تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMATEEKA AGAFUGA OBUDDE BWO BUTITI (OBUNYOGOVU)

الدرس EMBEERA ZO OBUKKIRIZA MU BUDDE BWO OBUTITI

Omusiraamu agwanidde okuba mu mbeera efumintiriza ku bubonero obwensi(obulaga nti Allah jaari), so si kubeera mu batafaayo. Mu ssomo lino, tujja kuraba embeera zo obukkiriza ne sizoni y’obutiti.

EBIRUBIRIRWA

  • Okutegeera ekigendererwa kya Allah Omuyinza w’ebintu byonna mu kutekawo  ekiseera eky’obutiti ne mu kukyuka kyuka  kw’ebiseera by omwaka.
  • Okufumiitiriza ku mbeera z’obutiti ne kye kyongera kubu kkiriza.

Ekiseera ky'obunyogovu sizoni mu sizoni zo omwaka, Allah yajitekawo olwekigendererwa ekya amanyi.

sizoni yo bunyogovu weyayogerwako mu Quran

Ekigambo ekyeya kyogerwako mu Qur’an Entukuvu omulundi gumu gwokka, era ekyo kiri mu Surah Quraish. Olugendo lw’omusana lwe luno: olugendo lw’obusuubuzi bw’Abaquraysh mu kiseera eky’obutiti; baalinga boolekera Yemen, ate mu lugendo lw’omusana baalinga boolekera Shaami.

sizoni yo obutiti ekyenyume kyayo kyeeya, era sizoni ya kharif(ejja nga obunyogovu butandikiriza) ne sizoni ya rabi'i (ejja nga obunyogovu bugwayo) ze zawura wakati wazo eno y’ensonga lwaki abamanyi abamu baagamba nti: Omwaka gulina sizoni bbiri: ekyeya no obutiti

Obutiti kye kimu ku byolesebwa amaanyi ga Allah Omuyinza w’ebintu byonna, amagezi ge, n’okusaasira kwe:

Ye Ye, Ekitiibwa kibeere gy’ali, akyusa ekiro n’emisana, ebbugumu n’obunyogovu, ekyeya n’obutiti Allah Omuyinza w’ebintu byonna yagamba nti:(Mazima mu kutondebwa kweggulu nensi nokwawukana kwekiro nemisana bubonero eri ba nanyini kuba na magezi) Al imran 190 enjawulo eno ne bwe kiba nga kiva ku nsonga ez’obutonde, Allah ye yatonda ensonga zino.

Obutiti mukisa ogwokukozesa ebiseera no okujjukira ebyengera

Obutiti n’enkyukakyuka y’ebiseera mukisa gw’okujjukira okuyita kw’obulamu nokulagajjalira mu kubukozesa. Omuntu ajjukira obutiti obwayita n’engeri gye bwatambura amangu, era n’alaba mu kiseera ekipya omukisa okukola ku bulagajjavu bwo omulundi ogwayita.

Yagamba Allah Omugulumivu: {Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.} (Al Furqan:62). Yagamba Umar ibn Khattwab Allah amusiime: "Musasulire ebyo abya bayisiseeko mu kiro emisana, kubanga Allah yakola ekiro n’emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza..

Obutiti mukisa gwa kujjukira kyengara gya Allah egy’ebbugumu ekyo Allah kye yayanguya okuva mu byoya by’endiga, ebyuma, n’ebintu ebirala. Allah Omugulumivu yagamba nti: (N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya.) (Al Nahli:5). N'ekyengera kino kisaana okwebaza, yagamba Allah Omugulumivu: {Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali.} (Ibrahim: 7)

Obutiti mukisa ogw'okujjukira enkomerero;

Mu bunnyogovu obw’amaanyi mulimu essomo n’okubuulira kwe tuyinza okuggya mu hadiisi y’omubaka wa Allah, ebyengera n’emirembe: bibeere ku ye “Omuliro gwemulugunya eri Mukama waagwo, nga gugamba nti, ‘Ayi Mukama, ebitundu byange ebimu bilidde ebirala.’ Kale n’agukikkiriza okussa emirendi ebiri: ogumu mu kiseera eky’obutiti ate ogumu mu kiseera ekyekyeya.Lino lye bbugumu erisinga okuba ery’amaanyi lyemufuna, era bye bunyogovu bwemusinga bwemufuna.” (Bukhari 3260; Muslim 617)

Abantu ba Geyeena bajja kubonyaabonyezebwa n'ennyogovu nga bwe babonyaabonyezebwa n'ebbugumu. Yagamba Allah Omugulumivu: {Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza.Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi.} (Nabae 24-26). N'amasira Ag'olusaayisaayi n'empewo ennyogovu enyo eyo egenda okuukya mu bunnyogovu bwa'ayo abantu ba Geyeena bayita obuyambi okuva mu bbugumu, kale bayambibwe n'empewo ennyogovu eyatika amagumba n’ennyogovu bwaayo, kale ne bayita obuyambi okuva mu nnyanja ya Geyeena... Tusaba Allah obulamu obulungi.

Abasinza abamu bagamba: Sirabangako muzira nga gugwa okugyako nga jjujukira kusaasaana kw'ebitabo ku lunaku lw’okuzuukira n’enkomerero.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار