تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: QUR'AN EY'EKITIIBWA

الدرس Okufumiitiriza n’okuvvunula Quran Entukuvu

Okuvvuunula n’okufumiitiriza ku Qur’an Entukuvu mirimo ebiri eminene ejiisembeza Omusiraamu okumanya Allah ky’ategeeza mu bigambo bye, ekimuyamba okukolera kw'ebyo ebijirimu . Mu ssomo lino, ojja kuyiga amakulu n’obukulu bw’okufumiitiriza n’okuvvunula Qur'an.

Ebigendererwa

  • Okumanya ekitegeezebwa mu kuvvunula Qur'an Entukuvu n’okugifumiitirizako.
  • Okumanya ekifo ky’okufumiitiriza n’okuvvunula  n’obwetaavu bwabyo.
  • Okumanya amakulu g’okuvvuunula Quran Entukuvu.
  • Okumanya ebitabo ebisinga obukulu ebyesigika eby’okuvvuunula.

Okuvvuunula n’okufumiitiriza ku Quran Entukuvu

Buli Musiraamu alina okwagala ennyo okusoma Qur’an Entukuvu mu nsoma entuufu, okugifumiitiriza, okufumiitiriza ku makulu gaayo, ebiragiro n’okugaana, okuyiga okutaputa kwayo n’ensala yaayo, n’oluvannyuma okugikolerako okusobola okufuna essanyu mu nsi n’enkomerero.

Amakulu g’okufumiitiriza

Okufumiitiriza: kwe kuyimirira ku Ayat, okuzifumiitirizaako, n’okukolagana nazo. Olw’okuganyulwa n’okugoberera n'oteeka mu nkola.

Omuntu afumiitiriza ku Aya za Qur’an Entukuvu alina okumanya amakulu ga Aya okutwalira awamu olwo okufumiitiriza kwe n’okutegeera kwe kubeere kutuufu.

Ekifo ky’okufumiitiriza ku Quran Entukuvu

Buli Musiraamu alina okufumiitiriza ku Qur’an eno enkulu, okutegeera aya zaayo n’amakulu gaayo, n’okubeera nayo. Allah yagamba nti: {Kino kitabo eky’omukisa kye twassa gyoli, [Ayi Muhammad], balyoke bafumiitiriza ku Aya zaakyo era bebuuliri nakyo bannannyini magezi amalamu.} [Swad: 29] Era Ye, Omuyinza w’ebintu byonna, yagamba: {Abaffe tebafumiitiriza ku Qur’an, oba ebisanikira bili ku mitima gyabwe?} [Muhammad: 24].

Amakulu g'okuvvuunula

Okuvvuunula: kwe kunnyonnyola amakulu ga Quran Entukuvu.

Obukulu bw’okuvvuunula Qur'an n’obwetaavu bwakyo

Yirimu y'okuvvuunula Qur'an y’emu ku yirimu ezisinga okugasa era enkulu. kubanga ekwatagana n’Ekitabo kya Allah Omuyinza w’ebintu byonna, era kiyamba mu kutegeera ebigambo bya Allah . Okumanya kyeyali ategeeza, ne yirimu y'okuvvuunula amakulu ga Qur’an Entukuvu muyo mwe muyitibwa okumanya, ekiyamba Omusiraamu okulung’amizibwa mu bikolwa ebituufu, n'okufuna okusiimibwa kwa Allah Omuyinza w’ebintu byonna, n’okuwangula Ejjana Ye, nga okukola okusinziira ku biragiro bye ebyayogerwako mu Kitabo kye Ekitukuvu, n’okwewala byeyaziyiza, n’okuggya eby’okuyiga mu mboozi ze, n’okukkiriza amawulire ge, era n’okumanya Okuvvuunula kusobozesa omuntu okwawula amazima n’obulimba, era kuggyawo ebibuzabuza byonna mu kutuuka ku makulu amatuufu n’ebigendererwa bya Ayat ne bye ziraga ebituufu.

Okwagala kwa ba Swahaaba okumanya amakulu ga Qur’an n’okugivvuunula okuva ku Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye

Baswahaaba ab’ekitiibwa, Allah abasiime, babuuzanga Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, ku bye baasanga nga bizibu okutegeera okuva mu Qur’ani, Hadith eva ku Abdullah bin Masoud, Allah amusiime yagamba nti: Aya eno bwe yakka: “Abo abakkiriza ne batatabula kukkiriza kwabwe n'obulyazamaanya” [Al-An’am: 82], kyali kizibu okujitegeera eri ba Swahaaba ba Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye. Omubaka wa Allah, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, yagamba nti: “Tekiri nga bwe mulowooza, wabula kiri nga Luqman bwe yagamba omwana we nti: ‘Ayi mwana wange, togattanga ku Allah , mazima okugatta ku Allah bulyazamaanya bunene.’” [Luqman: 13] Al-Bukhari (6937) ne Muslim (124).

Enkola zino wammanga ze zikozesebwa okuvvuunula Quran Entukuvu n’okutegeera amakulu gaayo:

١
Okuvvuunula Qur’an nga okozesa Qur’an
٢
Okuvvuunula Qur’an nga okozesa Sunnah
٣
Okuvvuunula kw'aba Swahaaba, Allah abasiime
٤
Okuvvuunula kw'aba Taabi'e

Ekisooka: Okuvvuunula Qur’an nga okozesa Qur’an

Kubanga Allah Omuyinza w’ebintu byonna ye yajissa, era y’asinga okumanya kye yali agenderera mu yo.

Nga: ekigambo ky’Omuyinza w’Ebintu Byonna: “Mazima, mikwano gya Allah tejirina kutya, era tebalinakuwala, abo abakkiriza era abaali batya Allah" [Yunus: 62-63] Yavvuunula emikwano gya Allah n'ekigambo kye mu Aya nti: “abo abakkiriza era nga batya Allah.”

Ekyokubiri: Okuvvuunula Qur’an nga okozesa Sunnah

Kubanga Omubaka wa Allah , okusaasira n’emirembe bibe ku yye, y'atuusa obubaka bwa Allah Omuyinza w’ebintu byonna, y’asinga okumanya mu bantu ebyo Allah Omuyinza w’ebintu by’ategeeza mu bigambo bye.

Eby’okulabirako ku kino mulimu: okuvvuunula kwa Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, ng’avvuunula amaanyi n’okukuba obusaale. Hadith eva ku Uqbah bin Amir, Allah amusiime, yagamba nti: Nawulira Omubaka wa Allah , okusaasira n’emirembe bibe ku yye, ng’ali ku kituuti, ng’agamba nti: “Era mubeetegekere na kyonna kyemusobola mu maanyi” [Al-Anfal: 60] Mazima ddala, amaanyi kwe kukuba obusaale. Muslim (1917).

Ekyokusatu: Okuvvuunula kw'aba Swahaaba, Allah abasiime

Kubanga bebasinga okumanya ekyo: olw’ebyo bye baalaba ku bujulizi n’embeera ez’enjawulo gye bali, n’olw’okutegeera kwabwe okujjuvu, okumanya okutuufu, n’ebikolwa ebituukirivu.

Eby’okulabirako ku kino mulimu: Ebigambo bya Allah Omuyinza w’ebintu byonna: “Era bwe muba balwadde oba nga muli mu lugendo oba omu ku mmwe n’ava mu mukumala ekyetaago oba nga mukutte ku bakazi” [An-Nisa’: 43], Hadith eva ku Ibn Abbas, Allah amusiime, nti yavvuunula okukwata nga kwe kwegatta (8/389) ).

Eky’okuna: Okuvvuunula kw'abagoberezi

Abo abaafaayo okuggya enzivuunula okuva ku ba swahaaba, Allah abasiime, kubanga ba Taabi'e be bantu abasinga obulungi oluvannyuma lwa ba swahaaba, era baalina okuwona okwegomba kw'omutima okusinga abo abajja oluvannyuma lwabwe. Olulimi Oluwarabu lwali terukyuuse nnyo ku mulembe gwabwe, kale baali kumpi nnyo okubeera abatuufu mu kutegeera Qur’an okusinga abo abajja oluvannyuma lwabwe.

Ekikakata ku musiraamu mu kuvvuunula Qur’an

Singa Omusiraamu afuna obuzibu okutegeera Qur’an n’okumanya amakulu gaayo, alina okujuliza ebitabo by’okuvvuunula n’ebigambo by’abamanyi n’abavvuunuzi ab’ekitiibwa abannyonnyola n’okutangaaza amakulu g’Aya n’okubivvuunula.

Okuvvuula Quran Entukuvu si kya buli Musiraamu; Kiba kya abo bokka abalina okumanya ku kuvvuunula, kale abasiraamu bonna tebalina kukikola ekyo nga tebamanyi. Omuvvuunuzi abeera avvuunula ajja ku Allah Omuyinza w’ebintu byonna, era nga mujulizi w’ebyo bye yali agenderera okuva mu bigambo bye, Asaana okussa ekitiibwa mu bujulizi buno n’okutya nti ayinza okubaako ky’ayogera ku Allah nga tamanyi, n’agwa mu ebyo Allah bye yagaana, era bw’atyo n’aswazibwa ku Olunaku lw’okuzuukira , Allah yagamba: (Gamba nti: Mazima Mukama wange yaziza eby'obuwemu (obwenzi), obwo obweyoleka n'obw'enkiso, n'ebibi n'okulumbagana (abantu) mu bitali bya mazima, era (Abagaana) n'okugatta Katonda n'ekyo ekitakkako bujulizi, era (Yagaana) n'okwogera ku Katonda ebyo bye mutamanyi). [Al-A’raf: 33].

Ebitabo ebisinga obukulu ebyesigika mu kuvvuunula

Ebitabo bingi ebyawandiikibwa mu kuvvuunula Qur’an Entukuvu, era olw'okuba nti byonna tebiri ku ddaala lye limu ery’okukkirizibwa, ne kibeera nga kyatteeka ku musiraamu okwesigama ku Tafsir ezesigika abawandiisi baabyo ebyo bannyini byo nga baafuba okwenywereza ku mateeka g’okuvvuunula. Mu bimu ku bisinga okumanyika mwe muli ebitabo bino:

Ebitabo ebisinga obukulu eby’okuvvuunula

١
TAFSIRU JAAMI'UL BAYAN AN TA'AWIILI AAYIL-QUR'AN ekya Imam Ibn Jarir al-Twabari.
٢
TAFSIRUL QUR'ANI AL-ADTHWIIM eya Imam Ibn Kathir Al-Dimashq
٣
TAYISIIRUL-KARIIMU RRAHMAN FI TAFSIRIL KALAAMIL MANNAAN, ekyawandiikibwa Sheikh Abdul Rahman Al-Saadi
٤
ATTAFSIIRUL MUYASSAR , eyawandiikibwa ekibinja ky’abamanyi abakugu, Publisher: King Fahd Complex for the Printing of the Holy Qur’an in Madina.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار