumba ne milimu gyaayo;nga kubasaasira na kubawewulira ,era mu mpisa ze yali y'ewereza mu nsonga ze ezeyawudde.

Aisha Allah asiime kuyye yabuuzibwa nti: nabbi صلى الله عليه وسلم yakolangaki mu nnyumba ye? yagamba (Aisha):«yali abeeranga mu nsonga za waka (family business)-kitegeeza kuweereza bantu be -esswala weyatukanga yafulumanga nagenda eri esswala »(Al-bukhari 676),era Aisha yagamba mu Hadiith endala nti:«omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yali yelongosezanga engatto ze,natunganga engoyeze,nakola mu nnyumba ye nga omu kummwe bwakola mu nnyumba ye »(Al-bukhari 25341).

Mu bifaananyi (ebyo kulabirako) byo kwagala ennyo abakyala

١
Okubakowoola ne bigambo ebyo mukwaano .
٢
Okubaliisa emmere .
٣
Okulangirira okwagala kwaabwe .
٤
Okuwuliriza emboozi yaabwe no kugiteekako ebirowoozo (paying attention).

Okukoowoola abakyala ne bigambo ebyo mukwaano.(nabbi صلى الله عليه وسلم yayita mukyala we Aisha mu mbeera eyo mukwaano masala ku linnya lye namuyita Aaishi)

Mu Hadiith mazima ye nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba Aisha Allah asiime kuyye: owaaye Aaishi ono ye jibriilu(malaika)akutoledde ssalaamu »(Al-bukhari 3768).era yali amuyitanga "humairaa-u" nga kwekutoniya elinnya hamraa-u, ekitegeeza omweelu.

Omwaami okuliisa mukyala we

Hadiith nga eva ku Saad bin Abi waqaas Allah asiime kuyye mazima omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yamugamba nti «kyonna Kyo kyowaddeyo ebeera saddaaka, kakibeere kitole kya mmere ekyo Kyoteeka mu kamwa ku mukazi wo»(Al-bukhari 2742)

Okulangirira kwo mwaami okwagala mukyala we

Hadiith nga eva ku Amuru bin Al-Aaswi Allah asiime kuyye, mazima nabbi صلى الله عليه وسلم yamutuma okukulira ejje lya dhatsalsil, yagamba nti:nenggenda gyaali nenggaamba nti: muntu ki asiinga okwagalibwa gyooli? nabbi nagamba nti:«Aisha»(Al-bukhari 3662,ne muslim 2384).

Okuwuliriza emboozi yaabwe no kugiteekako ebirowoozo (paying attention)

Ne mweebyo ebilaga ekyo ye Hadiith ya ummu zaru-u empaavu,muyyo muli Aisha nga ayogera amawulire ga bakyala ekkumi no'mu(11 women) ,webaatula ne bawummula(ne batebenkeza) nga buli omu mubbo anyumya embeera ye no mwaami we, nabbi صلى الله عليه وسلم nasigala nga awuliriza Aisha okutuusa weyamaliriza ebyaaliwo wakati waabwe mu bujjuvu

Okwewunda kwa nabbi صلى الله عليه وسلم no kwelungiya eri bakyala be

Aisha Allah asiime kuyye weyabuuzibwa:"kintu ki nabbi صلى الله عليه وسلم kyeyatandikirako weyayingiranga mu nnyumba ye (ewaka we)? Aisha yagamba nti:"ku kusenya (yatandikiranga ku kusenya)"(muslim 253),era kyanyweera okuva kuyye (Aisha)-Allah asiime kuyye - mazima ye yagamba nti:«nali nkuba nabbi صلى الله عليه وسلم akawoowo na kowoowo akasiinga kennasobola okusaanga/okufuna okutuusa wennalaba obuufu bwa kawoowo ku mutwe gwe neku kirevu kye»(Al-bukhari 5923).

Obwesigwa bwa nabbi صلى الله عليه وسلم eri bakyala be

Nemu bifaananyi ( ebyokulabirako) byo bwesigwa (loyalty) buno, kyeekyo ekyabeerawo mu mbeera ya nabbi صلى الله عليه وسلم ne khadijah Allah asiime kuyye oluvannyuma lwo kufaakwe emyaaka(emyaaka egiwera),nemweekyo mazima zainabu muwala wa nabbi صلى الله عليه وسلم weyayagala okutaasa Abu Aswii -yali amuwasizza(yali mwaami we) nga obusiraamu tebunnajja yakwatibwa mu badri(olutalo)- (amutaase nga awaayo akakuufu)na kakuufu(necklace) ka khadijah Allah asiime kuyye (yawaayo akakuufu (necklace)ka maama we khadijah omusibe basobole okumuta) nabbi صلى الله عليه وسلم yatunulira akakuufu olutunuulira olugonvu ennyo, nagamba nti:« wemuba mulyabye nti kyekigwaana okuta omusibe we,ne mu muddiza ekyo ekikye» (2692). obwesigwa bwe bwagenda wala ekyaletera Aisha Allah asiime kuyye okumwatibwa obujja,ate nga teyamusanga oba teyabeerawo mu kaseera kamu naye, Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye yagamba nti: siyina gwenakwatibwa bujja mu bakyala ba nabbiصلى الله عليه وسلم,nga bwennakwatibwa ku khadijah, ate nga samulabako , naye nabbi صلى الله عليه وسلم yali ayitiriza okumwogerako(nga amwogerako nnyo),neweyasalanga embuzi nga agitemamu ebitundu, oluvannyuma nga abisindika(nga asindika ebimu ku bitundu bye nnyama) eri mikwaano gya khadijah, oluusi namugamba nti:ku nsi kulinga okutaliiko mukazi okujjako khadijah,ngagamba «mazima ye yali,ye yali namuyinamu abaana »(Al-bukhari 3818,ne muslim 2435).

Ebiraga obwenkanya bwa nabbi صلى الله عليه وسلم wakati wa bakyala be

١
Obwenkanya mu butuuze (residence)no kubeera,nga yye agabanya ebiro wakati waabwe mu kwenkanankana,era nga abetoloola bonna nga tewali kwawula , nga wewabeerawo ekizzeewo nga abasaba olukusa, Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye yagamba nti:(nabbi صلى الله عليه وسلم obulwadde we bwazitowa no bulumi bwe ne bweyongera ,yasaba bakyala be alwaalire mu nnyumba yange,ne bamukkiriza(abeere nga ajjanjabirwa mu nnyumba ya Aisha).(Al-bukhari 198,ne muslim 418).
٢
Okweenkanya kwe wakati waabwe mu lugendo,yali akuba akalulu wakati wa bakyala be,oyo yenna akasaaleke nga kafulumye nga gwafuluma naye(oyo yenna eyawangulanga oluvannyuma lwo kukuba akalulu gwe yagendanga naye mu lugendo)
٣
Nabbi weyawasaanga omukyala eyafuumbako yabeeraanga waali okumala ebiro bisatu okumubeesabeesa oluvannyuma namugabira ennaku ze nga abakyala abalala.
٤
Nabbi صلى الله عليه وسلم yali yenkanyankanya wakati wa bakyala be ku mugabo mu buli kyonna kyeyayinako obusobozi mu kulabirira nemu mmaali.

Okusiima kwa nabbi صلى الله عليه وسلم eri bakyala be no kubebuuzaako(consultation)

Tewali kisiinga kuba kyeyolefu mweekyo okusiinga okweebuuza kwa nabbi صلى الله عليه وسلم eri mukyala ummu salamah Allah asiime kuyye ku lunaku lwa hudibiyah,weyasaba abasiraamu okusala ebisolo no kusalako enviiri newatabaawo akikola mubbo,nayingira eri ummu salamah,namunyumiza ekyo kyasaanze mu bantu,ummu salamah nagamba nti: owaaye nabbi wa Allah,oyagala ekyo?fuluma toyogera na muntu yenna mubbo kigambo kyonna, okutuusa woosala enggamiya yo,oyite omusazi wo owe nviiri akusale, nabbi nafuuluma natayogera na muntu yenna okuva mubbo okutuusa weyakola ekyo:yasala enngamiya ye, nayita omusazi we owe nviiri namusala,webaalaba ekyo bayimirira ne basala ensolo,abamu mubbo ne batandika okusala enviiri bannaabwe "(Al-bukhari 2731).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار