تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Omukyaala omusiraamu

الدرس Enyambala yo mukazi omusiraamu

Tumanya mu musomo guno omuwendo mu nsonga enkulu ezikwaata ku nnyaambala yo mukazi omusiraamu...

. Okumanya ekyengera kya Allah eri abantu ekyo kwambala no kwewunda.. Okumanya ebigendererwa bya sharia yo busiraamu okukwaata ku nnyaambala yo mukazi.. Okumanya obukwakkulizo obwe tteeka okutuukiriza hijaabu yo busiraamu.. Okumanya ensalosalo yo kujoolesa eri ebika(types)byababantu abangi.

Ekyengera kye kyambalo

Ekyambalo kyengera kinene Allah kyeyawa abantu; ekyambalo omuntu kyeyebikisa omubiri gwe ne kimukuuma okuva eri ebbugumu(heat) no bunnyogovu nebitali ebyo,nga wekiri nti kyakwewuunda no bulungi, Allah yagamba:{Abange mwe abaana ba Adam mazima twabassiza ekyambalo nga kibikka(kukuuma) obwereere bwammwe(private parts) era kyakwewunda naye ekyambalo ekyo kutya Allah ekyo kyekisiinga ekyo kyekiri mu bubonero bwa Allah basobole okujjukira}[Al-Aarafu] mu kyambalo mulimu ekyo buwaze kubuli musajja no mukazi, ekyo ekibikka obwereere, era mulimu ekyo kulongoosa nga kyakwewunda no bulungi okusinziira nga ku mbaga ne idd nebitali ebyo.

Ennamula zo busiraamu ezikwaata ku kyambalo Kyo mukazi zitunulira ebigendererwa ebinene; nga biva ku ludda lwo mukazi nga bitunuulidde ye yekka,no kimukuuma okuva eri entunula za basajja (abasajja okumutunuulira), no kumukuuma ebiseera ebisinga okuva eri ebikolwa ne bigambo bya bononefu.nga ekyambalo ekyo busiraamu wekyongera ku mukazi obutebenkevu no bukakkamu ne kitiibwa, olubelyebelye lwa buli ekyo mazima omukazi weyeekwata ku kyambalo kyo busiraamu aba alangirira okusinza kwe no bwetowaze bwe eri Allah nga ateeka mu nkola ebilagiro bye ne yewala ne byeyamugana,awo nakakasibwako(nanywezebwaako) olweekyo omukisa gwa Allah no kuwaakwe no kusaasira kwe.

Wabula ku mutendera gwe kitundu (society), ekyambalo kyo mukazi ekyo busiraamu oba hijaabu ye kukuuma kitundu( society) kyonna okuva eri ebikemo,no kukuuma obutebenkevu no bukuumi eri abantu baakyo bonna mu mbeera eya sekinnoomu,ekikemo wekijja kitta (kyonoona)ekitundu nabuli akibeeramu abasajja na abakazi nekiri mweekyo mazima embeera ya famile (family) no kunyweera kwaayo (stability) no butebenkevu bwaayo buyuuga era esobola nokusaanawo,ekyo kilabibwaako mu muwanga mangi.

Obukwakkulizo bwa hijaabu yo mukyala oba omukazi omusiraamu.

١
Eyina okubikka omubiri gwonna okusinziira ku kigambo kya bakeenkufu abamu oba okugupikka (omubiri)nga ojjeko ekyenyi ne bibatu ebibiri okusinziira ku kigambo kya bakeenkufu abalala .
٢
Eyina okubeera nga teliiko byakwewunda (tewundiddwa).
٣
Eyina okubeera nga yakitiibwa nga temuswaaza nga telaga ebyo ebiri wansi waayo.
٤
Eyina okubeera nga ngazi(nene) nga sinfuunda(temukwaata)nga teyina kyelaga(kyelaamba) ku mubiri gwe.
٥
Eyina okubeera nga teriimu kawoowo
٦
Eyina okubeera nga tefaanana kyambalo kya basajja.
٧
Eyina okubeera nga tefaanana kyambalo kya bakafiiri abakazi.
٨
Eyina okubeera nga sikyambalo kyo kumumanyisa(nga kyaaka ,kitangaala nnyo).

