Ekitundu ekiriwo kati: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI
Omusomo Okukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Ekitegezerwa mu kukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula
Ennamula yo kukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula
Ekigeendererwa ekiri mu kukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula
Mwebyo ebiri mu kusasira kwa Allah kwe kukkiriza Aaliyat (okukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula):nga ekyo kikolebwa olwe bwetaavu bwo muntu eyeewola (eyeeyambisa ekintu) wamu nooyo nannyini kintu atuukibwako empeera,nokuwaanyisa omugaso eri muganda we nga ne kintu kisigaddewo
Allah yagamba nti:{muyambaganeenga ku bulungi no kutya,temuyambaganaanga ku kikyaamu ne mubulumbaganyi. [Al-maidah:2].
Ne hadiith nga Eva Ku Anas bun maalik -Allah asiime kuyye -yagamba:obunkenke(panic )bwaliwoko mu madiinah nabbi صلى الله عليه وسلم neyeewola embalaasi okuva ewa Abi twalha yali eyitibwa almanduubu,najebagala,weyakomawo yagamba:«tetuyina kye tulabye kyonna, wabula kyetusaanze nyanja.» (Al bukhari 2627,ne Muslim 2307).
Obukwakkulizo obutuusisa okukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula (Aaliyat)
Empagi za Aaliyat (okukkiriza omuntu okukozesa ekintu nga tasasula).
Kikakata kwoyo eyeewoze okukuuma kyebamuwoze,no kukifaako,no okukikozesa okukozesa olulungi ,no kukizzaayo eri nyini kyo nga kilamu,singa ekintu kyononekera mu mukono gwooyo akipangisizza nga tannaba okukikozesa akisasula okutwaaliza ewamu, kakibeere nga kinji oba kitono (ekyonoonese), wabula singa kyonooneka mu okukikozesa mwekyo ekimukkiriziddwaako tasasula: okujjako gwebakipangisizza nga akyononye awo asasula.
Kikakata kwoyo eyeewoze okuzzaayo kyeyeewoze waba amalilizza ekyetaago kye,era ayina okukizzaayo nga kilamu nga weyakimuwa, tekikkirizibwa kukikwaata oba okukigaanila, siinga akikola abeera mukuumpanya omukozi we kyonoono.
Awola waddembe okusaba ekintu kye bakimuddize wonna wayagalira ebbaanga lyaamala nga tagenda kuviilako akyeewoze kukosebwa(omutawana);nga awoze ettaka Oluvannyuma eyeewoze nalimirako awoze takkirizibwa kulisaba okutuusa nga eyeewola amaze okukuungula.
Allah yagamba:{mazima Allah abalagira okuzzaayo obwesigwa (ebintu) eri bannanyinibwo era wemubanga mulamula wakati wa bantu mulamuzisenga bwenkanya ekisinga kyekyo Allah kyababulirila nakyo mazima ddala Allah okuva edda yali muyitirivu wakuwulira era nga muyitirivu wakulaba [nisaa:58].