تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: OKUSIIBA

الدرس Ebisiibulula

Waliwo ebisiibulula ebiwerako ng'omusiibi singa aba abikoze okusiiba kwe kufa, mu musomo guno ogenda kutegeera ebisiibulula bino

  • Okutegeera emiteeko gy'ebisiibulula

Eby'onoona okusiiba

Zino z'ensonga ezikakata ku musiibi okweewala nga yasiibye kubanga zzo zonoona okusiiba kwe.

Okulya n'okunywa

Allah yagamba: "mulye era munywe okutuusa lweneebeyolekera ewuzi enjeru (ekitangaala ky'okumakya) nga eva ku wuzi enzirugavu (ekizikiza) mu budde bw'emmambya okusala, oluvanyuma mujjuze okusiiba okutuusizza ddala ekiro" (essuula 2:187).

Oyo yenna alya oba nanywa nga yeerabidde; okusiiba kwe kuba kutuufu era taba namusango, nga Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: oyo yenna eyeerabira n'anywa oba n'alya nga yeerabidde, oyo yye ajjuze okusiiba kwe, mazima oyo Allah y'aba amuliisizza era n'amunyweesa" (eri mu kitabo kya bukhari 1933, ne muslim:1155)

2. Ebirala ebiri mu makulu geegamu ng'okulya n'okunywa.

١
Empiso ezirimu ebiriisa ebyo ebiyingira nebituuka mu mubiri gw'omuntu bimuwe amanyi n'ebyo ebikendeevu mu yye ng'omunyo, n'ebiriisa ebirala, mazima zino zibeera ng'okulya n'okunywa era bifuna ennamula y'emu nabyo.
٢
Omulwadde okuteekebwaako omusaayi: kubanga omusaayi kimu ku biriisa ebibeezaawo omubiri, omusaayi gulina ennamula yeemu n'emmere n'ebyookunywa.
٣
Okufuuwa ssigala n'ebibifaanana ky'ekimu ku bisiibulula; kubanga ebyo biyingira munda mu mubiri gw'omusiibi ng'emmere n'ebyookunywa.

3. Okweegatta n'omukyaala (omusajja okuyingiza obwereere bwe mu bw'omukyaala, oba afulumiza amazzi oba tafulumizza byonna kyeekimu.

4. Omusajja okufulumya amazzi ge agazaala ng'ayeeyagalidde; kisobola okuba lwa'ansonga ya kukwaata ku mukyaala, oba okweematiza (masturbation) n'ebirala

Naye okwelooterera okubeerawo ng'omuntu yeebase, kwo tekuli mw'ebyo ebisiibulula, era kikkirizibwa eri omusajja okunyweegera mukyaala we singa aba nga asobola okufuga obwaagazi bwe, naye bwaaba tasobola kubufuga olwo aba takkirizibwa kuba kiba kiyinza okuviirako okusiiba kwe okufa.

5. Okweekaka okusesema ng'ogenderedde

Naye ate oyo aba asesemye nga tagenderedde, oyo yye tavunaanwa, Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omusiibi yenna ebisesemye gwebiba bivuddemu (nga tayagadde), takakatwaako kuliwa lunaku olwo, naye singa aba yeekase okusesema olwo oyo aba alina okuliwa" (eri mu kitabo kya tirmidhi: 720, ne abu dawuda:2380)

6. Okuvaamu omusaayi gw'ensonga z'abakyaala, wamu n'ogwo ogufuluma ng'amaze okuzaala.

Oyo yenna aba avuddemu emisaayi egyo emisana nga yasiibye aba asiibulukuse, naye bwaaba nga avudde mu nsonga ng'emmambya emaze okusala okusiiba kwe tekutuuka olunaku olulala, ku lw'ekigambo kya Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba ng'alinga abuuza naye nga asomesa: "abaffe omukyaala oyo bwaaba agenze mu nsonga taleka okusaala n'okusiiba?" (eri mu kitabo kya bukhari:1951).

Naye omusaayi oguva mu mukyaala olw'obulwadde (ng'ekikulukuto), nga ssi gw'asonga ogwo ogubeerawo ennaku ezimanyiddwa (gyaali) mu mweezi, oba ogw'okuzaala ogwo ogumuvaamu ng'azadde, ogwo tegugaana mukyaala kusiiba.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار