Ekitundu ekiriwo kati: OKUSIIBA
Omusomo Baani Allah beyakkiriza obutasiiba mu ramadhan
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Allah beyakkiriza obutasiiba mu ramadhan
Oyo akkirizibwa obutasiiba, era aliwa ennaku zeyalya oluvanyuma lwa ramadhan, naye kino kikola ku mulwadde oyo asuubira okuwona.
Olw'obukadde oba obulwadde nga tebusuubirwa kuwona, oyo akkirizibwa obutasiiba naye aba alina okuliisa buli lunaku lwatasiibye masikiini omu, amuwa ekigero ekya kkilo emu n'ekitundu (1.5kg) ng'ajja mu mmere gyebalya ewaabwe.
Abo tebakkirizibwa kusiiba era nebwebasiiba tebikkirizibwa, naye era bbo balina okuliwa oluvanyuma lwa ramadhan.
Omukyaala ow'olubuto bwaaba attidde ku lw'obulamu bwe oba ku lw'omwaana we tasiiba naye aliwa , hadith eva ku anas bin malik okusiima kwa Allah kubeere ku yye agamba, Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yamugamba: "tuula nkubuulira ebikwaata ku kusiiba, Mazima Allah ow'ekitiibwa yakendeereza ku mutambuze ekitundu ku sswala, era n'asonyiwa omutambuze, ow'olubuto wamu n'ayonsa okusiiba" (hadith eri mu kitabo kya ibun maaja)
Bwaaba ng'atambula, ne bwaaba awummuddemu mu lugendo lwe ekitasukka nnaku nya, akkirizibwa obutasiiba naye n'aliwa oluvanyuma lwa ramadhan.
Allah ow'ekitiibwa agamba: "n'oyo abeera nga mulwadde oba ng'ali mu lugendo, alina okubala ennaku z'alidde n'aziriwa mu nnaku endala ezitali za kisiibo, Allah abaagaliza bwangu era tabaagaliza buzito" (essuula 2:185).