تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Omukyaala omusiraamu

الدرس Okwetukuza kwo mukazi omusiraamu

Tumanya mu musomo guno ennamula ezikwaata ku kwetukuza kwo mukazi.

. okunnyonnyola ennamula yo mukazi okuyiga ennamula zo kwetukuza ezimweyawulidde.. Okumanya janabah kyeki ne haidhu(periods) ne nifaasi nezimu ku nnamula ezikwaatako.. okunnyonnyola ennamula ze'byo ebifuluma mu mukazi nga si musaayi gwa haidhu ( periods) ne nifaasi.

Obusiraamu bwaakakata ku mukazi omusiraamu okuyiga ebyo byeyeetaaga mu nnamula ze'byo kwetukuza okweeyawudde kuyye (okumweeyawulidde); nga haidhu (ensonga za bakyala),ekikulukuto(ekyalaalo)ne nifaasi (omusaayi ogujja mu kaseera ko kuzaala no luvannyuma lwo kuzaala).

Mu nsonga ezo ezikakata ku mukazi okuzimanya no kuzikolerako.

١
Okunaaba oluvannyuma lwo kwegatta (janabah).
٢
Okunaaba oluvannyuma lwo musaayi gwa haidhu(ensonga za bakyala) okuggwaayo (okulekeraawo).
٣
Okunaaba oluvannyuma lwo musaayi gwa nifaasi (omusaayi ogujja mu kaseera ko kuzaala no luvannyuma lwo kuzaala) okuggwaayo .

Okunaaba janabah(oluvannyuma lwo kuvaamu amazzi agazaala (sperms)oba okwegatta)

Janabah mu lulimi kwekubeera ewala(okwesamba), ate janabah mu sharia (mu busiraamu)kwekuvaamu amazzi agazaala (sperms)oba okwegatta, kitwaaliramu omusajja no mukazi,ayitibwa eyesaambye(junuba) kubanga agaanibwa okuseemberera ebifo bye sswala okutuusa watukula, okunaaba janabah kyatteeka elwe kigambo kye Allah:{ era wemuba muyina janabah mweetukuze}[Al-maidah:6]

Okunaaba oluvannyuma lwo musaayi gwa haidhu okuggwaayo

Kikakata ku mukazi omusiraamu okunaaba nga omusaayi gwe ogwo haidhu (omusaayi gwe nsonga za bakyala) nga guweddeyo:olwe kigambo kya Allah:{webakubuuza ku musaayi gwe nsonga za bakyala (haidhu) bange nti kitamwa (kyenyinyalwa) mweewale abakyala nga bali mu nsonga (haidhu) temubaseemberera okutuusa nga batukudde(omusaayi nga guweddeyo) webeetukuza mugende jebali nga muyita awo Allah weyabalagira mazima Allah ayagala abeenenya era ayagala abeetukuza}[Al-baqarah:222],ekigambo kye Allah: (webeetukuza) kitegeeza kunaaba.

Haidhu (omusaayi gwe nsonga za bakyala) ne kikulukuto (ekyalaalo)

Haidhu:gwe musaayi ogufuluma okuva mu nnabaana yo mukazi nga silwa kuzaala (nti gufuluma lwa kuzaala) wadde onulwadde(nti gufuluma lwa bulwadde). Wabula ekikulukuto,kwekutaambula kwo musaayi okuva mu nnabaana yo mukazi nga si mu biseerabye ebya haidhu (menstruation periods) nga gujja olwe nsonga yo bulwadde oba okwononeka

Ebbaanga lya haidhu lyawukana mu bakyala, tewali kikomo kubanga ekisiinga okubeera ekituufu mu bigambo bya bamanyi, na bamanyi abasiinga obunji bagamba nti ebbaanga erisiinga obunji naku kumi nattano(15 days) ate ekyo ekyeyoongera ku bbaanga elyo guba musaayi gwa kikulukuto (gwa bulwadde) tegubeera haidhu,ne kisiinga mu mbeera za bakyala ebbaanga lya haidhu zibeera naku mukaaga(6 days) oba musaanvu (7 days).

Okunaaba oluvannyuma lwo musaayi gwa nifaasi okuggwaayo

Bannannyini kumanya bakyeegattako nti kyatteeka ku mukazi azadde okunaaba oluvannyuma lwo musaayi gwe ogwo nifaasi okuggwaayo.

Nifaasi kyeki?

Guba musaayi nabaana yegufulumya mu kaseera ko kuzaala no lubereebere (before) lwo kuzaala ennaku bbiri oba ssatu, nga ayina akabonero -ebisa-no luvannyuma lwo kuzaala okutuuka ennaku ana wezijjula, wabula ebbaanga lya nifaasi, ebbaanga lye erisiinga ziba obunene ziba nnaku amakumi ana, tewali kigero kye kitono,(newaaba agulabidde essaawa bbiri zokka), wonna walabidde obutukuvu(nga omusaayi tegukyajja) anaaba nasaala.

Ensonga ezigobererwa ku haidhu ne nifaasi .

١
Obwa haraamu bwo kwegatta (tekikkirizibwa kwegatta nga ali mu nsonga).
٢
Obwa haraamu bwo kumuta(divorce) (Tekikkirizibwa kuwa mukyala talaka nga ali mu nsonga).
٣
Obwa haraamu bwe sswala no kusiiba (Omukyala takkirizibwa kusaala no kusiiba nga ali mu haidhu).
٤
Obwa haraamu bwo kwetoloola Kaaba (Tekikkirizibwa ku mukazi okwetoloola Kaaba nga ali mu nsonga).
٥
Obwa haraamu bwo kukwaata ku quran (tekikkirizibwa mukazi ali mu nsonga okukwaata ku quran) .
٦
Obwa haraamu bwo kuyingira mu muzikiti(tekikkirizibwa ku mukazi ali mu nsonga okuyiingira mu muzikiti).

Obutakkirizibwa bwo kwegatta

Tekikkirizibwa omusajja okwegatta ne mukyala we ali mu nsonga, no lweekyo olwe kigambo Kye Allah:{webakubuuza ku musaayi gwa haidhu bagaambe nti kyenyinyalwa mweewale abakyala nga bali mu nsonga za bakyala temubaseemberera okutuusa nga batukudde , webaba batukudde mugende jebali nga muyita awo Allah weyabalagira mazima Allah ayagala abeenenya era ayagala abeetukuza}[Al-baqarah:222], era tekikkirizibwa kwegatta no mukyala ali mu nifaasi (omusaayi ogujja oluvannyuma lwo kuzaala) abamanyi bakyeegattako.

Obwa haraamu bwo kuta omukyala (talaka, divorce)

Nolweekyo kye kigambo kye Allah:{Awaaye gwe nabbi wemubaanga mutadde abakyala mu bateenga nga ebbaanga lya nga bamaze kutuuka ku bbaanga lyaabwe (kutuula iddah)}[Atwallaq:1].namakulu ge kigambo kye mubateenga nga bamaze kutuuka ku bbaanga lyaabwe (kutuula iddah): kitegeeza omukyala tebamuta nga ali mu nsonga za bakyala oba nga ali mu nifaasi oba nga ali mutukuvu nga wegasse naye nga tekinaba kweyooleka nti ali lubuto (omukyala ali olubuto tebamuta okutuusa nga azadde).

Obwa haraamu bwe sswala no kusiiba nga omukyala ali mu nsonga za bakyala oba oluvannyuma lwo kuzaala (nifaasi)

Nolweekyo olwe kigambo kya nabbi صلى الله عليه وسلم :«tekiri nti omukyala waaba mu nsonga tasaala era tasiiba?,obwo bwebukendeevu bwe ddiini ye » (Al-bukhari 1951).

Obwa haraamu bwo kwetoloola Kaaba

Olwe kigambo kyo mubaka wa Allahصلى الله عليه وسلم eri Aisha Allah asiime kuyye weyagenda mu nsonga nga ali mu hijja:«mazima ekyo ekintu (ensonga za bakyala)Allah yakiwaandiika ku bawala ba Adam,kola ebyo ebikolebwa ali mu hijja okujjako tewetoloola nyyumba (Kaaba) okutuusa nga otukudde»(Al-bukhari 305,ne muslim 1211)

Obwa haraamu bwo kukwaata ku quran

Ekyo nga kuteeka mu nkola ekilagiro olwe kigambo kya Allah:{tekwatibwaako okujjako abatukuvu}[Al-waaqi-a:79], kikkirizibwa omukyala okujisoma nga ajijja mu mutwe nga kyekigambo ekisiinga obutuufu,okwaawukanako nooyo ayina janabah mazima ye tajisoma okutuusa nga anaabye, omukyala ali mu nsonga oba ali mu nifaasi waaba ayagadde okukola omulaji-a(revision) oba okuyigiriza omulala nebifaanana bwebityo,akkirizibwa okukwaata ku quran nga ayina ekibikka; nga gloves nebifaanana bwebityo.takwaatako butereevu ne ngaloze

Obwa haraamu bwo kubeera mu muzikiti

Olwe kigambo Kye صلى الله عليه وسلم: «nze sikkiriza muzikiti eri mukyala ali mu nsonga wadde oyo ayina janabah »(Abu dauda 232), wabula okuyitamu(okutambuliramu) oba okuyiingiramu olwa nnaakola ntya (nga waliwo ensonga) kikkirizibwa, Hadiith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye yagamba nti: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yangaamba :«mpeereza ku kasaalo(kwebasaalira)mu muzikiti nagamba(Aisha) nti:ne mugamba nti nze ndi mu nsonga (haidhu), omubaka namugamba:«mazima haidhu wo tali mu mukono go»

Ensonga ezetaagibwa haidhu (ensonga za bakyala)

١
Obukulu .
٢
Okutuula iddah eri oyo gwe batadde( divorced)

Okukula(obukulu)

Okuteekebwaako amateeka kutuukibwako no kukula(obukulu),ne haidhu (ensonga za bakyala) kiri mu bubonero bwo kukula(bwobukulu) obukakasa okukula kwo mwana owo buwala.

Okutuula iddah eri oyo gwe batadde

Kitegeeza nti iddah yo mukyala gwe batadde (divorced) eggwaako na haidhu, haidhu ssatu kwooyo agenda mu nsonga olwe kigambo Kye Allah:{abakyala bebatadde baliinda(batuula) haidhu ssatu}[Al-baqarah:228].

Ebilaga obutukuvu bwo mukyala okuva mu haidhu

١
Amazzi ameeru(nabaana ge'fulumya)
٢
Okukutukawo(okwaggwaayo) kwo musaayi no kukala.

Amazzi ameeru

Kintu ekifaanana wuzu enjeru,kifuluma okuva mu bwerere bwo mukyala mu nnaku eziseemba eza haidhu we,ne kibeera nga kabonero Ako kutukula kwe.

Okuggwaayo (okulekeraawo) kwo musaayi no kukala

Omukyala kwekuyiingiza akagoye mu bwerere bwe nekafuluma nga tekuli musaayi,oba okuteekawo paamba.

Ebyetteeka byo kunaaba

Okunaaba kuyina ebyeteeka bibiri:niyya (okumalirira),no kubunyisa amazzi enviiri nebitundu byo mubiri ebisigadde.kya tteeka okutuusa amazzi ku nsibuko ye nviiri(kuddiba lyo mutwe)gasobole okutuuka ku ddiba elyo eliri wansi waazo,kazibeere nga enviiri ntono oba nyiinji.

Engeri omukyala gya naabamu nga avudde mu haidhu ne janabah

Hadith nga eva ku Aisha Allah asiime kuyye, mazima Asima yabuuza nabbi صلى الله عليه وسلم ku kunaaba Kwa kwa haidhu? nabbi nagamba:«omu mummwe akwaata amazzi ge ne sidiri we(sabbuni),neyetukuza nalongoosa okwetukuza, oluvannyuma naayiira omutwe gwe amazzi nagutakula olutakula okutuusa lwatuuka ku nsibuko ye nviiri ze(obumerero), oluvannyuma neyeyiila amazzi , oluvannyuma afuna akawoowo namateeka ku kagoye neyetukuza nako»Asima kyaava agamba nti:yetukuza nako atya?(akawoowo)nabbi nagamba:«subuhanallah! Yetukuza nako (akowoowo)»Aisha nagamba nga aliinga akikweeka nti akagobereza obuufu bwo musaayi.era namubuuza ku kunaaba kwa janabah? nabbi namugamba:«kwaata amazzi ogetukuzise nago olongoose okwetukuza oba ogende wala mu kwetukuza, oluvannyuma ayiile omutwe gwe amazzi nagutakula ne ngalo ze okutuusa ku nsibuko ye nviiri ze (ku ddiba lyo mutwe) oluvannyuma yeyiile amazzi »Aisha nagamba:“ye abakyala mwe abakyala ba ba -answaar,ensonyi tezibalemesa kukeenkuka mu ddiini "(Al-bukhari 314,ne muslim 332)

Mazima kyonna ekiziyiza okutuuka kwa mazzi ku kitundu kyonna ekyo mubiri kitta okunaaba nekukifuula nga sikutuufu,nga omukyala okuteeka(okusiinga) ku njala (kyutekisi,) ekyo ekiziyiza okutuuka kwa mazzi ku njala ,oba okubeerawo kwekintu ekiziyiza okutuuka kwa mazzi wansi wenjala.

Kyenvu (yellowish) no kudugaalirira (turbidity, muddy)

Bifuluma ebintu ebimu okuva mu bwerere bwo mukyala -oluberebere(before)lwa haidhu oba oluvannyuma lwe-siinga kiba nakakwaate ku haidhu kibeera Kya mu haidhu, ayina okweewala okusaala ne bilala ebigaanibwa olwa haidhu, wabula tekiyina kakwaate ku haidhu tekiyina kyekimukosa;olwa Hadiith ya ummu atwiyyah Allah asiime kuyye:«twaali tetubala kyenvu(yellowish, amazzi aga kyenvu)no kudugaalirira(turbidity) okubeera ekintu kyonna (nti haidhu)oluvannyuma lwo kutukula kintu kyonna »(Al-bukhari 326,Abu dauda 307,nenjogera yiye).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار