تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: NABBI EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YYE

الدرس EBYAFAAYO BYA NABBI EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YE (2)

Okukka kw'obubaka eri Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, kwakyusa obulamu bwe ne kukyusa omwaliriro gw'ensi okutuusa ku lunaku lw’amazuukira. Mu ssomo lino, ojja kuyiga ku byafaayo bya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, oluvannyuma lw'okutumibya kwe.

Manya ku byagaawo ebikulu mu byafaayo bya Nabbi  okuva ku kutumibya kwe ebyengera n'emirembe bibbere ku ye  okutuuka ku kufa kwe.

Okutumibya kwe ebyengera n'emirembe bibeere ku ye n'obubaka bw'Obusiraamu

Ekintu Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, kye yasooka okutandika nakyo mu nsonga z’obunnabbi bwe biroto emazima. teyalaba kirito mu tulo twe okuggyako nga kyajja ng’obudde obw’oku makya, okutuusa lwe gyayitawo emyezi mukaaga, olwo obubaka ne kutandika.

Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye bwe yali asemberera emyaka amakumi ana, yayagala nnyo okweyawula, kale omwezi gwa Ramadhan yagumalanga mu mpuku ya Hira, nga yeeyawula n’okusinza eyo. Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yasigala akola kino okumala emyaka esatu okutuusa obubaka lwe bwamutuukako ng’ali mu kimu ku bifo ebyo eby’okweyawola.

Bwe yaweza emyaka amakumi ana, kyamwayakako ekitangaala ky’obunnabbi, Allah Omugulumivu n'amuwa ekitiibwa n’obubaka bwe, n’amusindika eri ebitonde bye, namwawula n’ekitiibwa kye, n’amufuula omwesigwe we wakati we n’abaddu be. Jiburiru emirembe gibeere ku ye, yajja gy’ali olw’ekiragiro kya Allah Omugulumivu, era yamutuma Allah Omugulumivu ng’omusaasizi eri ebitonde byonna, era nga musanyusa w'amawulire era nga mutiisa.

Okukoowola kya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye nga ali mu Makka ey'ekitibwa.

Okuva Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, bwe yafuna ekiragiro kya Mukama we, okutuusa obubaka, nga Allah Omugulumivu bw’agamba nti: (Ai ggwe eyazingidde mu kyambalo kyo, situka olabule) [Surat Al-Muddaththir: 1-2], amangu ago natandika okuyita abantu okusinza Allah yekka n’okukwatira ddala eddiini Allah Omugulumivugye yamutuma nayo.

Okukoowula okw'ekyaama

Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, yatandika okuyita abantu mu Busiraamu mu nkukutu aleme kwewuunyisa bantu b’e Makka n’ekintu ekigenda okubanyiiza. Yatandika okwanjula Obusiraamu eri abo abaali bamusemberedde okuva mu maka ge n’emikwano gye, era n’abuyanjula eri buli muntu gwe yalaba ng’omulungi, okuva ku abo be yali amanyimu okwagala amazima n’obulungi.

Eyasooka okusiramuka

Eyaasooka okusiramuka naye ye mukyala we Khadija bint Khuwaylid, Allah amusiime, munne Abu Bakr al-Siddiq, Allah amusiime, mutabani wa Taata omuto Ali ibn Abi Talib Allah amusiime, n’omuweereza we Zayd ibn Haritha Allah amusiime.

Okukoowola okw'alwatu

Awo ekiragiro ne kiva eri Allah Omugulumivu okumulangirira okutandika okowoola mu lwatu nti: (Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa) (Al-Hijr: 94). Kale Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yayolesa okukowoola kw’obusiraamu era n’alangirira amazima nga Allah nga bwe yamulagira.

Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, bwe yalangirira okowoola kwe eri Obusiraamu, abakulembeze ba Quraysh nebaddamu okowoola kwe nga bakyuka ne bagaana okowoola okwo mu ngeri ez’enjawulo, omuli okumusekererwa, okumunyooma, okumujeeja, n’okumulimbisa, okusobola okumalamu abasiraamu amaanyi, okunafuya empisa zaabwe, okukyusakyusa enjigiriza z’eddiini y’Obusiraamu, okuleetawo okwekengera, okusaasaanya eby’obulimba (pulopaganda), n’okusikiriza Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, okuleka okukowoola nga awaanyisiganyamu amagoba agamu.

