تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU

الدرس Talaka (okuta omukyala, divorce)

Tumanya mu musomo guno ekitegezebwa mu talaka (divorce)ne zimu ku nnamula ezigikwaatako

.Okumanya ekitegezebwa mu talaka (divorce).. okumanya ebimu ku birungi byo busiraamu ebyo ebikwaata ku nnamula za talaka ( divorce).. okunnyonnyola emigaso no bubi bwa talaka ( divorce)..okumanya emiteeko gya talaka.. okumanya ekitegezebwa mu iddah ne bimu kubikukwatako.

Endagaano ennyweevu

Obusiraamu bwalulunkana okukuuma obulamu bwa famile,ne bukuuma akakwaate Ako bufumbo ne ndagaano Quran gyeyateenda nti nnyweevu,ne ndagaano eno ennyweevu ye ndagaano yo bufumbo.

Kikakafu mu busiraamu okukuuma akakwaate ko bufumbo, obusiraamu bwalaga/bwalunggamya abaami eri okunyweeza bakyala baabwe no butabata era siinga babatamwa oba batamwa okuva gyebali ensonga Allah yagamba:{era muwangaale nabo (abakyala) mu mbeera ennuungi siinga muba mubeetamiddwa muyinza okweetamwa ekintu ate Allah nakiteekamu mukkyo obulungi bungi}[Annisaa:19],era endagaano ennyweevu (obufumbo) teyonoonebwa, obusiraamu bweewaza olweewaza olwamaanyi obutagezaako kwaawula wakati wa bafumbo ababiri;okwonoona omukyala eri omwaami we, Hadiith nga eva ku Abihurairah Allah asiime kuyye mazima omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«siwa muffe oyo yenna ayonoona omukyala eri omwaami we »(Abu dauda:2175)

Obwaddala bwo busiraamu (realistic)

Nga ojjeko obusiraamu okubeera nga bwalulunkana eri okugenderera kwa kakwaate ko bufumbo,era ddiini yaddala,teleeta ebyo ebiri ekyennyume Kyo bubuumbwa (obutonde) bwa bantu okuwaangula(okujjawo) bye bagala no kubanyigiriza wabula bufaayo/bulondoola (obusiraamu) embeera zaabwe ne mpulira zaabwe (feelings)ne bye'taago byaabwe, Allah amanyi nti okugenda kwo bulamu bwo bufumbo mu maaso wayinza okubeerawo embeera embi ennyo (ebibi)okusiinga nga buweddewo(nga abafumbo baawukanye),era amanyi nti okwawukana (talaka) kusosola okwetaagibwa sinakiindi nga kwabuwaze/kwatteeka mu mbeera ezimu; nolweekyo okukkiriza okwawukana ( talaka) mulimu ekigendererwa ekinene no kugaziyiriza abantu ,mweebyo ebiyinza okubeera obuzibu no kunakuwala.

Okukkirizibwa kwa ttalaka(divorce)

Obujulizi bwajja bungi mu quran ne mu sunnah ku kukkirizibwa Kwa talaka (divorce) era zi aya ne zi Hadiith ne zijja nga ziteekawo ennamula zaayo(talaka) ne zinyonnyola empisa yaayo era emu ku surah za quran yatuumibwa surat twalaaq(talaka).

Talaka (divorce) mu lulimi

Kwekuta(release)

Talaka mu busiraamu

Kwekujjawo akakwaate ko bufumbo mu bwangu(immediately)oba oluvannyuma (eventually) ne bigambo ebyenjawulo;ne bigambo ebyenjawulo:biba byanjulukufu(open);nga ekigambo talaka,no kwogera ekitegeeza talaka naye nga akyoogedde mu mbeera endala;nga ekigambo okuta okuseemba(final divorce),ne haraamu,no kuta nebifaanana bwebityo,era mu kifo kye kigambo (okwatula ekigambo) muyimiliramu:okuwandiika,no kulaza okutegeerwa,mu kigambo talaka mutwaliramu okweyambulula ( khul-u),ne kigambo kya qadwi(omulamuzi):“njawudde“ mu kwawula

Mu migaso gya talaka (divorce)

١
Okuggulawo ekkubo elyo kuziimba famile bbiri empya ku misingi emilamu egitaaliwo mu famile eyasooka,no bulungi bwa Allah bugazi, Allah yagamba nti:{siinga baba baawukanye Allah ajja kugaggawaza(kuwa) buli omu mu bugaziibwe era okuva edda yali Allah mugazi omugezi ennyo}[Annisaa:130].
٢
Okweewala emitawaana eminene kiyinza okuleeta obulamu okugenda mu maaso nga bujjudde obusungu(okunyiiga) na kakuuzi,ate ekyo kiyinza okuleeta okugwa mu kwonoona Allah atutaase (God forbid).
٣
Okufuna ekyo kuyiga okuva mu misomo egyo bufumbo obwakulembera,no kwetegereza mu nsonga nyiingi no kulongoosa kwo mwooyo obumogo bwaagwo,no kugezaako okugulwanyisa,eri ebyo ebiyaamba mu kutuuka ku buwanguzi mu bufumbo obwo kubiri.
٤
Okukomya obukuubagano no kuyambagana, neebyo ebiyinza okuleeta obusungu no kukyaawa(hate) ne nneeyisa embi no kukayagana
٥
Okukuuma abantu ba famile(family members)ne myooyo gyaabwe no buntu bwaabwe obutononeka,nga byebivudde mu maka agataliimu butebenkevu,ekibeera ekibi ennyo eri abato.

Mu bubi bwa talaka ( divorce)

١
Okusasaana Kwa famile ,no kwonooneka Kwa maka ago agayina okubeera nga gaziimbiddwa ku musingi gwo kwagala no kusaasira.
٢
Abazadde webaba tebalongosezza bikolwa oluvannyuma lwo kwawukana (talaka); obulabe okugenda mu maaso no kukutula mu baana buli nabeera nababe abamuwagira ,oba okufuula abaana nga lyekkubo lyo kuteeka akazito( pressure) buli ludda eri oludda olulala oba nekitali ekyo, mazima abaana ba bagenda kukosebwa ne ndwadde ezobwongo (psychology disorders), no kukyama okwendowooza ne nneeyisa,obuufu obubi(omukululo)omubi ne bukula nabo paka ku nkomerero yo buwangazi.
٣
Obulabe no butakkanya wakati wo mwaami no mukyala, busobola okuwaanvuwa paka ku famile yaabwe,saanko (circle )yo butakkanya negaziwa kino kyaawukana neekyo obusiraamu kyebwaagala mu kubeera awamu kwe kitundu no kukwaatagana kwakyo .

Emiteeko gya talaka

١
Talaka eyo kuzza(esobola okusazibwaamu)
٢
Talaka etasobola kusazibwaamu ennene(major irrevocable divorce)
٣
Talaka etasobola kusazibwaamu entono (minor irrevocable divorce)

Talaka eyo kuzza( esobola okusazibwaamu )

Ye talaka eyo omusajja gyakola ku mukyala we mu mulundi ogusooka no gwo kubiri,era abeera ne ddeembe okumuzza ebbaanga lya mala nga ali mu iddah (olutula omukyala lwatuula mu maka go musajja nga bamaze okumuwa talaka luba lwa myezi esatu kwoyo atali lubuto ate owo lubuto wazilira olutula luba luweddeko) nga tamaze kumusaba lukusa,era nga tewali bwetaavu ku kukola ndagaano mpya(okuwoowa okupya )

Talaka etasobola kusazibwaamu entono ( minor irrevocable)

Yeeyo ebeerawo mu mulundi ogusooka no gwo kubiri naye oluvannyuma lwa iddah okuggwaako,wano aba takkirizibwa (omusajja) kuzza okujjako na ndagaano mpya (okuwoowa okupya,addamu namuwoowa bupya).

Talaka etasobola kusazibwaamu ennene

Ye talaka ebeerawo mu mulundi ogwo kusatu, omusajja aba tayina buyinza kumuzza okujjako na ndagaano na mahare ebipya (okuwoowa okupya) oluvannyuma lwo kufumbirwa omusajja omulala, oluvannyuma omusajja oyo namuta(namuwa talaka)-nga tewali pulaani (plan) eyakulembedde okukolebwa (okuteesabno musajja amulina nti amute oluvannyuma ye addemu amuwase) -oba omusajja okufa

Ennamula ezikwaata ku talaka eyo kuzza neeyo etasobola kusazibwaamu entono neeyo etasobola kusazibwaamu ennene zalaga ensonga ennyanjulukufu mu nsonga ezilaga ebirungi bya sharia yo busiraamu; talaka si yenkomerero ye nsonga,ne mu kaseera ko kuzza oba talaka etasobola kusazibwaamu entono buli omu ku bafumbo ababiri afuna akakisa(chance) no kugaziwa kwo budde mu kutunula no kufumiitiriza ku biki ebigenda okuddilira,mu kusilikilira no kubeera ewala na kazito(pressure) ke bizibu, nabweekityo oluvannyuma lwo musajja okuwa omukyala talaka eyo kubiri eyo etasobola kusazibwaamu ennene, enjuuyi zoombi ziyinza okukizuula nti okudda kusoboka nti era kusalawo kulungi, wabula ate okugezesebwa (test)kuno kuyinza okuba ensonga eviirako okuziimba obufumbo ku misingi emigumu.

Iddah

Lye bbaanga sharia lye yateekawo oluvannyuma lwo kwawukana - no kufa oba okuta -kyatteeka ku mukyala okulirindiramu nga tafumbiddwa okutuusa ebbaanga weliggwaako.

Omukyala ayina eddeembe okumala iddah ye mu nnyumba yo mwaami we,era ne kikakata ku mwaami okumulabirira (omukyala),nga wekiri nti agwaana (omukyala) okusika siinga omwaami we afa nga akyaali mu iddah era tekikkirizibwa kuyye ( omukyala) okweteekawo abasajja bamwogereze nga iddah ye.

Ebigendererwa ebiri mu kuteekawo iddah

١
Okusinza, omusiraamu omusajja no musiraamu omukyala bayinza okukwaasa ensonga zaabwe Allah, siinga aba asazeewo ensonga bangu okuteeka mu nkola/okugonda; okwolesa obuddu.
٢
Okukakasa nti nabaana yo mukyala teriimu wadde mwaana yenna,oba olubuto.
٣
Okuwa omukisa (chance) ogumala omwaami oluvannyuma lwo kuta(talaka) okusobola okuzza mukyala omute(,gweyatadde).
٤
Okukuungubagira omwaami omufu (eyafudde ).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار