تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI

الدرس Al-waqfu

Tumanya mu musomo guno ekitegezebwa mu Al-waqfu ne nnamula ezikwaata kuyyo mu mateeka go busiraamu.

  • . Okumanya ekitegezebwa mu Al-waqfu ne kigendererwa ekiri mukuteekebwaawo mu busiraamu.

Omu mwabo Allah beyagaziyiriza muba nannyini bugagga no kugaziyizibwa ayagala okukwaata ekintu ekikalu mu mmaali zaabwe -ekyo ekiyina ekikolo nga no mugaso gwakyo gusigala gugenda mu maaso -nga waqfu eweebwaayo okuva mu ssente ze mu mbeera yo bulungi;basobole okufuna mweebyo ebirungi mu bulamu bwaabwe no luvannyuma lwo kufa,nokukakasawo waqfu mulimu emigaso eminene eri abeetaavu

Ekigeendererwa mu waqfu.

Kwekukwaata oba okusiba ekikolo kye mmaali,nokuteekawo emigaso,nga Kunoonya mpeera okuva ewa Allah.

Ennamula ya waqfu.

Okuwaayo waqfu kyagalibwa,era zezimu ku saddaaka ezisiinga enkizo,era gwemulimu ogusiinga mweejo ejikuseembeza ewa Allah no no kukola obulungi no kuloongoosa,era yesiinga okubeera no mugaso ogubuna no kubeera ne migaso emiinji; kubanga guli ku mirimu egyo ejitakutukawo Oluvannyuma lwo kufa.

Ekigendererwa ekiri waqfu.

Allah yateekawo waqfu olwemigaso egigirimu eri eddiini ne nsi ne nkomerero, omuddu empeera ye egejjesebwa olwa waqfu ye mmaali jawaddeyo nganoonya Allah kumusiima,ne birungi bye nebisigala bigenda mu maaso, nooyo agikuuma aganyulwaamu nasabira nyini yo،ekitundu nekyeeyoongera obunyweevu.

Era zezimu ku saddaaka ezisiinga enkizo: kubanga saddaaka yalubeerera enyyweevu mu ngeri zo kukola obulungi no kuloongoosa.

Allah yagamba nti:{temugenda kutuuka ku bulungi okutuusa nga muwaddeyo mweebyo byemwaagala kyonna kyemuwaayo mu bintu mazima Allah akimanyi.

Hadiith nga Eva Ku swahabah ayitibwa Ibn Umar Allah asiime kubombiriri, yagamba nti: Umar yafuna ettaka e khayibara,nagenda ewa nabbi صلى الله عليه وسلم namugamba nti:nfunye ettaka sifunaangako mmaali yonna esiinga eno,ondagira ki ekyokukola ku ttaka lino, namugamba nti wooba oyagadde okuuma ekikolo kyaayo nokisaddaaka», Umar nalisaddaaka nga telituundibwa ,telitonwa,era nga telisikilwa;nga lyaakuyamba baavu,nabooluganda,nabo abali mukubo lya Allah,no mugenyi,no mutaambuze, tewali mutawaana eri oyo akivunaanyizibwako okulya nga ajja mukyo mu mbeera ennuungi,oba okuliisa munne atayina.(Al bukhari 2772).

Emiteeko gya waqfu.

١
Waqfu eri kumigaso gye ddiini.
٢
Waqfu eri kumigaso gye nsi.

Waqfu eri kumigaso gye ddiini.

Nga omuntu waanaawaayo omuzikiti, oba essomero eri abanoonyi ba ilm, oba ennyumba eri abanafu na baaavu ne bamulekwa ne banamwaandu nebifaanana bwe bityo.

Waqfu eri kumigaso gye nsi.

Nga wanaaziimba ennyumba nagifuula waqfu ku basika be oba ennimiro nafuula ebimera nga byabwe.wa

Endagaano ya waqfu ekolebwa era ntuufu nemu kunsonga ebbiri.

١
Ekigambo: nga okugamba: mbadde yo waqfu, oba nkutte,oba njawuzza.
٢
Ekikolwa:nga wanaaziimba omuzikiti nakkiriza abantu ogusaaliramu,oba nasiba ekisenge (olukomera )kya limbo nakkiriza abantu okuziikirwaamu, oba okuyimirizaawo essomero nakkiriza abantu okusomeramu, oba okusima oluzzi nakkiriza abantu okunywaamu amazzi.

Obukwakkulizo bwa waqfu.

١
Awaayo waqfu ayina okubeera nga asobola okugaba (donation),nga ayina obwannannyini kweekyo kyawaayo nga waqfu.
٢
Eyina okubeera nga waqfu eweebwaayo nga mmaali elamuddwa, emanyiddwa, nannyini kugiwaayo nga agiyinako obuyinza(obwannannyini)
٣
Okubeera nga waqfu kintu ekimanyiddwa nga okwegasa nakyo wamu nekisigalawo.
٤
Waqfu eyina okubeera nga eri kubulungi;nga emizikiti, ebyobugagga,abenganda,nabaavu.
٥
Waqfu eyina okubeera nga emanyiddwa okuva kuluuyi; ekyokulabirako nga omuzikiti gundi oba ekibina(ekibinja): nga abaavu,oba omuntu; nga zaid ekyokulabirako.
٦
Waqfu eyina okubeera nga yalubeerera siya kaseera buseera,nga entambula bulungi nga teyimiriziddwa, okujjako nga eyimiriziddwa no kufa kwe nekibeera nga kituufu awo nebeera mu kiraamo.

Waqfu teyina kigero kikomeke, naye eyawukana okusinzira ku njawulo ye mbeera ya bantu mu bugagga no bugazi mu byensimbi, oyo yenna omugagga atayina musika, emmali ye yonna ajifuula waqfu, ate oyo yenna omugagga ayina abasika afuula ekitundu kye mmaali waqfu, ekisigaddewo nekibeera kya basika.

Waqfu okutwaaliza ewamu ya Allah lubeerela tewali kukomeka bbaanga lyaayo, oyo yenna awadde yo ettaka nga waqfu oba enyyumba, oba ennimiro kulwa Allah -eba efulumye mu bufuzi bwe oba mubuyinza bwe ne mukikolwa kye;tetuundibwa, tetonwa,wadde okukisikira wadde okuddizibwa eri oyo eyajiwaayo,abasika tebalina kujituunda kubanga eba efulumye mu buyinza bwooyo asikirwa.

Siinga omuntu ayogera enjogera ya waqfu, oba ekikolwa kyooyo awaayo waqfu ekilaga nti awaddeyo waqfu, waqfu eba ekakase,okunyweera kwa waqfu tekweetaagisa kukkiriza kwoyo agenda okujiganyulwaamu,era na bwekityo olukusa lwo mukulembeze telweetaagisa, waqfu weenyweera tekikkirizibwa kukikozesa mu kintu ekijijjako okubeera waqfu.

Allah mulungi takkiriza okujjako ekirungi, omusiraamu waaba ayagadde ekintu nga waqfu nga anoonya okusiimwa kwa Allah,alongoose nakyo alonde ekisinga okuba ekirungi mu mmaali ze,nekisiinga muyyo jaali, era nekisiinga okwagalibwa muyyo jaali, ekyo kiri mubujjuvu bwokukola obulungi no kuloongoosa.

No gusiinga mu milyango ja waqfu gweego nga emigaso gyaago jibuna abasiraamu mu buli kiseera ne mubuli kifo, nga waqfu ku mizikiti nekubanoonyi ba ilm naabo abalwaana mu kkubo lya Allah na benganda,nabaavu abasiraamu nabanafu mubbo nabafaanana bwebatyo.

Munnamula za waqfu.

١
Waqfu ntuufu ku mugagga no mwaavu,nali ewala nooyo ali ewala ne bitongole na bantu sekinnoomu.
٢
Waqfu ekkirizibwa okuva kunjuuyi nyiinji;nga abaavu nabamanyi,nabayizi nebifaanana bwe bityo.
٣
Waqfu sintuufu kwekyo ekivaawo olwo okukyeegasa nakyo:nga ssente,ne meere,ne kyokunywa, tekikkirizibwa kutundibwa: nga ensiinge ne nzibe.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار