تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Omukyaala omusiraamu

الدرس Omukyala ne nkoowoola ezo mulembe

Tumanya mu musomo guno enzikiriza enkulu ne ntandikwa ne nkoowoola ezo mulembe ezileeta obuufu mu nsonga zo mukyala.

Ebigendererwa(goals).okwolesa obwenkanya bwa sharia ne kigendererwa kyaayo mu nkolagana mu nsonga zo mukyala..Okumanya amakulu obukulu bwentandikwa ne ndowooza ezo mulembe ezileeta obuufu mu nsonga zo mukyala..okunnyonnyola obumu kubumogo bwenkoowoola ezitali ku mulamwa mu nkolagana mu nsonga zo mukyala.

Omukyala mu biseera ebyedda ne mu ntuula ezisiinga obunji ezayita yali tafuna yadde olutunuulira olwekitiibwa(yali talabibwaawo),era yali atwaalibwa bwatyo bwatyo era yali tabalibwa,wabula teyayina oba tewaali Aya ekwatagana ku migabo gye ne ddembe lye,yali atundibwa era nga agulibwa nga tewali kuteesa kwonna,yali atunuulirwa nti ali ku mutendera ogusembayo wansi ku musajja.

Enkola eno eyo kukeendeeza embeera yo mukyala mu nkungaana nemu mbeera eza bulijjo eze njawulo okutuusa mu kaseera Ako kuumpi, ngojjeeko amawanga ga bulaaya -mu mbeera yo kulabirako-omutendera go kukyuusa no kwenunula okuva mukunyigirizibwa Kwa bafuzi ba matwaale(empires)no bulyazaamaanya bwe kanisa,enkyuukakyuuka zino omukyala ne nsonga ze teyazituukako okujjako oluvannyuma ennyo (late).

Endowoozq eno embi eyali elabibwaamu omukyala yali ewagirwa enjuuyi bbiri enkulu.

Ekisooka-oludda lwa filosofe (philosophy)

Banna filosofe(philosophy) mu mirembe emikadde Bali bakkakkanya omukyala,era nga bakendeeza embeera yaabwe,bali tebalabawo kifo kye yadde emigabo gye(rights), banna filosofe (philosophy) bano Bali bayitibwa sakuraati(Socrates),ne palatoglossal(Plato) ne arusitu(Aristotle).

Ekyo kubiri -oludda lwe ddiini.

Mu Indonesia omukyala tagwaana kusikira bazadde be,era nooyo afiiridwaako baawe kyatteeka okumwookya naye nga kye kirungi Eri omukyala oyo okuwangaala oluvannyuma lwa baawe! wabula bo abayudaaya na bakristaayo omukyala Eri bbo omukyala ali mu kifo Kya wansi,yali ateekebwaako ekigamba nti ye nsibuko yo kwonoona no bwononefu ne bibi,nga bamula nga ekikyaafu(nagisi),entegeera zino zaali ze sigamiziddwa okuva mu bitabo byaabwe ebya kyuusibwa,ne bibeelawo mu nkungaana za mabaanja age ndagaano ,nga ziwagirwa obufuzi bwa ba pasita(pastors) ne kkanisa.

Ku mulembe guno ebibinja bye nzikiriza ne ndowooza ne ndaba zeeyolese ezo eziteekawo obuufu -era zi kyeeyoongera okuteekawo obuufu - ku ndowooza no kukyuukakyuuka kwe bintu ne nneeyisa ze bitundu bingi ku nsonga ezikwaata ku mukazi

Omulembe (modernity) neebyo ebiddako oluvannyuma lwo mulembe(omulembe gwebileeta)

Omulembe(modernity) guteekerawo omuntu ekifo kye nsi(center of universe) negukakasa(omulembe) nti okwetongolaakwe(okweyawula kweoba okuvaakwe) ku bubaka(obubaka obuva ewa Allah), nga akozesa amagezi ge nga asobola okuleeta enzivuunula eri omwooyo gwe ne mu kifo waawangalira ne mu nsi,ne ndowooza ezisiinga ne ndaba (perception) ,nendaba ye bintu (analysis) ezo ezifuluma oluvannyuma lweebyo ebivudde mu mulembe (omulembe gwebileese)

Al-aqlaaniyyah (rationalism)

Kwekuteeka waggulu ensonga ya magezi(okulembeza amagezi)no kugeraageranya kwe(comparison):nga akuziimbidde okusinziira ku kifo kye nsi (center of universe)

Eddeembe (freedom) no bwoomu(individuality)

Kitegeeza okukakasa eddeembe lyo muntu mu kusalawo(decision making)okutambuza ensonga ze mu ngeri eyo gyaalabamu egwaana gyaali.

Al-daruwiiniyyah

Ye ndaba eyo eyogera ku nsibuko yo muntu no kukula kwaayo kuyise mu myaaka minji okutuusa ku mbeera yo lwa leero.

Okuwa omukazi eddeembe

Endowooza yo kuwa omukazi eddeembe yeeyoleka mu bulaaya (Europe), mu kaseera omukazi weyali ayita mu mbeera zo kuyigannyizibwa ezenjawulo no bulyazaamaanya,enngoombo ze ddeembe no kufuna eddeembe okuva mu mikululo egyokulyazamaanyizibwa no kuyigannyizibwa, omukazi yafuna eddeembe liingi elyo buntu ne lye mbeera ezaabulijjo(social),ne lye byo bufuzi nelye bye'nfuna, okujjako ekikirimu tebiyina tteeeka lya ddiini oba elyesiimbu kwebitaambulira, omukazi naakyuuka nadda kunkoowoola ezimukowoola ne ddeembe ku ddiini no bwesimbu,si kuva mu bulyazaamaanya no kuyigganya ebyo buli kimu nekitalazza mu kunkoowoola (abakazi)okuva ne ddeembe okuva oba okweyawula ku bufuzi bwa basajja oba obwa taata (batambula nga webaagadde)

Al-ilmaaniyyah ne ddeembe lyo mukazi

Mu ndowooza ne nkoowoola ezo eziyina akakwaate ne ntegeera yo kuwa omukazi eddeembe:okwaawula eddiini ku nsonga zo bulamu zonna,no kutambulira ku ntegeera egamba nti omuntu ayina kutambuza bulamu bwe okusinziira ku nsi so si ku ddiini (al-ilmaaniyyah) nga bayita mu kkubo elyo kunkoowoola eri eddeembe lye(omukazi) okuva (okuwona) buli kyonna ekitawaanya okugenda kwe mu maaso:okusiingira ddala amateeka ne njigiriza ye ddiini.

Al-ilmaaniyyah

Kitegeeza okwaawula buli nsonga yo bulamu okuva ku ddiini (omuntu atambule nga ensi bweetaambula ave ku ddiini),no kuta omuntu okukola ebintu ebyenjawulo : ebyo bufuzi ne bye'nfuna ne byembeera ezaa bulijjo (social)nebitali ebyo.

Omwenkanoonkano wakati wenkula ebibiri ( gender equality) omusajja no mukazi

Okukoowoola kuno kuyimilira ku misingi egyo mwenkanonkano (gender equality) wakati wo musajja no mukazi mu kuba ne ddembe lyo kusoma no kukola, ne ddeembe lyo byo bufuzi nebitali ebyo no kujjawo ebizibu byonna ebyo kwawula omukazi okujjako okubanja omwenkanoonkano(gender equality) mu ddeembe (rights)elifuluma ku mbeera eye'kikolo busole okukeesa nga talabawo (talondoola) enjawulo(differences) ne njawukana wakati wo musajja no mukazi nebukeesa nga okukoowoola Kwa mwenkanonkano wakati wenkula ebibiri ( gender equality)

Annis-wiyyah

Enkola etwaalibwa wamu ne ndowooza yo kukoowoola okuwa abakazi eddeembe,no mwenkanonkano wakati wenkula ebibiri "endowooza ya nnis-wiyyah"mu ndowooza eno muvuddemu ebibinja ebikola emirimu egye ndowooza,negyo byo'bufuzi ne gye mbeera ezaabulijjo ( social) nebitali ebyo.endowooza ya Annis-wiyyah ekoze kaweefube mu maanyi gaayo agenjawulo okunyweeza entegeera eziwela ne nkola mu bitundu (societies).

Entandikwa ye ndowooza ya Annis-wiyyah

١
Eddeembe elyeetadde,nga lizimbirwa ku ndowooza ye kitundu (society) ekiyimiridde ku muntu omu nga si ku famile (family)
٢
Okweesigama ku ntegeera eye kikula(gender) okukomeka akakwaate akali wakati wenkula ebibiri,no kujjawo entegeera yo musajja no mukazi.
٣
Omukazi okubeera nga afuga omubiri gwe ,ne ddeembe lye elijjuvu okugukozesa ebyo byayagala nga tewali kukomeka oba amateeka aga mufuga
٤
Okusazaamu(cancel) oba okutta obuvunaanyizibwa bwa taata eri abantu be nnyumba ye (family) nga bayita mu kujjawo obufuzi bwa taata eri abantu be nnyumba (family)
٥
Okukoowoola -nga bayita mu zimu ku ntambula eza bakyala (movements)-oludda eri ebisiyaga(homo sexuality),no kukkiriza abakazi okujjamu embuto(abortion),ne ndowooza ezimenyawo obubuumbwa oba obutonde bwo muntu ne bwesimbu bwe nsi ne nzikiriza.

Olukungaana (convention )(,sayidaaw)

Ebibiina ( ebitongole) bye ddeembe lyo mukazi ne bitongole bya bakazi byalafuubana okufuna (okutuuka) obuwagizi bwe byo'bufuzi ( political support) nga biyita mu kukasibwa mu nsi yonna mu ndagaano eze nsi yonna ezatekebwaawo ekibiina kya mawanga amagatte(united nations) mu mwaka gwa 1979 okumalawo ebizibu byonna ebyo kwawula omukazi,

Ensonga enkulu (core,soul) mu lukunggana

Olukungaana lutaambulira ku mwenkanonkano omute ( gender equality),no kufanagana wakati wo musajja no mukazi mu bintu byonna: ebyo'bufuzi ne bye'nfuna ne byembeera eza'bulijjo (social),nebyemizanyo(sports) nebya'mateeka nebifaanana bwebityo,lino etteeka likyaamu(wrong principle),lyaawukana namateeka agaava ewa Allah,likontagana ne kyeyolefu mu quran ne Sunnah na magezi amalamu kyegalabye obulungi ,no butonde(nature)ebwesimbu kyebwaasalawo(ekiri mu butonde), Wabula etteeka lino welyawukanila ne quran kye kigambo Kye Allah {omusajja taliinga mukazi}(tafaanana,teyeenkankana na mukazi) i [Al-imran:36] omusajja wa waggulu ku mukazi.nekigambo kye(Allah):{abasajja be bawagulu (be baboss, bebaamaanyi) ku bakazi}[Annisaa:34),ne kigambo Kye ( Allah):{na basajja bayina eddaala ku bakazi}[Al-baqarah:228], wabula etteeka lino welyawukanila ne Sunnah,kye kigambo kye nabbi ﷺ:«buli omu mummwe muluunzi,era buli omu mummwe agenda kubuuzibwa kweekyo kyeyaluunda---no musajja muluunzi eri abantu be nnyumba ye era agenda kubuuzibwa kubuluunzibwe,no mukazi muluunzi eri ennyumba yo mwaami we era agenda kubuuzibwa kubuluunzibwe »(Al-bukhari 893, muslim 1829), wabula ebiliwakanya byeebyo ebyanyweera(ebyatebeenkera) mu ntegeera (mu bwongo), byeebyo ebiteetaaga kunnyonnyola kunji,olwe kweyooleka nti mazima waliwo enjawulo mu nkula yo mubiri(physical composition) no mwooyo,kyaddaakyi kileeta enjawulo mu busobozi ne mu milimu gyo'bulamu, okubeerawo kwo'mwenkononkano no kufanagana okukuume(protected) kwawukana no butonde bwo musajja no mukazi.

Sayidaawi no bulabe wakati wo musajja no mukazi

Eyina endaba(sayidaawi) ne bisiinde bya bakazi (movements) eya kakwaate wakati wo musajja no mukazi akakwaate akasoomooza(challenge) obuzibu obwaaliwo mu byafaayo(historical conflict) nga kaagala okuteekawo ekkomo ku buzibu,era ne kkubo lyaako okutuuka kweekyo kwekuteekawo omwenkanoonkano omujjuvu wakati wo musajja no mukazi ,nga beliimbise(claim)mu kigamba nti eddaala elyongera ku musajja libalirwa wamu ne ku mukazi (babeere mu ddaala limu,benkanenkane),eno endaba nfuunda: akakwaate akali wakati wo musajja no mukazi ke kakwaate ko kuwaatagana no kuyambagana,si kuvuganya no kuwalaggana,buli omu ku bombiriri ayina obuvunaanyizibwa bwe(role)no mulimu gwe,mu kwegatta (combination) no kwaatagana; okubeera no bulamu obusinga obulungi no kukakasaawo okumanyagana, omukwano no kusaasira, no kukuuma omuteeko, Allah yagamba nti:{Abange mwe abantu mazima twabatonda nga tubajja mu musajja no mukazi netubateekamu amawanga ne zikabira(tribes) musobole okumanyagana mazima abasiinga ekitiibwa mu maaso ga Allah yooyo abasiinga okutya Allah ---}[Al-hujuraat:13],era Allah yagamba nti:{ne mu bubonero bwe yabatondera abakazi nga bajja mu myooyo gyammwe kisobole okutebeenkera nabo(abakazi) nateekawo wakati wammwe omukwano no kusaasira ----}[Arrumu:21], oluvannyuma okwawukana kwo buvunanyizibwa (roles)obwo bulamu kuleeta okwawukana mu bivunaanwa ne byetteeka nga tewali bulyazaamaanya no butali bwenkanya ,buli kyatteeka ekyeyoongera wabaawo omugabo oguli ekyennyume ogweeyongera, bwebuno obwenkanya.

Sharia yo busiraamu ekoowoola eri omwenkanoonkano wakati wa basajja na bakazi?

Sharia yo busiraamu eteekawo okweenkanankana kwo mukazi no musajja mu nsibuko yo muntu no bwekitiibwa bwo butonde(nti omuntu yatondebwa nga ayina ekitiibwa),mu buvunanyizibwa no kweetikka obwesigwa,ne mu mpeera (okusasula) ye nsi ne yenkomerero,ne mu ddeembe buli omu ku bombiriri ayina omugabo gwe,ne mukuyimirizaawo emikolo gye ddiini no kuyita eri amateeka go busiraamu ne mpisa eza'waggulu, oluvannyuma sharia yo busiraamu eteekawo okwaawula okulungi(positive) wakati waabwe bombiriri;olwe njawulo yaabwe mu nkula yo mubiri ( physical composition) no mwooyo; omukazi tabaanjibwa jihad(okulwaana mu kkubo lya Allah)olwo bunafu kweyaziimbirwa,era tasaala wadde okusiina wabeera mu nsonga (menstruation periods)ne mu mbeera ze oluvannyuma lwokuzaala(ngali mu nifaasi),takakatibwaako kulabirira Waka(home) nawaabeera mugagga,nekyennyume (opposite) sharia yo busiraamu yakakata jihad (okulwaana mu kkubo lya Allah)ku musajja,ne mukakatako okulabilira omukazi nabaana baabwe nga kyatteeka abonerezebwa siinga agwaana(omusajja)oba nga akeendeezezza nemuteekako(sharia) okutuukiriza ebyeteeka ebyongerako nga buvunanyizibwa obweyongeddeko,bino bwe bwennyini bwo bwenkanya.

Obwenkanya bwa sharia yo busiraamu mu kusika

Okulyazaamanya omukazi tukusangibwa mu kusika (tewali kulyazaamanya mukazi) mu tteeka lyo busiraamu;osaanga oluusi afuna ekitino kukyo musajja,ate oluusi omugabo gwennyini(omusajja), oluusi okusiinga ku mugabo gwo musajja, oluusi omukazi asika(afuna) ate omusajja natasika,ebyo byonna olwe bigendererwa Allah yabimanyi,no kunnyonnyola kweekyo kuli mu bitabo bya bannannyini kumanya(abamanyi).

Mu bifaananyi(ebyokulabirako)ebilaga engeri sharia yo busiraamu bweyagulumiza omukazi (bweya omukazi ekitiibwa)

Omukazi agulumizibwa(aweebwa ekitiibwa) mu sharia yo busiraamu, Allah agamba:{oyo yenna akola ekibi tayina kyagenda kusasulwa okujjako ekikifaanana ate oyo yenna akola omulimu omuloongoofu (omulungi) omusajja oba omukazi nga mukkiriza abo be bagenda okuyiingira ejjana bagenda kugabirirwa muyyo nga tewali kubala}[ghaafir:40],ne nabbi ﷺ agamba:«mazima abakazi balongo (twin halves) ba basajja » (tirimith 113)ba Luganda.navunaanyizibwa ku mukazi (taata oba omwaami) kimukakatako okumusuza no kumulabirira, omukazi takakibwa kuwaayo wadde dinar emu(ssente emu) okujjako mu bulungi (ngayagadde) ebbaanga lya mala nga mugagga, ekyo kiri mu buyinza bwe obwe mmaali okufaananako omusajja, tewali ayina buyinza ku mmaali ye kabeere taata we oba omwaami, omukazi ayina eddeembe okutunda no kugula no kupangisa no kukola kampane(company) no kusiinga, okugabanya,no kuwa obujulizi, no kuyamba(sponsorship)no kukola endagaano, nebitali ebyo mu ndagaano endala,no kwewaayo(commitments).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار