تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI

الدرس OKUKOLA N'OKUNONYA RIZIKI (SSENTE)

Tumanya mu musomo guno obukulu bwo'kufuna n'okunonya riziki, wamu n'ennamula, n'empisa ezikwatagana ku riziki (ssente).

okumanya kiki ekitegeezebwa mu kukola n'okunonya ssente.okutegeera amateeka n'empisa ezikwaata ku kunonnya ssente

OBUKULU BWA SSENTE

omuntu yetaaga ssente okusobola okufuna ebyetaago bye ebisookerwako; omuli emmere, eby'okunywa, ewokusula, eky'okwambala nebirala, ng'era bwaazikozesa (ssente) okufuna emigaso egiwerako egitereeza obulamu bwe. obusiraamu bwafaayo olufaayo olunene ku nsimbi, era nebutekawo ennamula nyiingi ku kuzifuna wamu ne mu kuzisaasanya.

Amakulu g'okufuna n'okunonya Riziki

Ekitegeezebwa mu kufuna no kunoonya riziki, ge makubo omuntu mwaayita n'emirimu gyaakola okufuna ssente, nebyo ebiyimirizaawo obulamu bwe, ayinza okuba nga azifunye mu busuubuzi, kuweesa, kulima oba amakubo amalala.

Ennamula y'okukola n'okunonya Riziki

١
Okukola n'okunonya ssente kubeera kwatteeka ku musiraamu ssekinnomu mumbeera nga: okufuna ssente ezimala ye n'abantu b'amaka ge, wamu n'abo abamukakatako okulabirira, oba ez'okusasula amabanja, oba ezimuyamba okukuumaa ensa ze nga yeewala okusabiriza.
٢
Okukola ssente kuba kukubirizibwa (okutali kwa tteeka) singa omuntu aba anonya za kukola bintu ebikubirizibwa obukubirizibwa nga sibyateeka, nga okuzikozesa mu kuyunga oluganda, oba okubudabudisa nazo omwaavu.
٣
Okukola ssente oba okuzinonya kubeera nga kukkirizibwa (tekuyina mutawaana yaddeokubaako empeera za allah) singa kubeera kunonya za kukozesa mu bya kweyagalamu ebyo allah bye yakkiriza omuli eby'okulya, ebyokunywa, eby'okwambala nebirala mwe byo ebikkirizibwa ebyeyongera ku byetaago ebisookerwako.
٤
Kunonya ssente kubeera tekukkirizibwa (haraam) wekubeera nga kuyise mu makubo agatakkirizibwa (agali haraam).
٥
Kunonya ssente kuba kutamwa wekuba kufulumye kwebyo ebikulembedde, nga okuba nga kukujja ku kukola emirimu egya sunnah.

Singa ekigendererwa ky'okufuna n'okunonya ssente kubeera kwewaana na kuyinjiwaza, olwo kuba kutamwa, n'eri abamu ku bamanyi kuba tekukkirizibwa (haraam).

kyatteeka ku musiraamu yenza afuba okufuna riziki n'okunonya ssente okumanya ebikwaata ku kyaakola, ng'ayiga ennamula ezifuga enkolaagamu mu bye'nsimbi (ssente); ng'okugulana, okupangisa, okweegatta mu bwannanyini bw'omulimu, enfissi (riba), nebirala mu nkolagana mu bye'nsimbi zaalimu, aleme gugwa mweyo allah byeyaziyiza mu kunonya kwe okwa riziki.

EMPISA Z'OKUFUNA N'OKUNONYA RIZIKI

Mu empisa eza etteeka mu kunonya riziki: obutakeereyesa oba okujjawo kyatteeka kyonna mu mateeka ga Allah, ebyetteeka bino bigwaana okubeera emisingi egyo egiteekateeka ebiseera bye n'okulafubana kwe.

Ne mu mpisa endala ez'etteeka: okunonya kw'omusiraamu riziki temuli ku kosa na kunakuwaza balala, kuba omuntu takkirizibwa kwEEKOSA yadde okukosa abalala.

Omuntu okukenderera mu kunonya kwe okwa riziki ebigendererwa ebirungi; nga okukuma ensa ze n'eza abo abamukakatako okulabirira okweewala okusabiriza abantu, ne okweyambisa ssente okukola emirimu egy'okugondera allah, ekigendererwa kye tekiyina kubeera kukunganya, kuyinjiwaza nakwewaana na ssente, oba nebilala mu ebyo ebigendererwa ebibi.

Omusilamu bwaalongoosa enniyya mukunonya riziki n'agenderera okufuna ekyo kyasaddaka eri abantu nokubagaziyiza okunonya kwe okwa riziki kuba kifuuse kikolwa kya kusinza allah (ibadah), era akufunamu amadaala aga waggulu mu maaso ga allah, omubaka wa allah okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba "omuntu asinga okwaagalibwa eri Allah yoooyo asingaokuba owomugaso eri abantu" (hadith eri mu kitabo kya Imaam Twabaraani ekiyitibwa al-awsatu, ya namba:6026)

Okuba eyeebalirira era eyenkanyankanya wakati w'okunonya ssente n'ebyetaago bye ebirala, okunonya ssente tekufuuka ekigendererwa okuva mu kuba ekkubo erikutuusa ku kigendererwa. swahaba ayitibwa salman yagamba munne abu ddarda allah abasiime bombiriri "omulezi wo akuyinako umugabo, n'omwoyo gwo gulina kyegukubanja (okwebalirira)'ne mukyala wo akuyinako umugabo, buli nanyini mugabo muwe umugabo gwe, abu ddarda nagenda ewa nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye naamugamba salman byamugambye, nabbi namugamba nti "salman ayogedde mazima" mu kitabo kya bukhari ya 1968.

Okwesigamira allah mukunonya riziki: nobwenyyini bw'okwesigamira allah omuntu kwekukwaata amakubo agakkirizibwa mu busiraamu, wamu nga omutima gwe guli ne allah.

Omuntu okubeera nga akakasa nti riziki teva walala ewatali wa Allah yekka, era ayina okubeera nga akakasa nti sikunonya kwe nti kwekujireeta, era asobola okukwaata amakubo g'okunonya riziki natajifuna, ku lw'ebikusike allah yye byaamanyi.

Okusima ekyo allah kya mugabidde n'obutalowoza nti riziki ye ekeereye: Allah yagereka riziki ekiseera kyaayo n'ekigero kyaayo, na bweekityo omusiraamu anonya riziki mu mbeera ey'empisa, okwekkusa, wamu n'okusima ekyo Allah kyeyamuwandiikako nga anoona halaal nga yeewala haraam. omubaka wa Allah okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "abange mwe abantu mutye Allah era mulongoose mukunoonya rizik kuba omuntu tajja kufa okutuusa nga amazeeyo riziki ye neweeba ezze mpola, mutye Allah era mulongoose mukunoonya rizik, mukwate ekikkirizibwa era muleke ekitakkirizibwa" mu kitabo kya ibun majah 2144.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار