Ekitundu ekiriwo kati: OKUFA N'OKUWEREKERA OMUFU
Omusomo Okusaalira omufu n'okumuziika
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Esswala y'omufu ekakata ku basiraamu abaliwo mu kiseera ky'okufa kw'omusiraamu si ku muntu omu mu bbo, yyo yatteeka ey'okumalira nti (abamu bwebamusaalira abaasigadde tebafuna musango). Era Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yasanyusa abasaalira omufu nti bbo balina empeera eyenkanankana n'olusozi olunene, yagamba: "omuntu abeera ku mufu mpaka lw'amusaalira afuna empeera ezenkana kiiraat, ate oyo abeera ku mufu mpaka n'amuziika yye afuna kiiraat bbiri", n'abuuzibwa nti: kiiraatu ebbiri z'ezitya? N'agamba: "kipimo ekyenkana ensozi bbiri ennene" (bukhari:1325, muslim:945)
Obulungi obuli mu kubeera ewali omufu
1. Kikubirizibwa okusaala esswala y'omufu mu kikungo, era imaam abeera mu maaso g'abo baakulembera mu kusaala nga bwekibeera mu kusaala okwaabulijjo.
Omufu ateekebwa mumaaso g'abasaaze nga batunudde mu kibula, imaam ayimirira ng'atebedde mu mutwe gw'omufu omusajja, ate ku mukyaala wakati we, nga nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyakola. (Abu dawuda:3194)
-
Takibiira esooka
Takibiira ey'okubiri
Takibiira ey'okusatu
Takibiira ey'okuna
Kikkirizibwa okusaalira esswala y'omufu mu muzikiti, oba mu kifo ekirala ekyateekebwaawo okusaalirwaamu abafu wabweeru w'omuzikiti, oba okugisaalira mu limbo ewaziikibwa, bino byonna Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yabikola.
Enkola ya Nabbi entuufu kwe kwanguya mu kuteekateeka omufu, n'okumusaalira, atwaalibwe ewaziikibwa aziikibwe. Hadith eva ku abi hurayira Allah asiime ku yye, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "mwanguye okuteekateeka omufu mumuziike, bwaaba mulongoofu muba mumuweereza mu birungi, bwaaba mwonoonefu, olwo nno kiba kibi kyemwejja ku bibegaabega byammwe" (bukhari : 1315, ne muslim:944).
Ensonga z'etulina okufaako nga tuziika omufu.
Kikubirizibwa eri abo ababa baziise okusabira ku mufu oluvanyuma lw'okumuziika Allah okumunyweeza era n'okumusonyiwa, Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yali nga bwaamala okuziika, ayimirira kumpi n'entaana n'agamba: "musabire muganda wammwe, era musabe Allah amunyweeze, mazima ddala yye kati abuuzibwa" (abu dawuda:3221).