القسم الحالي: Kawumpuli n'endwadde
الدرس ENKOLAGANA YO MUSIRAAMU NE KIBAAMBA(EPIDEMIC)
Tukkiriza okugera okulungi no kubi, era mpagi mu mpagi zo bukkiriza, kyonna ekituuka ku baddu mu bibaamba (pandemic) ne ndwadde no butabanguko(disasters) ne bizibu (emitawaana) kuba kusalawo Kwa Allah na kugera kwe;tusiima okusalawo (okugera) Kwa Allah tetunyiiga oba ne twemulugunya oba okwejjusa.Allah yagamba:(tewali kituukawo mu kizibu kyonna okujjako lwa kukkiriza Kwa Allah oyo yenna akkiriza Allah, Allah alunggamya omutima gwe,Allah ku buli kimu mumanyi nnyo)(Al-Attaghabun:11).
Omukkiriza akkirizza nti mazima endwadde tezisasaana lwa manyi gaazo wabula na kiragiro Kya Allah na kugera kwe wamu neekyo twaalagirwa okukwaata amakubo agalabwaako ago bulamu no kwetangira okubeera ewaala ne biviirako endwadde ne bifo ebirimu endwadde no kwegendereza no kweewala nga kuleka kweetabika na balwadde.nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti «tewali kusasaana kwa kilwadde nga Kyo (wabula kisasaana ku lwa kiragiro Kya Allah na kugera kwe), wadde okwelaguza ne binyonyi wadde okwelaguza no kukaaba kwe binyonyi wadde okwelaguza no mweezi gwa swafur,duka owe bigeenge nga wewaandidduse empologoma»(Al-bukhari 5707).
Endwadde ze bibaamba (epidemics) kiba kibonerezo ekyamangu okuva ewa Allah eri abakaafiiri na bannanfusi,ate kuba kusaasira eri abakkiriza, okusobola okusitula amadaala gaabwe no kubasonyiwa ebibi byaabwe, nabbi صلى الله عليه وسلم yanyumiza Aisha Allah asiime kuyye weyamubuuza ku kawuumpuli «mazima kibonerezo kyasiindika eri oyo yenna gwaayagala,era mazima Allah akifuula kusaasira eri abakkiriza, tewali muntu yenna nga kawuumpuli watuukawo, nasigala mu kitundu kye nagumikiriza nga asuubira empeera, nga amanyi nti tewali kimutuukako okujjako ekyo Allah kyeyamuwandiikako, okujjako abeera ne mpeera nga eyo mujulizi(martyr)(Al-bukhari 3474).
Kikakata ku musiraamu mu biseera bino okwanukula okuwabulibwa okuva mu bitongole ebitongole,neyeetikka obuvunaanyizibwa obwo kukulembeza omugaso ogubuna ku mugaso ogwa sekinnoomu,no kuyambagako mweebyo ebileeta obutebenkevu (stability)no kuzza obulamu ku bubuumbwa/obutonde bwaabwo, Allah yagamba nti:(muyambagane mu bulungi ne mu kutya Allah,temuyambagana mu bubi no mu bulumbaganyi)(Al-maidah 2).
EBITAKKIRIZIBWA MU KISEERA KYE NDWADDE EZIBAAMBA(EPIDEMICS)
Mweekyo ekitaliimu kubuusabuusa mukkyo kwekusasaanya enngambo kibalibwa mu bulimba obuli haraamu, nga wekiri nti nsonga eleeta okusasaana kwo bunkeenke wakati wa bantu,ekikulu okululunkana obutafuna mawulire agateesigika, Allah yagamba nga ayogera ku bitendo bya bannanfuusi:(webajjirwa ekigambo ekye mirembe oba ekyentiisa bakiraalaasa,so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwaako ensonga mu bo,bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejje amakulu gaayo)(Annisaa:83)
Obusiraamu bwaziyiza okukweeka ebyamaguzi(monopoly of goods) no kuttirira(cheating),no kulinnyisa emiwendo no kuzannyira ku bintu ebiyimirizaawo abantu, okusiingira ddala mu biseera ebizibu/ebyakazigizigi,kino Kibalibwa mu kulya emmaali ya bantu mu bukyaamu no kukumpanya no kubuzaawo obwesigwa no kukakkanya omuntu/omwooyo, Nabbiصلى الله عليه وسلم yagamba nti:«oyo yenna akweeka ekintu ne kigendererwa ekyo kukifuula ekye bbeyi eri abasiraamu aba musobya».(Almusnad 8617).
Okugenderera okutaambuza obulwadde okuva ku muntu omulwadde no butwaala eri omulamu mu ngeri yonna mu ngeri zo kugenderera okukola ekitakkirizibwa, kibalibwa mu mazambi amanene ne bibi ebinene, era wagwaana ekibonerezo ekyo ku nsi: ekibonerezo kino kisinziira ku kigero ekyekikolwa no buufu bwaakyo ku muntu sekinnoomu no buufu bwaakyo ku bantu abangi/ekitundu (society).
EKIBONEREZO KYOOYO AGENDEREDDE OKUTAMBUZA OBULWADDE ERI OMULALA:
OKUVUMA OBULWADDE:
Nabbi صلى الله عليه وسلم yaziyiza okuvuma omusujja, hadiith ku jabir bin abdillah Allah abasiime bombiriri, mazima omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba maama wa saaibi:«tuvumanga omusujja kubanga gujjawo ebyonoona bya baana ba Adam,nga ebiwujjo webijja obukyaafu mu kyuuma »(2575).