تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Kawumpuli n'endwadde

الدرس Amateeka agakwatagana ku ndwadde za kawumpuli

Omusomo guno gwanjuruza agamu ku mateeka ne nsonga ezikwata ku kawumpuli n’endwadde.

Okumanya ku gamu ku mateeka n’amagezi  amakulu agakwata ku kawumpuli n’endwadde.

Okujanjaba n’okugema:

Kikkirizibwa okugema okuziyiza ng’obulwadde tebunnabaawo, era tekikontana na kwesiga Katonda. Kubanga Nabbi emirembe n’okusasira bya Allah bibeere ku ye, yagamba mu hadiithi entuufu nti: “Oyo yenna alya entende musanvu eza ajwa buli ku makya, tewali butwa wadde obulogo bujja kumutuusaako bulabe ku lunaku olwo” (Al-Bukhari 5445 ne Muslim 2047), era eno nsonga eri mu mulyango gwa kuziyiza buzibu nga tebunaba kubawo.

Okwawula ateberezebwa okuba n’obulwadde

Amateeka ga Sharia gakubiriza abantu okwewala okukwatagana wakati w’abalwadde n’abantu abalamu. Ye, emirembe n’okusasira bya Katonda bibeere ku ye, yagamba nti: “ensolo endwadde tesaanidde kuleetebwa mu namu.” (Al-Bukhari 5771, muslim 2221)

N’olwekyo, omuntu alina okwewala okukyalira omulwadde alina obulwadde obusiigibwa, naye kisoboka okukyalira ab’omu maka ge n’ababuuza ku mbeera gy’alimu, n’amusabira, n’okuyamba ku ddagala lye, n’ensimbi zonna, ekitiibwa, n’ebirala ebisoboka, ate ng’akola eby’okutangira okusaasaana kw’obulwadde buno.

OKUZIYIZA OKUVA MU KITUNDU EKIRIMU OBULWADDE OBA OKUGENDA GYEKIRI:

Tekikkirizibwa kuyiingira kitundu ekyo ekirimu kawuumpuli,oba okufuluma mukkyo, ekilaga ekyo ye Hadiith ya Abdulrahman bin Auf Allah asiime kuyye mazima nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«wemumuwuliranga(kawuumpuli) mu kitundu,temugendanga gyekiri (ekitundu oba ensi), era wabeerawo mu kitundu nga mweemuli temukifulumaanga nga mu mudduka(kawuumpuli)».(Al-bukhari 5729, ne muslim 2219).kino abamanyi abasiinga obungi kyebaliko, tekikkirizibwa kugenda eri ekitundu (ensi) ekiguddemu ekifaanana obulwadde buno oba okukifulumamu nga kudduka obulwadde.

OKULEKA ESSWALA YA JAMA:

Esswala ya jama ya tteeka ku basajja, naye bagamba nti evaawo olwo kubeerawo ekisonyiyisa ekitunuulirwa (ekibalibwa)mu busiraamu ,ne kilaga ekyo ye Hadiith ya Aisha Allah asiime kuyye, mazima nabbi صلى الله عليه وسلم weyalwaala yalemererwa okusaaza abasiraamu nagamba nti:«mulagire Abubakari asaaze abantu »(Al-bukhari 664,ne muslim 418), ekyo ne kilaga nti mazima omusiraamu waaba ayina ekisonyiyisa ekyo bulwadde oba obukaluubirivu obweyolefu mazima ye kikkirizibwa gyaali okuleka jama mu muzikiti no kusaala yekka.

OKUTEEKAWO OMUZIKITI OBA EWASAALIRWA MU NNYUMBA:

Kyagalibwa eri omusiraamu okuteekawo mu nnyumba ye ekifo ekye sswala eye tteeka weeba emuyiseeko olwe kisonyiyisa (excuse)ne kye sswala eya Sunnah,kino kiri mu kulunggamya kwa nabbi صلى الله عليه وسلم .mu Hadiith ya itbaan bin maaliki Allah asiime kuyye eyo eyayogerwa muslim, mazima nabbiصلى الله عليه وسلم yagambibwa nti okulabaakwe(okulaba Kwa swahaba itbaan bin maaliki) kwamulemesa (kitegeeza nti: obunafu),era nti amataba wegakka wabeerawo wakati we na bantu be olusenyu/ oluwoonvu(valley) nga tasobola kugenda nabo eri omuzikiti gwaabwe, n'asaba nabbi صلى الله عليه وسلم عليه okumulambula mu nnyumba ye asaaliremu: asobole okufuula ekifo nabbi صلى الله عليه وسلم wasaalidde ewasaalirwa, nabbi صلى الله عليه وسلم najja nasaaliramu (mu nnyumba) eraaka bbiri.

Era nekifaanana bwekityo ye mayimuunah Allah asiime kuyye yali ayina wasaaliranga mu nnyumba ye,ne Ammar bun Yasir yali ayina wasaaliranga mu nnyumba ye,kitugwaanira okufuna ekyo kuyiga mu bigwaawo bino netubeera ne mizikiti /newetusaalira mu mayumba gaffe.

OBWETTEEKA BWE SSWALA YA JAMA MU MAYUMBA:

Esswala ya jama elagirwa mu mayumba mu kaseera nga waliwo ekisonyiyisa (excuse) okugisaalira mu muzikiti,era efunibwa nayo empeera za jama, kwanyweera okuyimirizaawo jama mu mayumba okuva ku kibiinja mu baswahaba nga Ibin masuud ne Anas Allah asiime kubombiriri nabatali bbo mu kaseera nga esswala ya imaam eyise/ tesaangiddwa(missed).

ANI AKULEMBEZEBWA KU BWA IMAAM?

Ejjama wesaalirwa mu nnyumba akulembezebwa ku bwa imaam ye nannyini nnyumba,waaba takulembezeddwa okugisaaza awo abasiinga okusoma ekitabo kya Allah, siinga baba be'nkaana awo abasiinga okumanya ennamula ze sswala, siinga baba be'nkaana awo abasiinga emyaaka.

EKIFO KYO MUGOBEREZI:

Omusiraamu wasaalira mu nnyumba ye omugoberezi waaba musajja ekiri Sunnah kwekuyimirira ku ddyo we(ddyo wa imaam) waaba nga ali omu, ate webabeera bangi ekiri Sunnah kwekuyimirira emabega we, omugoberezi waaba mukazi ekiri Sunnah ayina kubeera mabega, abasajja na bakazi webakunggana abasajja bayimirira mabega wa imaam ate bakazi bayimirira mabega waabwe

OMUKISA (CHANCE):

Ebizibu bino ebigwaawo mukisa munene tusobole okuyigiriza abantu baffe engeri ye sswala no bukwakkulizo bwaayo,ne nnamula yo kwetukuza ne bikakata mukkwo,netweelamira nabo kuyyo

ESSWALA YA BAKAZI EYA JAMA:

Jama ya Sunnah ku bakazi mu mayumba, olwo kunyweera kweekyo ku okuva ku ummu waraqah ne ummu salamah Allah asiime kubbo,ne jama yaabwe mulimu obulungi ne mpeera ewa Allah ne imaam waabwe abeera wakati wa lunyiriri (line).

OKWEETABA KWOOYO AKWATIDDWA OBULWADDE MU KIBIINJA OBA MU NKUNGANA ZA BANTU:

Tekikkirizibwa kwooyo akwatiddwa obulwadde obulwadde obusiigibwa okubeera mu nkungaana za bantu, olwo kuba mweekyo mulimu obubi eri abantu ne Allah agamba nti:(ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja na bakkiriza abakazi awatali kintu kyebakoze , mazima beetisse okutemerera ne'kibi ekyo'lwatu).(Al-ahzab 58).

Nemu mateeka ga Sharia agaddingganwa:teweekosaanga wadde okukosa abalala, tekikkirizibwa kwooyo akwatiddwa obulwadde buno okweetabika na balamu.mazima nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba:«omulwadde tasaanidde kuleeta bulwadde eri omuntu omulamu»(Al-bukhari 5771,ne muslim 2221).

OKWAMBALA AKAKOOKOLO(MASK):

Kitamwa ku muntu asaala okubikka ku mumwaagwe nga ali mu kusaala, nabbi صلى الله عليه وسلم ekyo yakiziyiza, naye mu kaseera ko bwetaavu oba mu kutya obubi bwe ndwadde mazima aba ayina okwambala ekifaanana obukookolo(masks) buno.

ENNAMULA ZO LUNAKU LWE JJUMA:

Mu mbeera yo kutaataganyizibwa kwe sswala ya jama, ennamula zo lunaku lwe jjuma zisigalawo,ne kusigalawo kusoma essuula ebbiri sajidah ne insaan,no kusaba mu kaseera ko kwanukulibwaamu akaseera akaseembayo oluvannyuma lwa aswri,no kuyitiriza okusaalira nabbi صلى الله عليه وسلم mu lunaku lwe jjuma,no kusoma surah kahfi; kubanga ekikolo ennamula zino zateekebwaawo mu busiraamu no butazitwaalira(obutaziteeka) ku sswala.

OKULEKA OKUKWAATA MU NGALO:

Okwekwaata mu ngalo ssunah, nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti «tewali basiraamu ababiri abasisiinkana ne bekwaata mu ngalo okujjako basonyiyibwa nga tebannaba kwawukana ».(Abu dauda 5212), siinga omusiraamu atya obulwadde olwo kukwaata mu ngalo kimumalira okutoola salaamu no mumwa,era nasuubira okumuwandiikako e mpeera yaakwo(okukwaata mu ngalo) nga Allah akkirizza

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار