تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU

الدرس Emisiingi gyo kuloonda omwaami no mukyala

Tumanya mu musomo guno emisiingi egisiinga obukulu egyo kuloonda Kwa bafumbo ababiri.

. okumanya ekifo kye ndagaano yo bufumbo mu busiraamu.. okumanya amateeka (principles) agasiinga obukulu mu kuloonda Kwa bafumbo ababiri .. okunnyonnyola obwenkanya bwo busiraamu eri omukazi mu mulimu gwo kuloonda omwaami.

Endagaano yo bufumbo eri mu ndagaano ezisiinga okubeera nga nkulu nyyo nezisiinga okubeera nekifo ekyawaggulu mu busiraamu, sharia yo busiraamu yagyetoloola(endagaano yo bufumbo)okuviira ddala wansi,buli ludda lufuna kyelwagala ne migaso okuva mu ndagaano,nekiyaamba obufumbo okugenda mu maaso no butebenkevu bwe nnyumba ensiraamu.

Empagi ebbiri eza famile

Empagi enkulu mu kuziimba famile ye mwaami no mukyala, sharia yalulunkanira okubeera na kakwaate akalungi (obufumbo)wakati waabwe, nafuula ekyo nga kiri mu bubonero bwe ne mu byengera bye byaawa abaddu be

Allah yagamba:{era mu bubonero bwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abajja mummwe,mube nga musobola okubeera nabo era yassa wakati wammwe omukwano no kusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza}[Arruum:21].

Okuloonda okulungi okwa bafumbo ababiri.

Okuloonda okulungi gwo genda okutambuza naye obulamu (life partner) gwe mutendera ogusiinga omugaso mu kufuna famile ensanyufu no kuziimba famile entebeenkevu.

Amateeka agasiinga obukulu mu kuloonda Kwa bafumbo ababiri

١
Obulongoofu bwe ddiini ne mpisa.
٢
Okutebeenkera kwo mwooyo
٣
Okweenkanankana.

Obulongoofu bwe ddiini ne mpisa

Kino kye kikolo ekigwaana buli musajja no mukazi okululunkanira mu kaseera ko kuloonda gwe bagenda okukolagana naye mu bulamu (partner),obulongoofu bwe ddiini ne mpisa bimala nga Allah akkirizza okufuna essanyu mu bulamu bwo kunsi ne kunkomerero.

Nabbi صلى الله عليه وسلم yakubiriza okuloonda omukyala omuloongoofu nga ayina eddiini:“omukazi awasibwa lwa bintu Bina:olwe mmaali ye, olwo lulyo lwe,no lwo bulungi bwe,ne lwe ddiini ye,loonda ayina eddiini wotaloonda ayina eddiini emikono gyo gisaabe ettaka"(Al-bukhari 5090,ne muslim 1466), omukazi ayina eddiini atya Allah,na'luunda ebivunaanwa bye nnyumba ye no mwaami we nga waali nawaana taliiwo.

Mu kuloonda omwaami nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«wabajjiraanga oyo gwe musiima empisa ze ne ddiini ye mumuwe omukazi, wemuba temukikoze wagenda kubaawo ekikemo mu nsi no kusasaana kwo bwonoonefu »(ibn maajah 1967),abalongoofu abatusooka abamu bali bagamba nga:"wooba ofumbiza muwala wo mufumbize wa ddiini; waaba amwagadde amuwa ekitiibwa, ate waaba amunyiigidde tamulyazamaanya".

Okutebeenkera okwo mwooyo

Nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba:«emyooyo giriinga abajaasi abawandisiddwa; kale egyo ekitegeragana gikwaatagana,ne'gyo egitategeragana gyawukana »(Al-bukhari 3336,ne muslim 2638),kino kikakasa obukulu bwo butebenkevu no kukwaatagana okwo mwooyo,okufuna omukago no bulamu obwo bufumbo obusanyufu okugenda mu maaso

Nolweekyo nabbi صلى الله عليه وسلم yalagira oyo yenna ayagala okwogereza omukazi ne kigambo kye (nabbi yalagira ne kigambo kye ekigamba):«mutunuulire(omukazi) kiyinzika nnyo okubeerawo enkolagana wakati wammwe"(tirimith 1087).kyategeeza nakyo: omukwano okugenderera wakati waabwe, okutunula kuno kuli mu ddeembe lyo musajja no mukazi naye :buli ludda mu bombiriri lumanye olulala, omwooyo gwe gutebenkere gyeluli(oludda lwo makazi).

Okweenkanankana

Ekitegezebwa no kwenkanankana wayina okubeerawo okusemberagana no kukwaatagana wakati wa bafumbo ababiri mu mbeera eze byensimbi ne ze mbeera ezaabulijjo (social), abamanyi abamu bagenda ne ndaba yo kubeerawo akakwakkulizo ako abalala ne balaba nti ekitunuulirwa ekibalibwa ye ddiini ne mpisa zokka, naye mweebyo ebitaliimu kubuusabuusa obutabeerawo kusemberegana ku mutendera gwe mbeera ezaabulijjo no kumanya ne mmaali wakati wa bafumbo ababiri eyinza okubeera ensonga eviirako okunyeenya obulamu obwo bufumbo no ku butawaanya no kubeera mu buzibu obuleeta okusasika(okwawukana)

Okusiima no kukkiriza

Wamu no kufaayo okuloonda okulungi, obufumbo buyina okubeerawo na kusiima no kukkiriza okuva mu njuuyi zombiriri, nga tewali kazito (pressure) oba okukaka okuva ewo muntu yenna,newukaba kuva mu bantu abasiinga okubeera abo kumpi gyebali.

Obusiraamu bwakolera omukazi obwenkanya,ne buteekawo akakwakkulizo ko kusiima kwe no kukkiriza kwe omwaami, omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba:«namwandu tasaana kufumbirwa okutuusa nga amaze kwebuzibwaako,ne mbeerera tasaana kufumbirwa okutuusa nga olukusa lwe lusabiddwa» baswahaba ne bagamba nti owaaye omubaka wa Allah, olukusa lwe lubeera lutya? nagamba:«asigala asirise»(Al-bukhari 5136,ne muslim 1419),ne mu kyafaayo kya khanisaa-u bint khadhaam Al-Answaariyyah"mazima kitaawe yamufumbiza nga namwandu , ekyo nakitamwa, nagenda ewo mubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم ,nasazaamu obufumbo (omubaka nabusazaamu)"(Al-bukhari 5138).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار