تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: OKUSIIBA

الدرس Iddi (olunaku lw'okujaguza)

Iddi bweebumu ku bubonero bw'eddiini busiraamu obweeyolese, era Allah ow'ekitiibwa buli kibinja ky'abantu yakiteerawo iddi (ebijaguzo) ebyaakyo. Ogenda kutegeera mu musomo guno ebimu ku bikwaata ku bijaguzo by'abasiraamu.

  • Okutegeera iddi z'abasiraamu.
  • Okutegeera esswala ya iddi esaalibwa etya.
  • Okutegeera agamu ku mateeka n'enneeyisa ezikwaata ku lunaku lwa iddi.

Ebijaguzo (iddi) zimu ku bubonero bwe ddiini busiraamu obweeyolese.

Nabbi Muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyatuuka e madiina yasanga abantu b'emadiina - nga be baali abasiraamu mu bbo - balina ennaku bbiri mu mwaaka mwebazanyira era nebasanyuka (ebijaguzo): n'abagamba: ennaku zino ebbiri biki ebizikwaatako? N'ebagamba: ennaku twaali nga tuzijagulizaamu nga tonnaba kutumibwa, Nabbi Muhammad n'abagamba: "Allah abakyuusirizzaamu ennaku ezisinga kweezo obulungi; olunaku lwa iddi adhuha, n'okwa iddi fitiri" (abu dawuda:1134), Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yatunyonyola nti ebijaguzo bino biri mu bubonero bwa ma diini, yagamba: "buli kibinja kya abantu kirina ebijaguzo, era naffe bino bye bijaguzo byaffe" (eri mu kitabo kya bukhari:952, muslim:882)

Iddi mu busiraamu

Iddi mu busiraamu lweelunaku abasiraamu lweboolesezaamu essanyu lyaabwe (okujaguza), mu kuba nti bamazeeko okusinza kwaabwe, era nga beebaza Allah okubasobozesa okumusinza, era kikubirizibwa ku iddi okwo, okusanyusa abantu, okwambala engoye ezisinga obulungi, okuyisa obulungi abetaavu, n'okwesanyusaamu nga tuyita mu makubo gonna agakkirizibwa ng'obubaga n'ebijaguzo byonna ebisanyusa emitima gy'abantu, era nga bibajjukiza n'ebyengera bya Allah.

Abasiraamu bayina iddi zebajagulizaamu bbiri mu mwaaka, era tekikkirizibwa kufunayo lunaku lulala mu mwaaka olutali ku zzo nti lufuulibwe iddi, era nga zeezino:

١
Iddi al-fitiri: luno lwe'lunaku olusooka mu mweezi gwa shawwaal (ogwekkumi mu busiraamu).
٢
Iddi adhuha: luno lwe'lunaku olw'ekkumi mu mweezi gwa dhul-hijja (ogusembayo mu mwaaka gw'obusiraamu)

Esswala ya iddi

Eno y'esswala obusiraamu jebwassaako enyo essira, era nebukubiriza n'abasiraamu abaami n'abakyaala wamu n'abaana okugenda weesaalirwa. Ekiseera kyaayo kibaawo okuva ng'ejuba esituse nejjayo amafumu gaayo agasooka mu bwengula okutuusa enjuba lwetandika okutambula ng'edda ebugwa njuba.

Ensaala y'esswala ya iddi

Esswala ya iddi eyina eraaka bbiri ezisaalibwa mu lwaatu, imaam abuulira oluvanyuma lw'esswala embulira bbiri, era kikubirizibwa okukuba takibiira esukka kweemu ku ntandikwa ya raaka, mu raaka esooka akuba takibiira mukaaga oluvanyuma lw'eyo eggulawo esswala nga tannatandika kusoma, na bweekityo mu raaka ey'okubiri akuba takibiira ttaano oluvanyuma lweeyo jaakuba ng'ava mu kuvunnama era nga tannatandika kusoma

Kikubirizibwa okubunya essanyu mu bantu b'enju y'omusiramu.

Okuviira ddala ku bato okutuuka ku bakulu abaami n'abakyaala, okuyita mu makubo gonna abakkirizibwa, okwambala engoye ezisinga obulungi, okusinza Allah nga tuyita mu kusiibulukuka (okuva mu kusiiba kwa ramazan), era n'okulya emisana gy'olunaku olwo, era kyov'olaba nga tekikkirizibwa kusiiba ku lunaku lwa iddi.

Okukuba takibiira ku iddi

Kikubirizibwa okukuba takibiira ku iddi al fitiri ; olw'okwoolesa essanyu ku lw'okutuuka ku iddi, era n'okwookumalako okusiiba omweezi gwa ramazan ey'omukisa, n'okweebaza ebyengera bya Allah byaatuwa, n'okuba nti yatusobozesezza okumalako okusiiba, Allah ow'ekitiibwa yagamba: "muteekwa okujjuza omuwendo gw'ennalu za ramazan, era mugulumize Allah kweekyo kye yabalungamyamu oba olyaawo ne mweebaza. (Essuula 2:185), ng'era bwe kikkirizibwa okukuba takibiira ku iddi adhuha; nga olw'okwoolesa essanyu ly'okutuuka ku iddi, era n'okukola ekyaalalikibwa (emikolo gya) hijja kwaabo abagenze mu hijja, era ku lw'okweebaza Allah olw'okubasobozesa okukola emirimu emituufu mu nnaku ekkumi eza dhul-hijja, nga bbo abali mu hijja wamu n'abasiraamu abalala, Allah yagamba bweyali ayogera ku kusala dhuhiya: "tetuuka ku Allah enyama y'ebisolo ebyo byemuba musaze yadde omusaayi gwaabyo, naye kumutuukako okumutya okuva gyemuli, bwe kityo yazibagondeza (ensolo) mulyooke mwoogere ku Allah ku lw'ekyo kyeyabalungamyaamu, buulira (gwe Muhammadi) ng'osanyusa abalongoosa (emirimu gyaabwe)". (Essuula [hajji] 22:37)

Enkuba ya takibiira za iddi.

Allahu Akbar Allahu Akbar, laa ilaaha illa Llahu Allahu akbar, Allahu akbar wa lillaahi-L-hamdu. Era agamba: Allahu akbaru kabiira, wa-l-hamdu lillaahi kathiira, wa sub-haana llaahi buk-rata wa aswiila.

Era kikubirizibwa eri abasajja okusitula amaloboozi gaabwe nga baleeta takibiira zino, mu mberra etakosa bantu balala oba okubataataganya, ate bbo abakyaala bazireeta mu kyaama (oba mu ddoboozi lya wansi)

Wuliriza (eddoboozi) eririmu takibiira za iddi okuva ku muzikiti gwe makkah.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار