تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Okufa n'okuwerekera omufu

الدرس Okukubagiza n'okukungubagira omufu

Okukubagiza n'okukungubagira omufu, n'okulambula entaana birina amateeka n'empisa mwebikolebwa omusiraamu zasaanidde okugoberera. Mu musomo guno ogenda kutegeera ebimu kweebyo.

  • Okumanya amateeka, n'empisa z'okukubagiza , okukungubaga emwamu n'okulambula entaana.

Okukubagiza

Kikubirizibwa okukubagiza abafiirwa, n'okugumya ab'enganda z'omufu, n'okubazzaamu amanyi ku ki ekibatuuseeko nga tukozesa ebigambo ebirungi, ng'okusabira omufu, okugumya n'okugumiikirizisa abantu b'omufu n'abenganda ze, era n'okubajjukiza okusuubira empeera okuva eri Allah, Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba ng'agumya muwala we zainab bweyali afiiriddwa omwaana we: "mazima Allah kyaatutte kikye, era ne kyaaba agabye kikye, era buli kimu kirina ekiseera ekigere mu maaso ge, gumiikiriza, era osuubire Allah okukuwa empeera (olw'ekizibu kyoofunye)" (bukhari:1284, muslim:923)

Kisoboka okukubagiza abantu b'omufu nga tannaba kuziikibwa n'oluvanyuma lw'okumuziika, wonna wekiba kikoleddwa, mu muzikiti,oba ku kijja (ewaziikibwa), oba mu nju, oba ku mulimu, oba ewalala wonna.

Tekisaanidde kuwanika nyo mikolo gya kufiirwa ng'okuteekawo weema, oba okukolawo omukolo abantu nebayitibwa ku ggwo, ebyo byonna ssi bya mu nkola ya Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye wadde ba swahaba be, era si kintu kisaanidde kusanyukirwaako okutuusa ku ssa ly'okukikolera omukolo omunene.

Okunakuwala wamu n'okukungubagira omufu

Okukaaba kiba kisa eky'obutonde na kulaga mbeera muntu bwaawulira olw'okufiirwa n'ennaku gyaalimu, era ne Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yakulukusa amaziga ng'afiiriddwa mutabani we ibrahiim (bukhari:1303, ne muslim:2315)

Obusiraamu bwateekawo ekkomo ku kunakuwalira omufu:

١
Obusiraamu bwagaana okweekaluubiriza n'okusitula eddoboozi mu kukaaba, era n'okukola ebintu ebyaawukana n'ensomesa z'obusiraamu ng'okweekuba empi, okuyuza engoye, n'ebirala ebifaananako ebyo.
٢
Bwagaana omukyaala okuleka okweewunda olw'okkungubagira okufa kw'omu ku b'enganda ze okusukka ennaku ssatu, okujjako singa aba bbaawe nga yaafudde.
٣
Okukungubaga kw'omukyaala ng'afiiriddwa bbaawe: akakatwaako okukola ensonga ezimu mu kaseera k'okutuula idda y'okufa kwa bba(ekiseera ekirindibwa nga tannafumbirwa).

Idda (ekiseera omukyaala ky'alinda nga tannafumbirwa musajja mulala) y'omukyaala afiiriddwaako bba

Giba emyeezi ena n'ennaku kkumi, oba asita amala okuzaala bwaaba nga ali lubuto

Kii ekikakata ku mukyaala ali mu idda y'okufiirwa bbaawe?

١
Alina okweewala okweekuba obuwoowo, n'okuteekako malidaadi (ng'ebikomo) n'obutayambala ngoye za kweewunda, n'okwesiiga hina nabuli kyesiigibwa okwewunda.
٢
Akkirizibwa okwambala engoye eza bulijjo eza langi yonna asita ziba nga ssi za malidaadi na kwewunda, ng'era bwaatagaanibwa kunaaba nakusanirira nviiri ze, era akkirizibwa okufuluma mu nju olw'obwetaavu emisana ssi kiro, era akirizibwa n'okwoogera n'abasajja abatamuzira kufumbirwa mu mbeera etaliimu kusiibirizibwa.

Okulambula entaana: kulimu emiteeko esatu:

١
Okulambula okukubirizibwa
٢
Okulambula okukkirizibwa
٣
Okulambula okwagaanibwa

Okulambula okukubirizibwa

Kwe'kulambula entaana olw'okwejjukanya ku kufa n'obulamu bw'enkomerero, nga Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba: "nali mbaganye okulambula entaana, naye muzirambule" mu njogera endala: "mazima kwo (okuzirambula) zibajjukiza enkomerero" (muslim:977, ne tirmidhi:1054). Era kuno kulambula ntaana ezitali wala, naye tekikkirizibwa kutambula lugendo na kusiba ngugu lwa kulambula ntaana, kuba eky'okusiba engugu mu busiraamu ku lw'ekikolwa eky'okusinza (ng'okulambula entaana) tekikkirizibwa okujjako nga zisibibwa kugenda kusinziza mu mizikiti esatu egyenjawulo (makka, madiina, ne palestine).

2. Okulambula entaana okukkirizibwa (okutaliiko mpeera)

Kwe'kulambula olw'ekigendererwa ekikkirizibwa naye nga ssi lwa kwejjukanya ku nkomerero (nga ekigendererwa tekiriimu kusinza Allah) ng'era temuli byaaziyizibwa, ng'okulambula entana ya muganda wo oba mukwaano gwo, ng'ekigendererwa ssi kya kwejjukanya ku nkomerero naye nfa kugendayo bugenzi.

Okulambula entaana okwaziyizibwa

Kwe'kulambula okubaamu ekinti kyonna ekyaaziyizibwa; ng'okutuula n'okutambulira ku ntaana, okweekuba empi, okuwowoola wamu n'okukuba emiranga, oba ng'okulambula okwo kulimu ebizuule mu ddiini; ng'okusaba ng'oyita mu bafu, oba okunonya emikisa ng'oyita mu kusimuula ku ntaana n'ebifaananako bityo, oba nga kulimu okugatta ku Allah; ng'okusaba abafu okumala ebyetaago byo, n'okubakowoola okukuyamba.

Okulambula entaana kusanye kubeeremu ebigendrerwa ebyenjawulo:

١
Ekisooka: okwejjukanya ku nkomerero, okwebuulirira n'okwejjukanya okusinziira ku bafudde.
٢
Eky'okubiri: okukola ebirungi eri omufu ng'okumusabira Allah amusonyiwe era amusaasire, kubanga yye ekyo kimusanyusa ng'omulamu bwaasanyuka nga waliwo amulambudde n'amuwa ku birabo.
٣
Eky'okusatu: omuntu alambudde entana okukola obulungi eri omwooyo gwe ng'agoberera enkola ya Nabbi mu kulambula entaana, era ng'agenderera n'okufuna empeera.

Mu kulambula entaana kisaanidde okweegendereza okulaba ng'entaana tezitulwaako yadde okutambulirwaako mu mbeera y'okuziwa ekitiibwa n'omufu, ky'ova olaba Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yatunyonyola ekibonerezo kyeekyo n'agamba: "omu ku mmwe okutuula ku lyanda neryookya engoye ze nerituuka ku mubiri kirungi gyaali okusinga okutuula ku ntaana" (muslim:971).

Edduwa y'okukyaalira entaana

Ezimu ku dduwa (ssaala) ezaava ku Nabbi ezisabibwa mu kulambula entaana: "Assalam alaikum daara kawumi mu'uminiina, wa-inna in shaa-a llaahu bikum laahikuuna" (muslim:249) oba "Assalam ala ah-li ddiyaari minal-mu'miniina wal-muslimiina, wa yar-hamu llahu al-mustak-dimiina minna wal-musta-akhiriina, wa-inna in shaa-a llahu bikum laahikuuna" (muslim:974). "Assalam alaikum ah-la ddiyaari minal-mu'miniina wal-muslimiina, wa-inna in shaa-a llahu bikum laahikuuna, as-alu llaha lana walakum al-aafiya" (muslim:975)

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار