Ekitundu ekiriwo kati: NABBI EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YYE
Omusomo EBYAFAAYO BYA NABBI MIUHAMMAD EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YYE (1)
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Omusiraamu alina okuyiga ebikwata ku bulamu bwa Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, asobole okugoberera ekyokulabirako kye mu bintu byonna eby’obulamu, anti ebyafaayo bye kuteeka mu nkola amateeka ga Sharia y’Obusiraamu. Yagamba Allah Omugulumivu: (Mazima mulina mwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero,) (Al Ahzab:21)
1. Olunyiriri lwe
2. Bazadde be ebyengera n’emirembe bibeere ku yye
3. Okuzaalibwa kwe
4. Okuyonsa kwe ebyengera n'emirembe bibeere ku yye
5. Enkula ye n’obuvubuka bwe ebyengera n'emirembe bibeere ku ye
Omulimu gwe nga tannaba kutumibya
Obulamu bw’Omubaka ebengera n'emirembe bibeere ku ye, nga tannaba kutumibwa bwali bulamu bwa kizo n’ekitiibwa. Teyamanyikibwaa mu kuseerera konna, era teyawandiikibwa ko muze gona. Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yakula nga yeetooloddwa okulabirira kwa Allah Omugulumivu era n’akuumibwa okuva mu bucaafu obwaliwo mu mulembe ogwo nga busiraamu nga tebuna kujja (omulembe ogw'obutamanya), okutuusa lwe yafuuka asinga essa mu bantu be, abasinga empisa, asinga ekitiibwa mu lunyiriri, abasinga mu murirwaano, abasinga okugumiikiriza, abasinga amazima mu kwogera, abasinga okwesigika, era abasinga okuba ewala n’emize egyonoona abantu, okutuusa lwe yamanyibwa mu bo nga “owaamazima era omwesigwa.”