Ekitundu ekiriwo kati: Kawumpuli n'endwadde
Omusomo ENNEKUUMA EZO BUSIRAAMU
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
OKWEKUUMA KWO BUSIRAAMU OKULALA:
nga obunkeenke bulinnya wakati wa bantu eri endwadde ne bibaampa ( epidemics); mazima omusiraamu wamu mu kukwaata amakubo agalabwaako,yekuumisa na makubo ago busiraamu ago kwetangira.
Ekisooka ne kisiinga obukulu no bunene ekyo omukkiriza kyeyekuumisa nakyo mu butyaabaga ne mu bizibu/emitawaana: okusaba obukuumi ewa Allah no kumusaba obuyambi no bukuumi okujjawo ekibi (omutawaana). Yusuf emirembe gibeere kuyye omukyala wa katikkiro weyamwegwanyiza (yagamba nti nsaba obukuumi bwa Allah)(Yusuf:23),ne Mariam emirembe gibeere kuyye malaika jibriilu weyefananiriza omuntu gyaali (jibriilu weyafuuka omuntu najja eri Mariam, Mariam natamutegera nti yali malaika)(yagamba mazima ddala nze neewogoma ewa Allah okuva gyoli (akuntaase)(Mariam: 18).
Okusaba Allah,no kwekakkanya no kulaga obwetaavu gyaali, okujjawo ekilwadde no kujjawo okwelaliikirira, okusaba lwe lukomera lwo musiraamu era kye kisokye, ekilwadde wekyatuukawo olwo kugera kwa Allah nga tayina kyayagala okujjako okusaba.nabbiصلى الله عليه وسلم yagamba nti:«tewali kizzaayo kugera kwa Allah okujjako okusaba »(tirimith 2139).
No kunoonya ekyo kwejanjabisa nakyo nga lye ddagala lya buli ndwadde ezilabwaaku ne zitalabwaako(tussa mu quran ebyo ebijja nga kyakuwonya era nga kyakusaasira eri abakkiriza)(Isra:82) wamu no kukkiriza no kukakasa na mazima ensonga zo kuwona zeyongera olwo kigambo Kye Allah:(bagambe nti yyo ku bakkiriza kya kuwonya )(fusswilat:44).
No kusiingira ddala sswala ya subuhi: olwe kigambo kye صلى الله عليه وسلم :«oyo yenna asaala subuhi abeera mu bukuumi bwa Allah ».(muslim 657).
Mu kwetangira okukulu kwe kusaba (duwa) mu kaseera nga olabye abalwadde nabo abali mu katyaabaga mu hadiith:«oyo yenna alaba eyagezesebwa nagamba nti:amatendo amajjuvu ga Allah oyo eyantaasa neekyo kyeyakugezesa nakyo,nansukkulumya ku bingi bye yatonda olusukkulumya,tafuna kugezesebwa okwo ».(Attirmith3432).
Mazima mu kwekuumira ku kujjukira Allah mulimu obulungi bungi mu bulamu buno ne mpeera ennene ku nkomerero,ne kujjukira Allah okwo kumakya (athikaari aswabahi) no kwo'lweggulo kuli mu kujjukira Allah okusiinga obukulu okugwaana omusiraamu okukwekuumirako.ne mu migaso gya'kwo: okugaziwa kwekifuba,no butebenkevu bwo mutima,no kubeera wamu ne Allah,ne Allah okwogera ku muddu mu be bitiibwa abawaggulu.