تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMATEEKA AGAFUGA OBUDDE BWO BUTITI (OBUNYOGOVU)

الدرس OBUTITI N'OKWELONGOOSA

Okwelongoosa mu kiseera ky'obututi kilina amateeka ag’enjawulo. Ojja kuyiga mu ssomo lino ebimu ku byo .

  • Okuyiga engeri oy'okwelongoosamu mu kiseera eky'obutiti.
  • Okuyiga agamu ku mateeka gw'osiiga ku sitookisi.
  • Okuyiga engeri ya tayamam.

Obuyonjo bw'amazzi gw'enkuba

Amazzi g’enkuba mayonjo era galongoosa. Allah yagamba nti: {Era twakka okuva mu bbanga amazzi amayonjo} (Al-Furqan: 48). Mu ngeri yemu ebyo ebisigala ku ngoye n’engatto z’abasaaze okuva mu bisigaridde by'amazzi ku ttaka oba kolaasi w’enguudo biyonjo.

Okuwaavuya wudhu mu mbeera ennyogovu ey’obutiti:

Okuwaavuya wudhu wadde amazzi gonnyogoga oba agookya, kikolwa kya kusinza Allah. Nabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti: “Nbalungamya ku kintu, Allah ky’asangula ebibi n’okusitula amadaala?” Ne bagamba nti: “Yee, owange gwe Omubaka wa Allah.” Yagamba nti: “Okuwaavuya wudhu mu mbeera ezibu, n'ekutambula ogenda eri omizikiti, n’okulinda esswala emu oluvannyuma lw’endala.Eyo ye ribat.” (Muslim 251). Okukola wudhu mu ngeri etuukiridde kitegeeza okugimaliriza.

Emu ku nsobi kwe kulagajjalira okunaaba ebitundu by’omubiri okwewala okunnyogoga kw’amazzi okugeza. Ojja kusanga abantu abamu nga tebamaliriza kunaaba mu maaso oba nga bamativu n’okugisiimuula, oba obutamaliriza kunaaba mu ngalo oba ebigere. Kino tekikkirizibwa, era kikakatako okumaliriza wudhu yaabwe bwe baba nga basobola. Bwe kitaba ekyo, balina okukozesa amazzi agabuguma oba ekintu ekifaananako n’ekyo.

Kikkirizibwa okubugumya amazzi ag’okunaaba mu biseera by’obutiti, era kino tekikendeeza ku mpeera. Era kikkirizibwa okukaza ebitundu by’omubiri oluvannyuma lw’okufuna wudhu, era kino tekikendeeza ku mpeera. Bw’aba ajja kutuusibwako obulabe olw’obutakola kino oba ajja kugwa mu buzibu mu kukola wudhu mu bujjuvu, olwo tasaanidde kukikola.

Tayammum:

Tayammum ye muntu okukuba ku ttaka n’emikono gye, oluvannyuma n’asiimuula mu maaso ge, oluvannyuma n’asiimuula omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono, oluvannyuma n’asiimuula omukono gwe ogwa kkono n’omukono gwe ogwa ddyo.

Tayammum alagirwa ddi?

Tayammum elagirwa nga tewali mazzi n’akatono, oba ng’amazzi matono naye ng’omuntu agetaaga ate nga tewali mazzi kumpi, oba nga okufana wudhu kilimu obuzibu bungi kulwo bunyongovu obujji oba obulwadde.

Okusinga ku kufayin oba ku sitookise;

Okusiimuula ku masokisi: kitegeeza nti omuntu ayambadde akagatto (engatto ey’amaliba nga zibikka ebigere) oba sitookisi oba ekintu ekifaananako bwo mubwo ebibikka ebigere byonna, ng’ali mu mbeera ey’obulongoofu obujjuvu okuva mu bucaafu obutonotono n’obuneene. Singa asiimuula omutwe n’amatu ng’afuna wudhu, tekimwetaagisa kuggyamu sitokisi okunaaba ebigere. Wabula, alina okusiimuula waggulu w’ebigere bye nga ali musitookise ze.

Obukwakkulizo bw’okusiimuula ku kufayin oba sitookisi okubeera omutuufu

١
Okubeera nga ntukuvu
٢
Okuba nga zibikka ebingere
٣
Era Omusiraamu alina okuzambala ng’amaze okufuna wudhu mu bujjuvu, mw’anaaba ebigere.

Ebbanga ly’okusiimuula ku sitookisi

Emisana n'ekiro eri omutuuze (essaawa 24).
Ennaku ssatu n'ekiro eri omutambuze (essaawa 72).

Kitandika ekiseera ky’okusiimuula ku kufayini neku sitookisi oluvannyuma lw’ekizuusi.

Tekikkirizibwa kusiimuula ku sitookisi eri omuntu eyazambadde nga si mutukuvu ddala, oba eri omuntu ng’ekiseera kye eky’okugasiimuula nga kiwedde, oba eri omuntu alina okunaaba janaba oba ebirala ebiringa ebyo). Ekyetaagisa kwe kuziggyako n’okwetukuza, wamu n’okunaaba ebigere.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار