Ekitundu ekiriwo kati: OKUSIIBA
Omusomo IDDI AL-FITIRI EYEKYISIIBO NE IDDI AL-ADHA EYEBISOLO
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Iddi Al-Fitiri
Kyiki ekikolebwa ku lunaku lya Iddi ?
Allah yakyifula kyabwatteka eri omuntu yenna alina emmere esukkiridde ku gyeyeetaaga mu misana n’ekiro ekya Iddi okuwa ekigero kya Saa'a mu mmere y’omu kitundu kye mu muceere, eŋŋaano, oba etende eri abasiraamu abaavu n’abeetaavu, olwo ne watabaawo muntu yenna asigala mu bwetaavu ku lunaku lwa Iddi.
Okuva enjuba okugwa ku lunaku olusembayo mu mwezi gwa Ramadhan okutuusa ku swala ya Iddi. Kikkirizibwa okukikola ng’ebula ekiro kimu oba ebiro bibiri okusaala Iddi.
Saa’a mu mmere enkulu ey’omu kitundu, gamba ng’eŋŋaano, omuceere, entende n’ebirala Saa’a yenkana kkiro, naye okubalirira kwayo okusinziira ku buzito kyangu okupima n’omutindo ogw’omulembe. Kiba nga kyenkana kkiro 3.
Kikakata ku muntu yenna alina emmere esukkiridde ku by’aba yeetaaga ku Iddi emisana n’ekiro okugiwa ku lulwe n’abo bamuvunaanyizibwako, gamba ng’omukyala n’abaana. Kirungi okugiwa ku lw’omwana ali mu lubuto lwa maama, kale ku buli muntu saa’a emu ey’emmere y’omu kitundu, nga zino zibeera kkiro nga 3.
Ekigendererwa mu kulaalikibwa kwa zakat al-fitir
Eno ye iddi ey'okubiri eya basiraamu, ebeerawo ku lunaku olw'ekkumi mu mweezi gwa dhul-hijja (omweezi ogw'ekkumi n'ebbiri ku mbala y'obusiraamu), era ng'ebeerako ebirungi bingi, mu bbyo:
1. Lwe'lumu ku nnaku ezisinga obulungi mu mwaaka.
Emikolo gya hijja egisinga obukulu n'ekitiibwa gikolebwa ku lwo, ng'okweetoloola kaaba, okusala ebisolo mu hijja (hadiyu), wamu n'okukuba ekiwaji ekinene.
Kiki ekikolebwa ku lunaku lwa iddi adhuha?
Kyeekyo ekisalibwa okuva mu bisolo ng'engamiya, ente, oba embuzi nga kikolebwa kusinza Allah ku lunaku lwa iddi adhuha, okuviira ddala nga tumaze okusaala iddi, okutuusa ku budde bwa magaribi olunaku olw'ekkumi n'essatu mu mweezi gwa dhul-hijja, Allah yagamba nti: "saala ku lwa Allah wo era osale ne ssaddaaka ku lulwe" (essuula [kauthara] 108:2), era okusaala kuvvuunulwa nti kusaala iddi era n'okusala, kusala dhuhiya.
Okusala kulamulwa kutya
Era kikubirizibwa eri oyo ayagala okusala dhuhiya, obutasala ku nviiri ze (ez'okumubiri gwonna) yadde enjala ze, wamu n'omubiri gwe; okuviira ddala ku kuboneka kw'omweezi gwa dhul-hijja okutuusa lwaasala ekisolo kye.
Obukwakkulizo obufuga ekisolo ekigenda okusalibwa.
Kirina kuba nga mbuzi (oba endiga), ente oba engamiya, era tekikkirizibwa kusala bitali ebyo mu bisolo ebisigadde oba ebinyonyi, era kimala okusala embuzi oba endiga omuntu okugisala ku lulwe n'abantu b'enju ye, era kikkirizibwa abantu musanvu okweegatta ku kusala ente emu oba engamiya emu.