Okusenguka e Abashah

Abashiriku bwe baalaba ng’enkola zino tezikola, era nga Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, nga agenda mu maaso n’okowoola kwe, ne basalawo okumulwanyisa Obusiraamu. Baatandika okukosa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, n’okutulugunya n’okuyigganya baswahaaba abaali bakkirizza naye. Obulabe bw’abashiriko bwe bweyongera, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yalagira baswahaaba be okusenguka e Abashah. Abasajja n’abakazi Abasiraamu abawerako baasengukirayo mu mwaka ogw’okutaano ogw’obutume.

Isra ne Mi'raj

Nga Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, ali ku mutendera guno, okukowoola kwe we kwali kutambulira ku kubo eddungi wakati w’obuwanguzi n’okuyigganyizibwa, wagwawo ensonga ya Isra ne Mi’raj. Ekyagwawo kino kyajja okunyweza n’okussa ekitiibwa mu Mubaka wa Allah ebyengera n’emikisa bibeere ku ye, oluvannyuma lw’emyaka emiwanvu egy’okukoowoola n’okugumiikiriza obulabe, okuyigganyizibwa, okuwakanya, n’obukambwe bw’abashiriku.

Okukoowola ebweru w'eMakka

Nabbi yatandika okwanjula Obusiraamu ebweru we Makka. Yagenda e Taif, naye yabasangamu okugaana era n'obutaagala (bubaka bwe), n’adda e Makka n’atandika okwanjula Obusiraamu eri ebika n’abantu ssekinnoomu mu kiseera kya Hijja.

Obweyamo obubiri obwa Aqaba

Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu nga Nabbi tannatumya, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, yasisinkana abasajja mukaaga okuva e Yathrib - oluvannyuma gye yayita Madina - mu kisseera kya Hijja. Yabayanjula Obusiraamu n’abannyonnyola amazima gaayo, n’abakowoola eri Allah Omugulumivu, n’abasomera Qur’an. Baasiramuka oluvannyuma ne baddayo e Madiina ne bakowoola abantu baabwe okutuusa Obusiraamu lwe bwasaasaana mu bo. Olwo obweyamo obwasooka obwa Aqaba ne bumalirizibwa mu kiseera kya Hijja y’omwaka ogw’ekkumi n’ebiri, n’eddirirwa obweyamo obw’okubiri obwa Aqaba mu kiseera kya Hijja y’omwaka ogw’ekkumi n’esatu. Kyakolebwa mu nkukutu. Bwe kyaggwa, Omubaka wa Allah yalagira abasiraamu abo abaali naye okusenguka okugenda e Madiina, bwe batyo ne bavaawo mu bibinja.

Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye mu Madina Al Munawara

Oluvannyuma lw’Abasiraamu abasinga obungi okusenguka okuva e Makka, Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku, ye era Abu Bakr, Allah amusiime, n'abafuluma ng’abasenguka okugenda e Madiina. Kyokka boolekedde oludda olulala okutabula Abaquraysh. Bakka mu Mpuku ya Thawr ne bamalayo ennaku ssatu. Oluvannyuma baasitula okugenda e Madina nga bayita mu kkubo lye baali batamanyi okumpi n’olubalama lw’ennyanja Emmyufu. Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, ne munne bwe batuuka ku njegoyego z’ekibuga Madina, Abasiraamu ne babaaniriza mu lugendo olunene olwali lujjudde essanyu.

Ekintu Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye kye yasooka okukola ng’atuuse e Madiina kwe kuzimba Omuzikiti gwa Nabbi n’okussaawo obwasseruganda wakati w’Abamuhajireen n’Abaansar, bw’atyo n’ateekawo emisingi gy’ekibiina ky’Obusiraamu ekipya.

Oluvannyuma lw’okusenguka okugenda e Madiina, amateeka g’Obusiraamu gatandika okukka, gamba nga zaka, okusiiba, Hijja, Jihad, azani, okulagira ebirungi n’okugaana ebibi, n’amateeka amalala ag’Obusiraamu.

Ettalo za Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye

Yassa Allah Omugulumivu olukusa lw'okulwana eri abasiraamu, basobole okulwanirira eddiini yaabwe n’ensi yaabwe, n’okufuba okubunyisa obubaka obw’olubeerera obw’Obusiraamu. Allah Omugulumivu yagamba nti: (Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti mazima bo balyazaamaanyizibwa) (Al-Hajj: 39). Ye Aya eyasooka okukka nga ekkiriza okulwana. Omubaka wa Allah yakulembera ettalo makumi abiri mu musanvu n’asindika ettalo ataano mu mukaaga.

Ebintu ebisinga obukulu ebyagwawo oluvannyuma lw’okusenguka

Wansi waliwo okulaga mu bufunze ku bintu ebisinga obukulu ebyabaddewo oluvannyuma lwa Nabbi okusenguka okugenda e Madiina.

Omwaka ogusooka ogwa Hijra:

١
Okusenguka
٢
Okuzimba Omuzikiti gwa Nabbi
٣
Okuteekawo emisingi gy’eggwanga ly’Obusiraamu eryasooka

Omwaka ogw'okubiri ogwa Hijra

Okukakata kwa zakat, okusiiba, n’olutalo olunene olwa Badr, Allah mwe yawa abakkiriza ekitiibwa n’abawa obuwanguzi ku bakaafiiri ba Quraysh.

Omwaka ogw'okusatu ogwa Hijra

Olutalo lw’e Uhud, okuwangulwa mwe kwaliwo olw’okujeemera ebiragiro bya Nabbi okukka okuva ku lusozi Ar-Rumaat okukung’aanya omunyago.

Omwaka ogw’okuna mu Hijra

Olutalo lw’e Banu Nadir, Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibbere ku ye mwe yagoba Abayudaaya b’e Banu Nadir mu Madina kubanga baamenya endagaano wakati waabwe n’Abasiraamu.

Omwaka ogwokutaano mu Hijra

Olutalo lwa Banu Mustaliq, olutalo lw’Abakonfederate, n’olutalo lwa Banu Qurayza.

Omwaka ogw’omukaaga ogw’oku Hijra

Endagaano ya Hudaybiyyah wakati w’abasiraamu n’aba Quraysh

Omwaka ogw’omusanvu ogwa Hijra

Olutalo lw’e Khaybar. Mu mwaka guno, Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, era abasiraamu nebayingira e Makka nebakola Umrah y’okuliyirira.

Omwaka ogw’omunaana ogw’oku Hijra

Olutalo lw’e Mu’tah wakati w’Abasiraamu n’Abaruumi, okuwamba Makka, n’olutalo lw’e Hunayn n’ebika by’Abahawzin ne Thaqif.

Omwaka ogw’omwenda ogwa Hijra

Olutalo lw'e Tabuk lwe lwasembayo mu lutalo lwe, ebyengera n'emirembe bibeere ku ye. Mu mwaka guno, ebikonge byajja eri Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, era abantu ne bayingira eddiini ya Allah mu bungi. Omwaka guno gwayitibwa Omwaka gw’Ebibinja.

Omwaka ogw’ekkumi ogwa Hijra

Hijja y’okusiibula, abasiraamu abasoba mu kakadde kyebaalimu ne Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye

Okufa kwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye

Oluvannyuma lwokujjula kw'okukowool kwe, era n’Obusiraamu ne busaasaana mu kizinga ky’Abawalabu kyonna, n’abantu ne bayingira mu ddiini ya Allah mu bungi, era n’obubonero obwasooka obw’okusaasaana kwayo ne bulabikira mu nsi, era ne buwangula amadiini gonna, Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yawulira ng’enkomerero ye nga esembedde, bwatyo n’atandika okwetegekera okusisinkana Mukama we, era ye ebyengera n'emirembe bibeere ku ye. yalaga ebigambo n’ebikolwa ebyalaga okusemberera okuva mu nsi eno eyakaseera obuseera.

Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogwa Hijra: Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yafa. Ekyo kyaliwo ku Mmande, olunaku olw’ekkumi n’ebiri mu mwezi gwa Rabi’ al-Awwal.

Yafa ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, nga alina emyaka nkaaga mu esatu, nga mulimu amakumi ana ku gyo nga tennawebya bwannabbi, n’emyaka abiri mu esatu nga nnabbi era omubaka, kkumi na esatu ku gyo gyali e Makka, n’emyaka kkumi mu Madina.

Yafa ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, naye eddiini ye ekyaliwo. Yafa nataleka kirungi kyonna ky’ataluŋŋamya kibiina kye, wadde ekibi kyonna ky’atabalabula. Ekirungi kye yabalung’amya kwe kukkiriza Katonda omu na buli kintu Allah ky’ayagala era ky’asanyukira, n’ekibi kye yalabula kwe kugatta ku Allah ne buli kimu Allah ky’akyawa era ky’agaana.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار