تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI

الدرس OKUZANNYA ZZAALA

Omusomo guno gutunyonyola amakulu ga zzaala n'ebyookusiba ku mizanyo, era ne gutunynyola ennamula yaabyo, ebizibu ebibivaamu eri omuntu n'ekitundu.

  • Okumanya amakulu ga zzaala n'okusiba ku mizanyo.
  • Okumanya ennamula ya zzaala n'okusiba mu busiraamu.
  • Okunyonyola emiteeko gya zzaala n'ebizibu ebimuvaamu.

Okuzanya zzaala kyekki ?

Gwe muzannyo omuntu omu oba ekibinja ky'abantu mwebawangulira ate abalala nebafiirwa, buli agweetabyeemu abeera wakati w'okuwangula n'okufiirwa ekiwangulwa (ssente oba ekirala).

Ennamula y'okuzannya zzaala:

Okuzanya zzaala kwaaziyizibwa mu quran, ensomesa za nabbi, wamu n'okwegatta kw'abamanyi b'obusiraamu.

Omuwanguzi afuna omugaso mu kuzannya zzaala, naye Allah yannyonyola nti obubi na kabenje k'okuzannya zzaala ke kasinga obunene okusinga omugaso ogulimu. Allah Ow'ekitiibwa yagamba nti: "Webakubuuza ku mwenge ne zzaala bagambe nti by’ombiriri muli obubi bunene n'emigaso eri abantu ne obubi bwa bino by’ombiriri bunene nnyo okusinga omugaso gwa byo" (essuula 2: 219)

Allah yagamba nti : "Abange mwe abbakkiriza mazima ebitamiiza, zzaala, n'okusaddakira amasanamu n’obusaale obulagula (n'ebirala ng'ebyo) byenyinyalwa bya mu mirimu gya sitaani, kale mubyeewale oba olyawo ne mwesiima" (surat Maidah :90)

Obubi obuli mu kuzannya zzaala eri omuntu ssekinnomu wamu n'ebitundu:

١
Okuzannya zzaala kuleeta obulabe n'okunyiigagana wakati w'abantu: kubanga omu kubazannyi oba kwabo abavuganya ku mmaali gye bataddewo okuwangula nga bayita mu muzanyyo bwagifuna kijjuza obusungu ne nge mubifuba bya'balala, nebabeera nga balinda omukisa nabo bamukose, era kino kyeeyolefu buli omu akimanyi, era kino kikakasa ekIgambo kya Allah Ow'ekitiibwa: "Mazima ayagala sitaane okuyingiza wakati wammwe obulabe n'okukyawagana, mu mwenge (n'ebitamiiza ebirala) ne zzaala" (essuula alma-ida 5: 91)
٢
Okuzannya zzaala kukujja ku kujjukira Allah n’okukujja n’esswala, era nga kye kigendererwa ekinene mu bigendererwa bya sitaani, nga wekyajja mu nkomerero ya aya ekulembedde nti (era abaziyiza okwoogera ku Allah n'okusaala".
٣
Okuzannya zzaala kwonona ssente: bameka mu bagagga nga bafuuse baavu abatayina wadde nsonga y'okuzannya zzaala.
٤
Okulemera ku kuzannya zzaala: kwongela omuwanguzi omululu ogw'okwongera okuzannya zzaala, era kwongera noyo atawangudde omululu ogw'okuzza ekimugenzeeko.
٥
Okusattulukuka kw’amaka: okulemera ku kuzannya zzaala kuleetera omuzannyi obutafaayo ku nsonga za maka ge, era n’ekuviirako okwoononeka kwe mmaali olwa ebizibu by'ebikozesebwa n'ebyo ebikosa obwongo, era ebiseera ebisinga bangi bakomekkerera n’akwawukana wamu n’okusaanawo kw'amaka.

Emiteeko gya zzaala:

1. Buli muzzanyo ogulimu omuwanguzi okutwala ekintu kyonna okuva kwoyo awanguddwa: eky’okulabirako kwekubeeranga ekibinja mu bantu kizanyyisa amatatu buli muntu nassaayo ekigero kye mmaali,nga era oyo yenna awangula mubbo atwaala emmali yonna.

2.OKUSIBA KU KUWANGULA KWA TTIIMU. ttiimu y'omupiira oba omuzannyi, n'ebifanana webityo:abasiba bassaayo emisingo buli omu ku kuwangula kwa ttiimu ye oba omuzannyi we,singa ttiimu ye ewangula afuna ssente, ate siinga tewangula ssente azifiirwa.

3.AKALULU K'OKUTEEBA AKAPAPULA AK'OMUKISA: ekyo'kulabirako omuntu ogula akakonge mu ddoola oluvanyuma newabaawo okutambuza obukonge obw'enjawulo (mu kyuuma) singa akakonge ke kawangula afuna ezisinga kuzeyataddemu, naye nga kiba kizibu okufunamu, yadde zeyataddeyo oba ezisingawo.

Okwetaba mu mpaka nga ziyita mu kukuba amasimu oba eza obubaka obuwandiikibwa obusindikibwa ku masimu naye nga omuwendo gw'okusindika guba gwa waggulu okusinga ku gwa bulijjo, era na bwekityo emizannyo gyonna egy'okunyenya oba okutambuzisa amasanyalaze, oba ku mikutu gy'emitimbagano,egyo omuzanyi gyabeera mu jjo ng'ali wakati w'okufuna emmaali n'okufiirwa.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار