القسم الحالي: HIJJA
الدرس Okulambula ekibuga kya Nabbi
Ekibuga kya Nabbi kyaafuna ekitiibwa kya manyi oluvanyuma lwa Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye okukisengukiramu, era n'ekiba nga kifuuse ekifo ekisinga ku nsi oluvanyuma lwa makka, era okukirambula kikubirizibwa mu buli kiseera kyonna, era tekiri mu biseera bya hijja mwokka, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "omusiraamu takkirizibwa kusiba ngugu (lwa kulambula okulimu okusinza) okujjako ng'agenda ku mizikiti esatu: omuzikiti gw'emakka, omuzikiti gwa Nabbi (ogw'emadiina) wamu n'omuzikiti gw'epalestine (aqswa)" (bukhari:1189, ne muslim:1397), era madiina erina eby'enkizo bingi, mu bbyo:
Nabbi Muhammadi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye kyeyasooka okukola ng'atuuse e madiina, kw'ekuzimba omuzikiti gwe ogw'ekitiibwa, ogwo ogwafuuka ekitebe ewava okumanya, okukowoola abantu okubazza eri obusiraamu wamu n'okusasanya ebirungi mu bantu. Era omuzikiti guno gulina enkizo y'amanyi, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "esswala esaaliddwa mu muzikiti gwange guno nnungi okusinga esswala lukumi ezisaaliddwa mu muzikiti omulala okujjako eyo esaaliddwa mu muzikiti ogw'emizizo (makka)" (bukhari:1190, ne muslim:1394)
2. Kyo kifo kya mizizo ate ekitebenkevu.
Nabbi Muhammadi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yakifuula kya mizizo ng'afunye obubaka okuva eri Allah, tetukkirizibwa kuyiwa musaayi mu kkyo, okweetikka eby'okulwanyisa mu kkyo, okutiisa omuntu mu kkyo, okusala oba okumenya emiti gyaamu, n'ebirala ebitakkirizibwa kukoleramu, yagamba Nabbi Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye nti: "tegukuulwa omuddo gwaamu, tekikangibwa oba okuyiggibwa ekisolo kyaamu eky'omunsiko, tekirondebwa ekusuuliddwa kyaamu okujjako oyo agenda okukiranga, tegumenyebwa muti gwaamu okujjako omuntu okuliisizaamu engamiya ye, era tebasituliramu bissi byaakulwaanisa" (abu dawuda:2035, ahmad:959)
3. Emikisa mu by'enfuna, ebimera, wamu n'obulamu obulungi.
Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "Allah nsaba otuteere emikisa mu bimera byaamu, era otuteere emikisa mu kibuga kyaffe kino, era otuteere emikisa mu bipimo byaffe, Ayi Allah, mazima ibrahiim muddu wo era mukwaano gwo era mubaka wo, era nange ndi muddu era omubaka wo, mazima yye yakukowoola ng'asabira makka, era nange nkukowoola ng'asabira madiina ekyo kyenyini kyeyasabira makka wamu n'ekikifaanana" (muslim:1373)
4. Obukuumi bwa Allah ku yyo okuva eri kawumpuli wamu ne masiihi ddajjaal.
Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "ku miryango gya madiina kuliko malayika ezigikuuma, temuyingira mu yyo kawumpuli yadde masiihi ddajjaal" (bukhari:1880,,ne muslim:1379).
5. Enkizo y'okubeera mu madiina, n'okuwangaliraamu okutuusa okufiiramu:
Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yasuubiza omuntu aguminkiriza obukalubu bwaayo n'akanyigo k'okubeeramu okuwolerezebwa ku lunaku lw’enkomerero, hadith eva ku swahaba ayitibwa Sa'd bin abi waqqaas Allah asiime ku yye yagamba: omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "okubeera mu madiina kyekisinga okuba ekirungi gyebali singa baali bamanyi, teri ava mu madiina olw'okuba alaba nga afunyeeyo ewagisinga okujjako nga Allah aleetayo omulala amusinga obulungi, era teri aguminkiriza mbeera nkambwe n'abukalubu bwaayo okujjaki nga ngenda kubeera muwolerezaawe ku lunaku lw’enkomerero" (muslim:1363).
Omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "oyo yenna aba asobodde okutuukibwaako okufa ng'ali mu madiina akikole, mazima nze nja kuwolereza anaafiiramu" (tirmidhi:3917, ibun.maaja:3112).
6. Mazima yyo y'empuku y'obukkiriza, era yyo ewanda obubi n'ababi:
Obukkiriza bwebuva mu bitundu ebirala budda madiina, era n'abantu ababi tebalina butuuliro mu madiina, Omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "mazima Obukkiriza budda e madiina ng'omusota bwegudduka nga n'egudda mu kituli kyagwo" (bukhari:1876, muslim:147), era yagamba: "...Nga ndayira ku linya lyooyo alina obuyinza ku mwooyo gwange, tewali muntu ava mu madiina lwa butamwaagala okujjako nga Allah amusikiza oyo amusinga obulungi, mazima ddala madiina eringa muliro ogusanuula, guwangula ebikyaafu okubijja ku byuuma, era enkomerero tejja kuyimirirawo okutuusa nga madiina ewandudde ababi abagirimu nga bwoolaba omuliro gw'omuweesa gwaakozesa okusanuula n'okusunsula ebyuuma bye" (muslim:1381).
7. Mazima yyo ejjawo amazambi n'ebizito:
Hadith eva ku swahaba zaidi mutabani wa thaabi yagamba: Omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yagamba: "mazima ddala yo nnungi madiina era yyo ewandula ebibi ng'omuliro bweguwandula ebikyaafu ebiri ku ffeeza" (bukhari:4589, muslim:1384).
Ku muntu alambule madiina okugoberera enneyisa zino wammanga:
1. Ekirina okukolebwa omuntu ayagala okugenda e madiina kw'ekuba nti mu nniya yye agendereramu kulambula muzikiti gwa Nabbi Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, era n'okuba nti engugu z'olugendo azisibye lwa kulambula muzikiti so ssi ntaana ya Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye: kubanga yagamba: "engugu ez'olugendo (olw'okulambula okw'okusinza) omusiraamu takkirizibwa kuzisiba okujjako ng'agenda ku mizikiti esatu: ogw'emakka, ogw'emadiina, ne aqswa ey'epalestine" (bukhari:1189,muslim:1397).
2. Omulambuzi bw'atuuka ku muzikiti, akubirizibwa okuyingiza okugulu kwe okwa ddyo, n'agamba nti: "Allahuma iftah lii ab-waaba rahmatika"edduwa eyingira omuzikiti etegeeza nti: Allah nsaba onzigulirewo emiryango gy'okusaasira kwo.(Muslim:713).
3. Asaala eraaka bbiri ez'okuyingira omuzikiti, naye bwaaba asobodde okuzisaalira mu kifo kyebayita Raudha ky'ekisinga obulungi.
4. Kikubirizibwa okulambula entaana ya Nabbi wamu n'emikwaano gye ababiri, ayimirira ewali entaana y'omutume mu mbeera ey'empisa n'obwewombeefu mu ddoboozi ng'ate mukkakkamu n'agamba nti: "Assalam alaika ayyuha nnabiyu warahmatullahi wabarakaatuhu, Ash-hadu annaka rasuulullahi hakka, wa-annaka balla-gh-ta a-rrisaala wa-adday-ta al-amaana wa naswahta al-umma wa jaahad-ta fi llaahi haqqa jihaadihi, fa jazaaka llahu an ummatika af-dhalu ma jazaa nabiyyan an ummatihi".
Oluvanyuma aseetukamu okudda ku ddyo we ebigere bibiri n'ayimirira mmaaso g'entaana ya abubakar Allah asiime ku yye n'amuwa ku ssalaam n'okusaba Allah amusiime, olwo n'addamu n'aseetuka ebigere bibiri n'atuuka ku ntaana ya umar Allah asiime ku yye n'amuwa ku ssalaam era n'amusabira Allah amusiime.
5. Kikubirizibwa eri oyo azze okulambula omuzikiti gwa Nabbi okuyitiriza okusaaliramu esswala, asobole okufuna empeera ennene Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye zeyasuubizza omuntu agusaaliddemu nti: "esswala esaaliddwa mu muzikiti gwange guno esinga obulungi esswala lukumi ezi saaliddwa mu muzikiti omulala ng'ojjeeko omuzikiti gw'emakka" (bukhari:1190, muslim:1394).
6. Kikubirizibwa okulambula n'ekumuzikiti gw'ekkuba n'okugusaaliramu, kubanga Nabbi Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba ku bulungi bwaagwo nti: "oyo yenna afuluma ewuwe n'ajja ku muzikiti guno ogwa kkuba n'asaaliramu, aba afunye empeera ezenkana ne umra" (eri mu kitabo kya nasaa-i:699".
7. Kikubirizibwa okulambula ku limbo ya baqii-i, ne limbo y'abafiira mu lutalo lwe uhudi, kubanga Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yali nga azirambulako era n'asabira abaliyo, era mu dduwa zeyasabiranga abali mu ntaana mulimu: "Assalam alaikum ah-la ddiyaari minal-mu'miniina wal-muslimiina, wa innaa in Sha-a llahu bikum laahiquuna, as-alu llaha lanaa wa lakum al-aafiya" (muslim:975).
8. Omusiraamu okufuba okulaba nga mu kibuga kino akibeeramu ng'enneeyisaaye etambulira ku Allah byeyalagira, ng'ayekwaata ku kugondera Allah n'omubaka we, nga yeewala nyo okugwa mu kukola ebizuule mu ddiini wamu n'ebyonoono.
9. Okweewala mu kibuga kya Nabbi obutamenya miti gyaamu, oba okuyigga ebisolo byaamu, kubanga Omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba ku nsonga eyo nti: "mazima Ibrahim yafuula makka ey'emizizo, era nange nfudde madiina ey'emizizo, tegimenyebwa emiti gyaamu (nebweguba guliko amaggwa) era tebiyiggibwa ebisolo byaamu". (Muslim:1362).
10: omusiraamu okukiwulira munda mu yye nti ali mu kibuga ekya vaamu ekitangaala ky'obusiraamu era n'okumanya okw'omugaso okw'obusiraamu kwaava mu kkyo nekyisasaanira ensonda z'ensi ez'enjawulo, afube okulaba ng'afunamu naye okumanya okukwaata ku busiraamu okugenda okumuyambako Okutambulira ku mazima, naddala bwaaba nga okumanya okwo akunonyezza mu muzikiti gwa Nabbi Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku, olwa hadith eva ku abi hurayira egamba nti: yye yawulira Omubaka wa Allah ng'agamba nti: "oyo yenna aba ayingidde omuzikiti gwaffe guno ng'anonya kumanya okulungi oba okuyigiriza abalala, abeera nga omulwanyi ali mu kkubo lya Allah, era n'oyo aba aguyingidde olw'ekigendererwa ekitali ekyo ab'anga oyo alingiriza ebitali bibye". (Ahmad:10814, ne ibun hibbaan:87).