Ekitundu ekiriwo kati: AMATEEKA AGAFUGA OBUDDE BWO BUTITI (OBUNYOGOVU)
Omusomo OBUTITI ,OKUSALA N'OKUSIIBA
Ebikwata ku musomo
Ebigendererwa
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Singa obunyogovu buba bwa maanyi mu biseera by’obutiti, omuntu yenna alaba: oba obunyogovu tebulemesa bantu kufuluma kusaala, olwo okwazina kusigala kumbeera yabulijjo
Abantu bakuma ebisiki (omuliro) mu budde obw'obutiti, naye bayinza okugukuma nga bagutadde mukibula (jebatunula nga basaala). Ate nga ekisinga obulunji kwekusaala nga tebatunudde mu ludda lulimu muliro, okweewala n'okweesamba okwefaananyiriza abo abasinza omuliro, era olwokubanga omuliro ogwo gubuzaabuza omusaaze, naye singa baba bagweetaaze nti gubabugumye oba nga bakalubirizidwa okubeera nga bakyuusa ekifo , awo tewaba buzibu newebasaala nga bagutunuddemu.
Ate kintu kyonna ekibugumya ekitalina muliro, tewali kutamwa mukusaala nga otunnudde jekiri .
Okugatta wakati w'esswala ebbiri
Mu bisonyisa ebikirizisa okugatta esswala ebibeerawo ennyo mu kiseera eky'obutiti ,mulimu; Enkuba ,abamanyi abamu bayongerako , empewo enyiinji ate nga enyogoga ,oba obunyogovu obuunji, oba omuzira oguziba amakuba, oba ’ebitosi ebijjula enguudo/ amakubo.
N'olweekyo ekitegeezebwaamu mu bisonyiyisa ebikirizisa okugatta esswala; embeera ekaluubiriza abantu okuba nga baddingana okufuluma mu mayumba gabwe nga bagenda ku muzikiti okusaala jama, mumbeera eyo bakirizibwa okugatta esswala, naye ate kyawukanako ku nkuba entono etalemesa bantu kufuluma kugenda kumala byeetaago byabwe.
Oyo yenna atasaala mu kibiinja - gamba ng’omukazi, omulwadde, oba omuntu asusse mu kibiinja - tagatta, kubanga talina bweetaavu mu kugatta, era okusaala mu budde kimusabibwa , era mu ngeri y’emu tagatta singa ekyekwaso kiggwa nga tannasaala sswala eyookubiri.
Kimalira omusiraamu, mu mbeera y’okugatta esswala, okwaaziina omulundi gumu, n’okukola iqama ku buli sswala, n’okusaala esswala za Sunnah (Al-Rawatib) oluvannyuma lwazo, n’okusoma Azikaali oluvannyuma lwazo.
Mu mizikiti egiwerako wabeerawo enjawukana mukuba nti oba waliwo ensonga ekkiriza okugatta. Omusingi omukulu guli nti Imam y’avunaanyizibwa, n’olwekyo alina okukola ennyo bw’aba alina okumanya n’okwebuuza ku abo abalina okumanya. Bw’aba tafunye kilowoozo kya kugatta, n'omuziti gwonna tegulina kumwaawukanako.
Kyayogerwako mu bimu ku byogerwako nti: “Obutiti makungula g'omukkiriza; obudde bw'emisana buba bumpi omukkiriza naasiiba, ate ekiro nekiba kiwanvu n'asaala" Yayogerwa Al-Bayhaqi mu “Al-Sunan Al-Kubra” (8456). Kiyitibwa makungula kubanga mu kyo omuntu atambulira mu nsuku z’okusinza, nga mu budde obw’obutiti omuntu asobola okusiiba emisana nga tafunye buzibu bwa njala na nnyonta olw’emisana emimpi, n’okuyimirira mu kusaala ekiro. Olw’obuwanvu bw’ekiro, asobola okugatta esswala n’otulo.
Mu zimu ku hadiths: “Okusiiba mu budde obw’obutiti munyago omunyogovu.” Yayogerwa Ahmad (18959). Omar, Katonda asiime kuyye, yagamba nti: “Obutiti gw'emunyago gw’abasinza.” Yayogerwa Abu Naim mu “Al-Hilya” (1/51).