Ekitundu ekiriwo kati: AMAKA AMASIRAAMU
Omusomo Ebivunaanwa ( Rights) bya baana
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Allah yatonda emitima gya ba taata ne ba maama nga gye'goomba okufuna ezzadde no kubeera nga ddamu(nga ezzadde liramu) kuno kwegoomba Kwa kataata waffe Adam ne mukyala we emirembe gibeere ku bombiriri,Allah yagamba nti:{Allah yooyo eyabatonda nga abajja mu muntu omu,ng'ate mu ye mweyajja mukyala we (Hawa) abeere nga agutebeenkeza weyamala okulabagana naye naafuna olubuto olwaangu naayita nalwo mu mitendera(olubuto mweruyita)olwa'mala okukula baasaba mukama omulabiri waabwe nti,siinga otuwa omwaana omuloongoofu tujju kubeera ddala mu beebaza}[Al-Aarafu 189] no kutuuka ku kisuubira kuno bulungi obuva ewa Allah kukasaawo okukweebaza Allah lubeerera.
Obusiraamu bwafaayo ku nsonga ye zzadde ne bilikwaatako,ne kilaga ekyo bye bigambo bya Allah mu quran eyekitiibwa ku zzadde ne kyengera Kya baana oluvannyuma lwo kwogera ku bufuzi bwa Allah obwa magulu(heavens) ne nsi, Allah yagamba:{Allah yennannyini bufuzi bwa magulu (heavens)ne nsi atonda nga bwaayagala agabira oyo gwaayagala abawala era nagabira oyo gwaayagala abalenzi (49) oba nabatobekera abalenzi na bawala ate nafuula gwaayagala omuguumba mazima ye mumanyi nnyo era omusobozi ennyo}[Shuura:50,49] mazima Allah yabala ( yateeka) ezzadde mu byokwewunda bye nsi,Allah nagamba:{Emmaali na baana byakwewunda bya nsi)[Al-kahfi:46].
Sharia yawa abaana no kulelebwa kwabwe omugabo(ekifo) omunene, ze mpagi ze biseera ebyo mu maaso,okulongoosa kwaabwe okusiinzibwa kwa Allah kusigala kugenda mu maaso mu nsi, no kuziimbibwa kwaayo ne kubeerawo ku mbeera Allah gy'asiima Allah yagamba nti:{Abange mwe abantu mutiise emyooyo gyammwe na bantu bammwe omuliro,ne nku zaago be bantu na mayinja}[tahriim;6] ,Ali Allah asiime kuyye yagamba kitegeeza:okubasomesa no kubaguunjula,era ne nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba :«oyo yenna akuza abaana abo buwala babiri paka webakula, agenda kujja ku lunaku lwenkomerero nze naye( ngatuli tuti)nagatta olugalo lwe(engalo ze)(muslim 2631).
Ebivunaanwa (ebintu abaana bye babaanja ba kitaabwe, Rights)
Ebivunaanwa bino biziingiramu okulabilira mu by'ensula ne byo kulya ne byo kunywa ne byo kwambala,no kufaayo ku bulamu (healthy wise),no kulabirira abaana mu mbeera elagirwa nayo mu busiraamu,ne bivunaanwa bino byatteeka ku taata mu mbeera nga ayina obusobozi.
Mu bivunaanwa ( Rights) ebyamakulu ebisinga ebyo ebyetteeka eri abazadde ku baana;okubakuza olukuza olulongoofu olwo okuyimirirako emisiingi gye ddiini emituufu,nebayigirizibwa(ne basomesebwa) quran eyekitiibwa ne Sunnah za nabbi entuufu,ne byafaayo bya nabbi صلى الله عليه وسلم nokubalerera ku njigiriza zo busiraamu , okukola ebilagirwa no kuleka ebiziyizibwa,no kwekwaata kweebyo ebirimu empisa ennuungi,byo ebyo biri Mu kisiikirize kyo kugulumiza Allah no kwagala nabbi weصلى الله عليه وسلم ne ddiini ye ne sharia ye.
Okusasira abaana kileka obuufu obugenze ewala mu kukula kwaabwe,ne kiggulawo ebirowoozo (minds) byaabwe ne kitabatwaala mu kwonooneka okususse okwo okukosa empisa zaabwe ezaddala(their serious behavior ).no butasasira baana,no kukolagana nabo mu mbeera yo bukakanyavu ne yo bukambwe,okubekutulako okuva mu ba taata kiyinza okuleeta ekizikiza (darkness) mu myooyo gyaabwe,no kuzikiza okwaaka(flame of intelligence) kwe ntegeera mu bwongo bwaabwe,nebibaviirako okubeera obajeemu ne bakyewaggula,sinakiindi no kusikirizibwa mu bikolwa ebyo kwegadanga no bwonoonefu.
Nemu bivunaanwa ebyamakulu: okuteekawo embeera yo kuwa ekitiibwa no bukakkamu(calmness)no butebenkevu no kwagala mu famile (family) okuyomba kwa bazadde tekuwaangula oba okwa boluganda abakulu(Elder brothers), empisa za baana abato ne zikosebwa no kubateeka mu mbeera yo kwelalikirira no kwaaka/okubuguma(charged)
Nemu bivunaanwa ebyamakulu: okululunkana kwa ba taata ku kuteekawo omukwano eri abaana baabwe,no butabakkiriza okwetabika ne bannannyini mpisa embi oba embeera ezivumirirwa(embi); kubanga ekyo kikosa/kiteeka obuufu ku mpisa zaabwe,okusiigibwa kwempisa embi ne kutaambula okuva mu balala okudda gyebali.
Kigwaana eri ba taata ne ba maama okukebera (check) embeera za batabani baabwe ne bawala baabwe,no kuloondoola(monitoring) enneeyisa yaabwe ne bikolwa byaabwe,no kuyiingira mu nsonga na kuwabula no kulunggamya wonna obwetaavu webubelelawo eri ekyo,naye wayina okubeerawo ekigero mweekyo , okuwabula/okulunggamya no komentinga(comment) tekugwaana kubeera nga kugenderera (okunenyanenya buli kaseera),era tekuyina kubeera ku buli katono na kanene(okunenyanenya buli kimu kinene oba kitono);kino kiyinza okuleetera omwaana obutawuliriza oba okukolera ku kubulirirwa;no lweekyo kigwaana taata ne maama okuloonda ebiseera ne ngeri ezisaanidde(appropriate methods) okubuulirira no kulunggamya (guidance).