Ekitundu ekiriwo kati: Kawumpuli n'endwadde
Omusomo EKIBAAMBA KIBA KYAKUYIGA NA KWEBULIRIRA
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Okubonabona ne bibaamba/bilwadde kiri mu kugera kwa Allah okwo kwassa ku bantu abasiraamu na batali basiraamu, naye embeera yo musiraamu ne kilwadde tebeera nga eyo mulala,ye akolagana nakyo neebyo Allah byeyalagira nabyo mu bugumiikiriza no kuteekawo amakubo agakkirizibwa okukyeewala nga tannaba kukigwaamu no ku kyejjanjaba okuva gyekiri wekiba kisse.
Mu kusasaana kwo bulwadde olwe nsonga nti ekitonde kinafu ,nga ekirwadde ekyo tekisobola kulabibwa okujjako na kyuuma(microscope),no kuteekawo obunkeenke no kutya mu bantu(emyooyo)-nga ku kirwadde/ekibaamba kya corona -nga kulaga bunene bwo busobozi bwa Allah,no bunafu bwe bitonde kabituuke bitya kunkulakulana nokubeera ne tekinologiya,tebifuluma(ebitonde)mu saanko(circle)yo buna no kulemerera okwo buntu,no kulaga nti Allah yennannyini maanyi owa maanyi ennyo, oyo atayina kintu kyonna kimulemerera kunsi ne mu ggulu.
OKUSALAWO NO KUGERA KWA ALLAH KWA MAZIMA
Abasiraamu bakkiriza nti mazima buli kintu ku nsi (universe) mazima Allah yakigera na kiwandiika nga tannaba kutonda bitonde, enzikiriza eno ebafuula batebenkevu abanyweevu mu kaseera ko bunkeenke, bakkiriza okusalawo kwa Allah ne bifuba ebya njulukufu.
OKWEBULIRIRA NO KUFUNA EKYOKUYIGA:
EMITAWAANA NE BIGEZO ERI OMUSIRAAMU BIRI MU MBEERA:
Mu ibaadah ennene nga waliwo emitawaana gino: ibaadah yo kusaba Allah mu bwetowaze no bumalirivu eri Allah,no kusiinza kwo kusaba Allah obuyambi no kunoonya ekijjawo okunakuwala ne ndwadde okuva eri Allah yekka, Allah yagamba nti:(kale nno singa ebizibu bwebyabajjira beetoowaliza(Allah kyandibayambye) naye emyooyo gyaabwe gyeyongera kuwaganyala sitaani naabawundira ebyo byebaali bakola)(Aniaamu 43).no kusaba okwamazima kumuggulirawo emilyaango gye ggulu,ne kumenyawo ekiziyiza,ne kuziba amabaanga(distances) ne kukuseembeza eri Allah (abaddu bange webakumbuuzaako bange nti mazima ndi kumpi ,nyanukula okukoowoola(okusaba)kwo mukowoozi waaba ankowodde(ansabye))(Al-baqarah 186). omumanyi ayitibwa wahbu bun munabbihi Allah amusaasire yagamba nti:(o obulwadde bujja busobole okufuluma okusaba (Abantu basabe Allah/badde eri Allah nga bamusba)
Mukumu kukweelabawo no kwetebeenkeza ewa Allah okunene , kwekukkiriza nti mazima tuli bakuume ku mitawaana ne ndwadde ezo,nekibeera nga ekisembaayo kyetufumiitiriza nakyo kwekubeerawo kwa kakwaate wakati we kigezo na mazambi,wamu no kuba ebigambo bya quran ebyo ebikikakasa mu aya ezisiinga okubeera nga nyiingi,Allah yagamba nti:(lwaki bwemwatuukwako omutawaana (mu lutalo lwa uhudi) nga ate bo mwabatuusaako omutawaana ogwenkana ogwo emirundi ebiri (mu lutalo lwa badri) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo bagamba (gwe nabbi muhammad ) ekyo kivudde kummwe mwennyini)(Al-imran:165),era Allah yagamba nti:{obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gyammwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi }(shuurah:30).
(ALLAH WA KISA ERI ABADDU BE):
Okweesiga Allah no kulongoosa okumweesigamira kiri mu makubo agakuwanguzisa ebigezo ne bizibu.beera no kukakasa nti waliwo obufulumiro obwokumpi(obudde bwonna ojja kuva mu mitawaana),era osasaanye essuubi mwaabo abakwetoolodde era bewale okwelaliikirira no butaba na ssuubi, obuzibu tebujja kuwangula bwangu (mazima ewali obuzibu wabaawo obwaangu*mazima ewali obuzibu wabaawo obwaangu)(sharhu:5,6).
Mu nkola za Allah ezo zeyateeka ku nsi okukwaata amakubo agalabwaako agakkirizibwa agasoboka kiri mu nsonga ezo kweziyizaako obubi,era geego ababaka na balongoosa ge bakwaata,era kino kiri mu bujjuvu bwo kwesigamira Allah no kukakasaawo okusiinzibwa kwe.
Kitonde kyekweese kyonoona obulamu bwabantu be nsi essanyu lyaabwe ne buwomerevu bwaabwe no bukuumi bwaabwe no butebenkevu bwaabwe ne mpaangaala yaabwe,dala kigwaana eri omuntu ategeera nga ojjeko omukkiriza okujifuula(ensi)amakaage no wokubeera nga mutebeenkevu kuyyo (ensi), no kujiranira no kuvuganya ku bisigalira byaayo(ebifuunfugu)?
Tewali kubuusabuusa nti obuwuka(viruses)buno buli mu bubonero bwa Allah obwo kunsi obwo Allah bwaatiisa nabo abaddu be,no kubasiindika nabo eri okwebuulirira no kufuna ekyokuyiga,no kuzza obujja okusinza kwo kutya, Allah agamba nti:(tewali kituweerezesa bubonero okujjako okutiisa(abantu bave ku bujeemu)(isra:59).
OKUZZA OBUJJA OKUSINZA OKWO KUTYA EBIBONEREZO BYA ALLAH:
Obudde ye kapito(capital) wo musiraamu ku nsi,era bwabbeeyi nnyo okusinga emmaali era bwabbeeyi nnyo okusinga omuwendo gwonna;ibn Abbasi Allah asiime kubombiriri yanyumya nga ajja ku nabbi صلى الله عليه وسلم على mazima ye yagamba nti:«ebyengera bibiri abantu banji babifiirwa: obulamu no budde »(Al-bukhari 6412).(okubeera omulamu mu mubiri no kubeera nebiseera ebye ddembe)