Okubikka omubiri

Allah yagamba nti:{owaaye nabbi gamba abakyala bo ne bawala bo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya(ebikaaya)ekyo kyekyanguwa okuba nga bamanyika(nti bakitiibwa)olwo nno baleme kunyiizibwa ne Allah okuva edda yali muyitirivu wa kusonyiwa era nga musaasizi nnyo}[Al-Ahzab:59], Abamanyi bayawukana mu kubikka ku kyenyi(face)ne bibatu ebibiri abamu ne bagamba nti : kyatteeka,ate abamu ne bagamba nti:kyagalibwa(kyakyeyagalire), naye beegatta ku bwe tteeka bwo kubikka ebitali ebyo(ebitundu ebisigadde).

Kiyina okubeera nga tekiwundiddwa (ekyambalo kyo mukazi)

Era kino kiyingira mu kigambo kya Allah ekyaawamu:{tebolesaanga byakwewunda byaabwe][Al-nuur:31].

Eyina okubeera nga temuswaaza emu ekitiibwa (hijaabu) era ngazi (nene)

Nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«abantu ba miteeko ebiri baamu muliro sibalabyeeko abantu nga bayina embooko( emiggo)nga giriinga emboobo( emikira)gye'nte nga bagikubisa abantu na bakazi abayita obukunya (nga bambadde naye nga baliinga abataambadde )nga bonoonefu era nga bakowoola eri obwonoonefu nga emitwe gyaabwe giriinga amabaango ge ngamiya(gyebasibyeeko ebitambala negigulumira) tebagenda kuyiingira jjanah wadde okuwunyiriza akawoowo kaayo mazima akawoowo kaayo , mazima akawoowo kaayo kawulirwa wano newali (nga omuntu akyaali wala ne jjanah)»(muslim 2128),era Hadiith nga eva ku usaamah bun Zaid Allah asiime kuyye yagamba nti: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yanyyaambaza ekyambalo ekizito,(kitiibwa qibtwiyya)kyaali mweebyo dihyatu-Al kalbiyy(yali swahaba) byeyatona, ne nkyambaza mukazi wange , omubaka wa Allahصلى الله عليه وسلم nanggaamba :"gwe obadde kyi lwaaki toyaambadde kyambalo(qibtwiyya)?"nenggaamba: owaaye omubaka wa Allah, nkyambazizza mukazi wange omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم nanggaamba :"mulagire agiteeke wansi waayo (qibtwiyya, ekyambalo) olugoye(ghalaalah), mazima nze ntya eyinza okulaamba (describe) sayizi(size)ya maguumba ge(omubiri gwe)"(Ahmad 21786).

Eyina (hijaabu)okubeera nga temuli kawoowo .

Omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«omukazi oba omukyala yenna eye'kubye akowoowo nayita ku bantu nga basobola okuwunyiriza akawoowo ke buba bwenzi»(Annasaa-e5126)

Eyina okubeera nga tefaanana kyambalo kya basajja

Hadiith nga eva ku ibn Abbasi Allah asiime kubombiriri yagamba nti «omubaka wa Allah yakolimira abasajja abeefaananiriza abakazi,na bakazi abeefaananiriza abasajja »(Al-bukhari 5885).

Eyina okubeera nga tefaanana kyambalo kya bakafiiri abakazi

Kyasalibwaawo mu busiraamu nti tekikkirizibwa eri abasiraamu -abasajja na bakazi -okwefaananiriza abakaafiiri mu nsinza zaabwe oba munnaku zaabwe enkulu oba munnyamba yaabwe (fashion)eyeyawulidde bbo,, olwe kigambo kyo mubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم :«oyo yenna eyefaaniriza ekibiinja Kya bantu abeera waamukkyo»(Abu dauda 4031).

Teyina kubeera nga kyambalo Kya kumumanyisa (teyaka)

Olwe kigambo kyo mubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم «oyo yenna ayambala olugoye amanyike ku dduniya, Allah agenda kumwaambaza olugoye olumukakkanya(nga lwa wansi) oluvannyuma alufuulemu omuliro(inflammation)»(Ibn majah 3607)no lugoye olwo kumanyika:buli lugoye olugendererwaamu okumanyika mu bantu.

Obukwakkulizo obukulembedde bweyawulidde ne kyambalo kyo mukyala oba omukazi omusiraamu waaba afuluma mu nnyumba (ewaka),oba nga agenda kusisinkana Abasajja abatamuzira ,si kyatteeka kuyye okuteeka /okutuukiriza obukwakkulizo buno abamuzira(taata we, muganda we omulenzi etc) oba nga asaanze abakazi abalala(abatali yye)mu mbeera eno kikkirizibwa gyaali okweekuba akawoowo no kwoolesa ebimu ku byo kwewunda nga agoberera amateeka amakomeke.

Attabarruju

Omukazi kwekulaga oba okwolesa eri abatamuzira ebyo kwewunda bye ne birungi bye ebyo ebimukakatako okubibikka gye bali(okubikweeka).

Ekyambalo kyo mukazi oba olugoye lwo mukazi nga okusinziira ku bamwetoolodde

١
Ekyambalo kye mu maaso gooyo atamuzira.
٢
Ekyambalo kye mu maaso gaabo abamuzira.
٣
Ekyambalo kye mu maaso ga basiraamu abakyala abalala.
٤
Ekyambalo kye mu maaso ga bakyala abava mwaabo abaweebwa ebitabo(abayudaaya na bakristaayo).

Ekyambalo (olugoye)kyo mukazi oba omukyala omusiraamu mu maaso gaabo abatamuzira.

Ye hijaabu eyo busiraamu eyo Allah gye yalagira no mubaka we صلى الله عليه وسلم , era yeeyo obukwakkulizo obwogeddwa

Ekyambalo (olugoye) lwo mukazi omusiraamu mu maaso gaabo abatamuzira mu basajja

Kyatteeka kuyye okubikka mu maaso gaabwe omubiri gwe gwonna,,ebitali ebyo ebyeyoleka kuggwo(omubiri) ebiseera ebisinga; nga ensiingo,ne nviiri,ne bigere ebibiri , okwawukanako ne kyenyi(face)ne bibatu ebibiri.Allah yagamba nti:{era gamba abakyala bakakkanye amaaso gaabwe era bakuume obwereere bwaabwe teboolesa byakwewunda byaabwe okujjako ebiba byeyolese mubbyo era bateeke ebikaaya ku byambalo byaabwe (juubu) era teboolesa byakwewunda byaabwe okujjako eri ba bbaabwe oba bakitaabwe oba ba taata ba bbaabwe oba abaana baabwe oba abaana ba bbaabwe oba baganda baabwe abalenzi(brothers)oba abaana ba baganda baabwe abalenzi oba abaana ba baganda baabwe abawala}[Al-nuur 31].

Ekyambalo ( olugoye) kyo mukazi oba omukyala mu maaso ga bakyala abasiraamu.

Kyatteeka kuyye (omukyala)- nga wekiri mu mbeera ye mu maaso gaabo abamuzira -okubikka omubiri gwe gwonna nga ojjeko ebyo ebyeyoleka kuggwo ( omubiri) ebiseera ebisinga nga ensiingo ne nviiri ne bigere ebibiri, nga ojjeko ekyenyi ne bibatu ebibiri.Allah yagamba nti:{era gamba abakyala bakakkanye amaaso gaabwe era bakuume obwereere bwaabwe teboolesa byakwewunda byaabwe okujjako ebyo ebyeyolese mu bbyo era bateeke ebikaaya ku byambalo byaabwe (juuyuubu) era teboolesa byakwewunda byaabwe okujjako eri ba bbaabwe oba bakitaabwe oba ba taata ba bbaabwe oba abaana baabwe oba abaana ba bbaabwe oba baganda baabwe abalenzi oba abaana ba baganda baabwe abalenzi oba abaana ba baganda baabwe abawala oba abakyala bannaabwe }[Al-nuur 31] ekigambo kye (oba bakyala bannaabwe): kitegeeza abakyala abasiraamu.

Ekyambalo kyo mukazi omusiraamu mu maaso ga bakyala baabo aba weebwa ebitabo (abayudaaya na bakristaayo).

Kyatteeka kuyye ( omukyala)- nga weeri embeera ye mu maaso ga bakyala abasiraamu -okubikka omubiri gwe gwonna nga ojjeko ebyo ebyeyoleka kuggwo (omubiri) ebiseera ebisinga;nga ensiingo ne nviiri ne bigere ebibiri : nabweekityo kubanga abakyala baabo aba weebwa ebitabo (abayudaaya na bakristaayo) bali bayingiranga eri ba maama ba bakkiriza(bakyala ba nabbi) ,era tekyaleetebwa nti nabbi صلى الله عليه وسلم nti yalagira bakyala be okwebikka gye bali(okwebikkirira nga bazze).

Emiteeko gye ngoye zo mukazi nebyo kwewunda kwe mu mbeera yo kukkirizibwa no butakkirizibwa

١
Ekyambalo (olugoye) ne kyo kwewunda ebikkirizibwa .
٢
Ekyambalo (olugoye) ne Kyo kwewunda ebiri Sunnah (bya kyeyagalire).
٣
Ekyambalo ( olugoye) ne kyo kwewunda ebitakkirizibwa(ebiri haraamu).

Ekyambalo kyo mukazi nekyo kwewunda kye ebikkirizibwa

Emikolo ku kyambalo no kwewunda bikkirizibwa, tewali kijjibwaamu mweekyo(nti bikkirizibwa) okujjako ekyo ekyajja mu sharia nti tekikkirizibwa;ne kikkirizibwa ku mukyala okwambala buli kyambalo,ne laangi zaakyo zonna ne bikka bya dizayini(design) zaakyo (ekyambalo),no kwewunda na buli bika byakwewunda ebikkirizibwa mu juwero(jewelry) ne bintu ebikozesebwa mu kwewunda,kuka kwakkurizo biyina okubeera nga tebiyina bulabe/ bubi gyaali,era biyina okubeera nga mubbyo temuli kifaanana nabya bakafiiri, era tebiyina kubeera nga babikozesa ebintu ebitakkirizibwa;nga amasavu ge mbizzi ekyo kulabirako.

Ekyambalo ne kyo kwewunda ebyaagalibwa(ebya kyeyagalire)

Ekyaagalibwa (ekitegezebwa)mweekyo buli ekyo sharia kyeyaleeta nti kyagalibwa (kyakyeyagalire), nabweekityo buli kyonna omukyala kyayambala ne kyeyewuundisa nakyo nga ayagala kusiimisa (kusanyusa) mwaami we no kumwaagala,kuka kwakkurizo kiyina okubeera nga tekiri haraamu.

Ekyambalo ne kyo kwewunda ebitakkirizibwa (ebiri haraamu)

Ekitegezebwaamu mweekyo buli ekyo sharia kyeyafuula haraamu ne kyeewaza mu kyambalo no mukyo kwewunda,kakibeere nga obujulizi bwa sharia bwajja ku bwa haraamu bwaakyo,oba nga kyaawukana na mateeka ga sharia agalagirwa okugeekuumirako,nga okwawukana ku bayudaaya na bakristaayo,no buteefaananiriza basajja nebitali ebyo.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار