تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI

الدرس Okweewola (loan)

Tumanya mu musomo guno ekitegezebwa mu kweewola nezimu kunnamula zaako mu mateeka go busiraamu.

Okumanya ekitegezebwa  mu mu kweewola ne nnamula yakwo no bukwakkulizo obukutuusisa.Okumanya embeera yooyo gwe babaanja mu kaseera ko kusasula.

Allah yagabanya zi riziki wakati wa bantu olwobwenkanya no kuteekaakwe ebintu mu kifo ekisaanidde(hikmah):ne mubeeramu mubbo omugagga,no mwaavu, nooyo ayina obusobozi wamu no mweetaavu, embeera ya bantu entambula nga beewola wakati waabwe ekyo ekibayambako okumala ebyetaago byaabwe.ye nsonga lwaki sharia yo busiraamu nzijuvu ebuna, ennamula ezikwaata ku kweewola eziwera zajja . Allah yayawula okweewola ne aya esiinga obuwaanvu mu quran eye kitibwa,nga ye aya eya 282 eri mu surat al BAQARAH,era eyitibwa aya ye bbaanja

Okweewola kyeki?(Definition)

Kwekuwaayo emmali eri oyo agenda okweegasa nayo era nga agenda kujizza.

Ennamula yo kweewola

Okweewola kyaagalwa(Sunnah) eri oyo awola,era kikkirizibwa eri oyo geebawola . okweewola tekiri mu mulyango gwo kusaba ogutamwa: kubanga eyeewola akwaata(afuna) emmali osobole okwegasa nazo mu kumala ebyetaago bye, Oluvannyuma najikomyaawo.

Wabula wekiba mumbeera yo kuzza omugaso eri oyo awola oyo abeera riba atakkirizibwa:nga okumuwola emmali nga agenda kujimuddiza nga jongeddemu,weeba ezingiddwa mu kweewola akola endagaano endala nga okutunda ne kitali kutunda, tekikkirizibwa

Ekigeendererwa ekiri mukukirizibwa kwo kweewola mu busiraamu.

Obusiraamu bakkiriza okweewola olwekikirimu mu kugondeza abantu,no kwanguya ensonga zaabwe,nokubajjilawo ebizibu byaabwe.nokukubagiza abeetaavu.era mulyango mu milyango ejiseembeza oyo awola eri Allah, obwetaavu jebukoma okuba ngabwaamanyi ne mpeera jeekoma okuba ennene

Kyagalibwa okuteekawo ekiwaandiiko ku kwewoola -oba ebbaanja litono oba ddene-okuwandiika no kujulirira:ekigero kyalo(ebbaanja)nekiwaandikibwa,no muteeko gwaalyo,nebbaanga lyaayo: ebyo bikolebwa lwa kukuuma kwewoola (bbaanja) no kutebeenkeza awola obuteeralikirira kubula kwa mugabo gwe olwo kufa kwooyo gwaabaanja oba okweelabiraakwe oba okugaana kwe(okulyeegaana) nebifaanana bwe bityo, Allah yagamba mu aya ye bbaanja (ekwaata ku kweewola):{Abange mwe abakkiriza we muba mwewolaganye nga ebbaanja eliriko ekiseera ekigere muwandiikeenga ,omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wammwe mu bwenkanya, omuwandiisi tateekeddwa kugaana kuwaandiika nga Allah bweyayigiriza , (omuwandiisi) ateekwa awandiike,gwe babaanja yatekwa okwogera ebyo ebiwandiikibwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Allah,tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwaata ku bbaanja eryo.al baqarah :282, era Allah yagamba mu aya yennyini: temweekaanyanga okuwandiika ebbaanja kalibe ttono oba ddene mu wandiikeenga nga mulaga ekiseera kyaalyo weliggweerayo, ekyo nno kilaga obwenkanya mu maaso ga Allah era mungeri yemu kye kisiinga obujulizi obutabula no butabeelawo kubuusabuusa} [al baqarah: 282]

Obukwakkulizo obutuusisa okweewola

١
Ebbaanja liyina okujjula no okwaatula nga bye bigambo ebibeera wakati wooyo eyeewola ne geebawola oba kyonna ekiri mukifo kyaakyo.
٢
Okubeera nga akola endagaano -awola oba gwe bawola- nga ayina okubeera omukulu nga ategeera ,mulungamya ,nga yesaliddewo,nga akigaba no kukikungaanya
٣
Okubeera nga emmali eyeewolebwa nga ekkirizibwa mu busiraamu.
٤
Okubeera nga emmali eyeewolebwa nga emaanyiddwa ekigero kyayo.

Kikakata kwoyo eyeewoze emmali okuva ewomulala okumalirira okuzzaayo ebbaanja, tekikkirizibwa ku muntu okutwaala emmali ya bantu nga amaliridde obutajizza eri bannyiniyo,singa akaseera kokusasula ebbaanja katuuka kimukakatako okulisasula.hadiith nga Eva Ku swahabah ayitibwa Abihurairah Allah asiime kuyye ngajja ku nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti "oyo yenna atwaala emmali za bantu (eyeewola)nga ayina enniyya (obumalirivu) okujizzaayo natasobola Allah amusasulira( ebbaanja), ate oyo yenna atwaala emmali za bantu nga amaliridde obutazizza (okwonoona) ne Allah amwoonoonera" (Al bukhari 2387)

Embeera zooyo gwe babaanja mu kaseera ko kusasula ebbaanja

١
Okubeera nga tayina kyalina kyonna okutwaaliza ewamu,mu mbeera eno kikakata okuliindamu eri oyo gwe babaanja nga tayina busobozi.Allah yagamba nti:{siinga gwe babaanja abeera nga ali mu kaseera akazibu (tayina busobozi) mumuwe akadde paka wafuna obwangu naye ate wemubaanga mu saddaase kye kirungi erimu mwe wemubanga mumanyi} [Al -baqarah 280].
٢
Okubeera nga emmali ye nyiinji okusiinga ebbaanja lye,kino kimukakasaako okusasula ebbaanja,,mu mbeera nga omugagga abaanjibwaa (ayina obusobozi) obutalwaawo kusasula bbaanja mu kaseera ko kulisasula, hadiith nga Eva Ku swahabah ayitibwa Abihurairah Allah asiime kuyye yagamba: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:"okulwaawo kwo mugagga (ayina obusobozi) okusasula ebbaanja buba bulyaazaamaanya". (Al bukhari 2288, Muslim 1564)
٣
Emmali eyina okubeera nga ekigero kyayo nga kimala ebbaanja,kino kimukakasaako okutuukiriza okusasula ebbaanja.
٤
Emmali eyina okubeera nga ntono nnyo ku bbaanja lye,omwoonoonyi ono abonerezebwa , ababanja webaba basabye ekyo oba abamu abamu kubbo,era emmali ye egabanyizibwa wakati waabwe okusinzira ku bbaanja lya omu mubbo.

Ennamula yo kuteeka ssente mu mabanka

١
Okuteeka ssente mu mabanka ago busiraamu ago nga enkolagana yaagwo ekwaatagana ne nnamula za sharia kikkirizibwa okutereka ssente mu mabanka ago
٢
Wabula okutereka ssente mu mabanka aga riba tekifulima ku mbeera babiri ekisooka:okuba nga okutereka ssente kweenkana no mugaso, kino ye riba atakkirizibwa okutereka ssente kuno tekukkirizibwa, ekyokubiri,okuba nga okutereka ssente mukubalabalamu tekuyina mugaso,era nakuno tekukkirizibwa kubanga mulimu okuyamba ku bbank okukozesa ssente mu nkolagana eya riba,nemuvamu embeera ya nnaakolaantya eyo buwaze entuufu:nga omuntu atereka (depositer) okutya emmali ye okubula oba okubbibwa, nga tewali ngeri ndala ekkirizibwa ku kuuma mmaali ye wano kikkirizibwa olwannaakola atya.

Tekikkirizibwa ku teekawo ngasi(fine) ku gwebabaanja waaba akeereye mu kusasula ebbaanja mu kaseera akakomeke.kuba abeera riba tekikkirizibwa kwewoola nga waliwo akakwakkulizo Kano,nekibanga gwe bawola akakasa nti asobola okutuukiriza endagaano nga tewali ngasi (fine), kubanga kiyingira mu ndagaano elimu okumalirira ku riba

Okulongoosa mu kaseera kokuzzaayo ebbaanja

Okulongoosa mu kusasula ebbaanja–nga okumuwola ekintu kyonna namuddiza ekisinga kukyo, oba ekisinga kukyo oba ekisinga obungi kukyo -kyagalibwa wekiba nga si kakwakkulizo: kubanga kiri mu kuloongoosa mu kusasula ebbaanja,era Kya mu mpisa eze kitibwa,singa kabeera nga kakwakkurizo ekyo kibeera riba atakkirizibwa

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار