Ekitundu ekiriwo kati: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI
Omusomo Okutereka (Al-wadii-a), (deposit)
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Ye mmaali eteereddwa ewomulala agikuume nga tewali nga tewali kyasasula:nga omuntu okuteresa omulala essaawa(watch), oba emotoka,oba ssente.
Ennamula yo kutereka oba okuteresa (Al-wadii-a).
Ekigeendererwa ekiri mukukirizibwa kwo kutereka oba okuteresa emmali.
Nolwekyo Allah takkiriza okutereka oba okuteresa emmali:olwo kukuuma emmaali okuva ku luyi olulala,no kufuna empeera ku ludda lwoyo atereka,mukino mulimu okwanguyiriza abantu,no kubayambako okumala ebyetaago byaabwe.
Okutereka oba Okuteresa kwamu busiraamu,nekikolo ekiraga nti kwa mu busiraamu ye Quran ne Sunnah wamu no kweegatta kwa bamanyi no kugerageranya (qiyaas), Allah yagamba:{mazima ddala Allah abalagira okuzzaayo obwesigwa (ebintu) eri bannanyinibwo} [Nissa:58].
Hadiith nga Eva Ku swahabah ayitibwa Abihurairah Allah asiime kuyye yagamba nti: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba «zaayo obwesigwa (ebintu byebakwesigizza nabyo)eri oyo eyakwesigisa ekintu, tokumpanya oyo akukumpanya» (Abu dauda 3535).
Ennamula yo kukkiriza okutereka
Empagi zo kutereka oba okuteresa.
Embeera ezo ezileetera atereka ekintu okusasula.
Embeera ezikyuusa ekintu okuterekebwa okuva mu bwesigwa okudda mukukisasula
Siinga ekintu ekiterekebwa kyononekera mu mukono gwooyo gwe bakiteresezza nga takigayaliridde tasasula, kimukakatako okukikuumira mu kifo ekitebenkevu(safe) siinga oyo ateresezza akkiriza oyo gwateresezza okukikozesa kifuuka banja nga liyina okusasula.
siinga okutya kutuukawo ateresa nayagala okutambula kimukakatako okuzzaayo ekyo kyeyatereka eri nyinikyo oba akivunanyizibwaako, wekiba tekisobose akitwaale eri omukulembeze waaba mwenkanya, wekiba tekisobose akitwaale eri abesigwa kisobole okudda eri nyinikyo.
Oyo yenna ateresebwa emmali neyeetabika nendala nga tasobola kujawula oba neyonooneka asasula.
Gwebateresa abeera mwesigwa, tebamubanja oba tebamusasuza okujjako nga agayaliridde kyebamuteresezza, ekigambo kyo muteresi kikkirizibwa no kulayira kwe mukuzza ekintu,nga yakyoonoona ,nga tewali kukigayalirira wewatabaawo bunyonyofu.
Ennamula yokuzzaayo kyebakuteresa(ekitereke)
Ekiterekebwa(ekitereke) wekiba nga kya bantu banji,omu mubbo nasaba omugabo mukugupima oba mukugubala kigabanyizibwa ,negumuweebwa.