Ekitundu ekiriwo kati: QUR'AN EY'EKITIIBWA
Omusomo AMATEEKA N'EMPISA Z'OKUSOMA QUR'AN ENTUKUVU
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Empisa z'okusoma Quran Entukuvu
ENNAMULA Y'OKUKWAATA QUR'AN MU MUTWE
Hadith eva ku Aisha, Allah amusiime, nga ajijja ku Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, yagamba nti: “Ekyokulabirako ky’oyo asoma Qur’an n’agikwata mu mutwe abeera wamu n'abawandiisi ab’ekitiibwa n’abatuukirivu (bamalaika).”Al-Bukhari (4937).
ENNAMULA Y'OKUSOMA QUR'AN ENTUKUVU
ENNAMULA Y'OKUWULIRIZA N'OKUSIRIKA NGA QUR'AN ESOMWA
Kyatteeka ku buli muntu okukkiriza Qur’an Entukuvu n’okukolera ku mateeka gaayo, nga ofuula Halal ebyo by'efuula Halal, n'ofuula Haram by'efudde Haram, n'okuyimirira notakola mu kaseera nga eziyizza, n'okuteeka mu nkola ebiragiro byayo, n'okujikolerako.
Omusiraamu alina okwemanyiiza n'okwekwaata ku kujisoma, era tasaanidde kuleka lunaku lumu nga tasomye kintu kyonna mu Qur’an aleme kukyerabira oba okukisenguka, Allah Omuyinza w’ebintu byonna yagamba nti: “ Era Omubaka ajja kugamba nti, ‘Ayi Mukama wange, mazima abantu bange baafuula Kur’an eno okuba ekintu eky’okulekebwawo (ekyasengukwa).’” [Al-Furqan: 30].
Hadith eva ku Abu Musa, Allah amusiime, nga ajijja ku Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, yagamba nti: “Soma Qur’an buli kiseera, kubanga ndayira oyo alina omwoyo gwange mu ngalo ze , yyo y'esinga okutoloka okusinga eŋŋamiya esibiddwa.” Al-Bukhari (5033) Omuwandiisi w’ebitabo.