القسم الحالي: HIJJA
الدرس Umra ekolebwa etya
Umra: kwe'kusinza Allah nga kuyita mu kwetoloola kaaba, okutambula wakati wa ssafa ne marwa, oluvanyuma okusalako enviiri oba okuzikendeeza.
Ennamula ya umra
Umra yatteeka ku buli alina obusobozi mu omulundi gumu mu bulamu bwe, era oluvanyuma lw'omulundi ogwo kikubirizibwa okugiddingana emirundi egiwera okusinziira ku busobozi bw'omuntu.
Allah ow'ekitiibwa yagamba: "mukole era mumalirize emikolo gya hijja ne umra ku kwa Allah: (essuula 2:196)
Ne hadith eva ku Aisha Allah asiime ku yye agamba: nagamba nti: owange Omubaka wa Allah, abakyaala nabo balwaana mu kkubo lya Allah? N'agamba: "yye, balwaana mu kkubo lya Allah nga okulwaama okwo tekuliimu kkubagana, ye hijja ne umra" (eli mu kitabo kya Ahmad:25322, ne ibun maaja:2901).
Obulungi obuli mu umra
Kikkirizibwa okukola umra mu buli kissera mu mwaaka, naye ate nga yyo mu myeezi gy'okkola hijja weesingira okubeera ennungi, kyokka ate umra ekoleddwa mu ramazan empeera zaayo zenkanankana eza hijja, swahaba ibun abbaas yatugamba nti, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "mazima umra ekolebbwa mu ramazan yenkanankana ne hijja oba hijja ekokeddwa nange". (Bukhari:1863, muslim:1256).
Umra ekolebwa etya
Omuntu ayagala okukola umra, ajjako engoye ze, n'anaaba, n'eyekuba akawoowo mumutwe gwe n'emu kirevu kye, olwo n'ayambala engoye z'agenda okkoleramu emikolo.
Oluvanyuma asaalira awo ku miikaati esswala ez'etteeka bwebuba budde bwaayo, bwekiba ssi ekyo, asaalayo raaka bbiri bwaaba ayagadde, bwaamaliriza okusaala, aleeta enniya y'okuyingira mu mikolo gya umra n'omutima gwe, oluvanyuma n'agamba nti: (Labbayika llahuma umra).
-
Bw'aba ayingira omuzikiti gw'emakka, ayingiza kigere kya ddyo, n'asoma n'edduwa y'okuyingira omuzikiti, bw'atuuka ku kaaba, talbiya agirekera awo nga tannatandika kwetoloola kaaba, era omusajja akubirizibwa okuteeka ky'eyebisse waggulu wansi w'enkwaawa za ddyo n'abikkula ekibegaabega kye ekya ddyo ate n'abikka ekya kkono.
agenda ku jjinja eriddugavu atandike okwetoloola kwe, n'alikwaatako n'omukono gwe ogwa ddyo, n'alinyweegera, bwaaba tasobodde atunula gyeriri n'alaza n'ekibatu kye, Kaaba ebeera ku ludda lw'omukono gwe ogwa kkono, era yetoloola emirundi musanvu, omusajja akubirizibwa okwanguwamu nga takuba nta mpanvu mu nneetoloola essatu ezisooka.
-
Era buli mulundi gwaayita ku jjinja eriddugavu akuba takibiira, era mu kwetoloola kwe okusigadde ayogera byaaba ayagadde ng'okusaba Allah, okumutendereza, wamu n'okusoma Quran.
Bw'amaliriza okwetoloola kaaba emirundi musanvu, abikka bulungi ebibegaabega bye byombiriri n'ekifuba, olwo n'agenda emabega w'ekifo ekiyitibwa maqaam Ibrahim, n'asaaliraawo eraaka bbiri bwaaba asobodde, oba mu kifo ekirala kyonna mu muzikiti awo, mu raaka esooka oluvanyuma lwa al-faatiha asoma essula kaafiruuna (Qul yaa ayyuhal-kaafiruun),mu y'okubiri n'asoma (Qul huwa llahu ahad)
Oluvanyuma agenda ku lusozi sswafa ne marwa okutambula wakati waazo, bwatuuka ku sswafa asoma aya ya Allah egamba nti: "inna sswafa wal-marwata min sha-aa-iri llah", era n'agamba nti: (abda-u bima bada-a llahu bihi)
Oluvanyuma alinya olusozi sswafa n'atunula mu kibula ng'asitudde emikono gye, ne yeebaza Allah n'asaba, era Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yasabirangawo nti: "laa ilaaha illa Llahu wahdahu laa shariika lahu lahul-hamdu wa lahul-mulku wa huwa alaa kulli shayi-in kadiir, laa ilaaha illa Llahu wahdahu, an-jaza wa-adahu wa naswara ab-dahu wa hazama al-ahzaaba wahdahu" abyoogera emirundi esatu, oluvanyuma n'asaba ebirala byaayagala.
-
Olwo n'akka okuva ku sswafa agende e marwa, atambula okutuusa lw'atuuka ku butaala obwa kiragala, olwo omusajja aba akubirizibwa okuddukamu kko nga bwaaba asobodde, naye ate omukyaala takkirizibwa kwanguwa yadde okudduka ng'atuuse ku butaala obwo, wabula yye atambula mu mukolo ogwo gwonna.
-
Oluvanyuma agenda mumaaso n'okutambula kwe okutuuka ku marwa, n'alinya ku lusozi, n'asitula emikono gye ng'atunudde mu kibula, n'agamba by'ebimu nga byeyaygogedde ku sswafa, okujjako aya ya Quran, n'ekigambo: ab-da-u bima bada-a llahu bihi.
-
Oluvanyuma akka okuva ku lusozi marwa n'atambula ng'adda ku sswafa, era bw'atuuka ku butaala obwa kiragala, omusajja addukamu, era bw'atuuka ku sswafa, akola by'ebimu nga byaakoze ku marwa, bwatyo mpaka lwa malayo emirundi musanvu, ng'okugenda kwe mulundi, n'okudda mulundi. Era kikubirizibwa okuyitiriza okutendereza Allah, n'okumusaba, n'okuba omutukuvu (alina wuzu) okuva mu bizuusi byombi ekinene n'ekitono.
-
Bw'amaliriza okutambula wakati wa sswafa ne marwa, olwo afulumayo n'agenda eri abasala enviiri n'ebazisalako oba okuzikendeezaako, naye ng'okusalako kw'ekusinga obulungi.
Hadith eva ku Abdullahi bin umar Allah asiime ku bbo egamba nti: Omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "Allah nsaba osaasire abasazeeko enviiri", n'ebamugamba nti: n'abakendeezezzaako owange gwe omubaka wa Allah, n'addamu n'agamba nti: "Allah nsaba osaasire abasazeeko enviiri", n'ebamugamba ba swahaba nti: n'abakendeezezzaako owange gwe omubaka wa Allah, n'agamba: "n'abo abakendeezezzaako". (Bukhari:1727, ne muslim:1301).
Naye ate omukyaala yye, akunganya enviiri ze, n'akendezaako ku zzo ekigero eky'enkana akayingo k'olugalo, omuntu ali mu mizizo bwaakola bino , aba amalirizza umra era n'aba ng'akkirizibwa okkola buli kimu ekyaabadde kimuziyiziddwaako olw'emizizo.