تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Okufa n'okuwerekera omufu

الدرس Ekiraamo n'obusika

Amateeka g’obusiraamu gakkiriza omusiraamu okulaama ekiraamo ekitekebwa mu nkola ng'afudde, era mu mateeka g'obusiraamu ag'ekitiibwa mulimu okugaba emmaali y'omufu mu ngeri ensuffu. Mu musomo guno ogenda kumanya agamu ku mateeka agafuga ebiraamo n'obusika.

  • Okumanya ekiraamo kyekki.
  • Okumanya emiteeko gy'ebiraamo n'amateeka agabifuga.
  • Okumanya eby'obusika kitegeeza ki.

Amakulu g'ekiraamo

Ekiraamo: kw'ekulagira aba alaamiddwa okukola ekintu oluvanyuma lw'okufa kw'oyo amulaamidde; ng'oyo alaamye okukwaata mu mmaali ye okuzimba omuzikiti.

Ekiraamo

omusiraamu akubirizibwa okulaama oluberyeberye lw'okufa kwe kw'ebyo ebikwaata ku nsonga ze ez'ebyenfuna, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "tekigwaanidde musiraamu alina kintu kyaasobola kulaama mu, okusula ebiro bibiri okujjako ng'ekiraamo kye akirina kiwandiike" swahaba ayitibwa ibun umar yagamba: saayitwaako kiro okuva lwennawulira Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ng'ayogera ekintu ekyo okujjako ng'ekiraamo kyange nkirina.

Allah mu kitabo kye yakulembeza okuteeka mu nkola ekiraamo n'okusasula amabanja kukugabana kw'abasika, yagamba Allah ku by'obusika: "oluvanyuma lw'ekiraamo kyeyalaamye oba ebbanja" (essuula 4:11)

Embeera (emiteeko) gy'ekiraamo

Ekiraamo kino kirimu embeera ez'enjawulo

1. Okulaama okw'etteeka

Omusiraamu bwaaba abanjibwa ng'alina ebimuvunanyizibwaako eby'ensimbi nga ate tewali bujulizi oba bikakasa nsonga ezo, akakatibwaako okukola ekiraamo akakase ebimuvunanyizibwaako ebyo; kubanga okusasula ebbanja kyatteeka, buli kintu nga eky'etteeka tekiggwa okujjako nga weekiri nakyo kiba kyatteeka.

2. Ekiraamo ekikubirizibwa

Ye musiraamu okuwaayo mu mbeera ya nnakyeewa oluvanyuma lw'okufa kwe ekitundu ku by'obugaga bye bigenda mu kukola ebirungi; ng'okusadaakira abamu ku b'enganda ze abaavu n'ebirala bweebityo, era kino kiriko obukwakkulizo:

1. Obutalaamira omu ku bantu balina mugabo mu byaabusika, kuba abo Allah yabagabura dda emigabo gyaabwe, era ne Nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "teri kulaamira muntu alina mugabo mu byaabusika" (abu dawuda:3565, tirmidhi:2120, ibun maaja:2713)

2. Ekiraamo kisanidde kuba nga tekiwera kimu kya kusatu mu by'obugaga bye, naye nga kikkirizibwa okuba ekimu eky'okusatu, era tekikkirizibwa kusussa mu kimu kya kusatu, era omu ku ba swahaba bweyayagala okulaama ekisukka mu kimu eky'okusatu mu by'obugaga bye, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yamugaana n'agamba: "kibe kimu kya kusatu, ate era nga nakyo kingi" (bukhari:2744, ne muslim 1628).

D. Okuba ng'alaama mugagga, ng'ekisigalawo kimala abasika be, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba swahaba we sa'd bin abi waqqaas bweyali ayagala okulaama nti: "gwe okuleka abasika bo nga bagagga, kirungi okusinga okubaleka nga baavu, basabiriza abantu" (bukhari:1295, muslim:1628).

3. Ekiraamo ekitamwa:

Eby'obugagga byooyo akola ekiraamo bwebiba bitono nga n'abasika be beetaavu, kubanga yye aba anyigirizza abasika be, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye kyaava yagamba sa'd Allah asiime ku yye nti: "gwe okuleka abasika bo nga bagagga kirungi okusinga okubaleka nga banaku basabiriza bantu" (bukhari:1295, muslim:1628).

4.okulaama okwaaziyizibwa:

Kwe'kulama okukola ebitakkirizibwa mu busiraamu; ng'okulaamira omu ku basika be okugeza omutabani omukulu, oba mukyaala we atwaale emmaali ye abalala nebatafuna, oba okulaama okuzimba akayumba ku ntaana ye.

Ekigero ekikkirizibwa okulaama mu mmaali

Kikkirizibwa okulaama mu kimu kya kusatu mu mmaali era tekikkirizibwa kulaama kisukka kweekyo, ekisinga obulungi kulaama kikka wansi wa kyo, swahaba sa'd bin abi waqqaas bweyagamba Nabbi nti: owange omubaka wa Allah, nnaame emmaali yange yonna? Yamugamba: "nedda" sa'd n'agamba: kale wakati waayo? Nabbi n'amugamba: "nedda", sa'd n'agamba: kimu kya kusatu? Nabbi n'amugamba: "kale kimu kya kusatu, ate nakyo kingi, mazima gwe okuleka abantu bo nga bagagga kirungi okusinga okubaleka nga banaku basabiriza bantu" (bukhari:2742).

Omuntu atalina musika yenna akkirizibwa okulaama emmaali ye yonna mu kifo kye kimu kya kusatu.

Ennamula y'okuteeka mu nkola ekiraamo.

Okuteeka mu nkola ekiraamo ky'omufu kyatteeka, oyo gwebaba balaamidde bwatateeka mu nkola kiba kimulaamiddwa ekituukana n'ekyo obusiraamu kyebukkiriza afuna omusango, kubanga Allah ow'ekitiibwa yagamba: "n'omuntu yenna akikyuusa (ekiraamo) oluvanyuma lw'okukiwulira, mazima ekibi ekyo kiri kwaabo ababa bakikyuusizza, mazima Allah awulira era amanyi" (essuula 2:181)

Eby'obusika

Omuntu bwaafa aba takyaalina buyinza ku by'obugagga bye byeyeekolera mu bulamu bwe, era Allah yatuteerawo okugaba eby'obusika n'okuwa buli omu omugabo gwe nga Allah bweyagumuwa, kino kijja luvanyuma lwa kusasula mabanja, n'okuteeka mu nkola ekiraamo.

Era Kuraane n'ensomesa za Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye byatulambikira bulungi engeri y'okugabamu emmaali y'obusika , waleme butabaawo nkaayana wakati w'abasika, eyalamula mu by'obusika yooyo Allah asinga abalamuzi bonna, era tewali akkirizibwa kukyuusa ebyo Allah byeyagaba olw'okuba byaawukanye n'embeera y'abantu b'omukitundu, ky'ova olaba Allah yagamba oluvanyuma lwa Aya z'ebyobusika nti: "ebyo by'ebikomo bya mateeka ga Allah, n'omuntu agondera Allah n'omubaka we, Allah alimuyingiza ejjana mwejikulukutira emigga wansi waayo ba kubeera mu yyo lubeerera, era nno okwo kwe kwesiima okunene" (essuula 4:13).

Era kisaanidde, abaana n'abenganda z'omufu okudda eri abamanyi amateeka n'okulamula kw’obusiraamu bategeere butya obusiraamu bwebugaba emmaali yaabwe mu bulambulukufu, era n'okweewala enkaayana ez'ebyobugagga.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار