Ekitundu ekiriwo kati: ENKOLAGANA Z'ABANTU MU BY'ENSIMBI
Omusomo Okupangisa
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Ye ndagaano ku mulimu, oba Ku mugaso ogukkirizibwa ogumanyiddwa nga guva mu kintu ekimanyiddwa,oba ekitendebwa nga kiri mu bukuumi nga kirina ebbaanga elimanyiddwa,no kukyuuka okumanyiddwa.
Ennamula yo kupaangisa mu mateeka go busiraamu
Bumu ku bujulizi obulaga nti okupaangisa kukukkirizibwa.
Hadiith nga Eva Ku Aisha Allah asiime kuyye -yagamba: omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم ne Abubakari baapangisa omusajja okuva mu kabira yaba ban diil,nga omulagirizi omulungi,yali ku ddiini ya bakafiiri abakuraish,nebamuwa engamiya zzaabwe ebbiri ,nebamusubiza nti bagenda kutwala engamiya zzaabwe mu lutalo lwe thawuli Oluvannyuma lwe biro bisatu,abawe engamiya zzaabwe Ku makya go lunaku olwo kusatu
Ekigeendererwa mu kukkiriza okupaangisa mu busiraamu.
Emiteeko gyo kupaangisa
Emiteeko gyo kupaangisa
Okupaangisa okweyawulidde
Kweeko okugatta (okutabika) mu kugasa abasiinga okusukka kwo'mu;nga okukola ebyuuma,no kukola ebya mazzi(plumbing),no'kusiiga langi(pigment) wamu no kutuunga, waaba yeebala mwebyo byakola era nga akkiriza emirimu okuva eyo aba ajisabye okuva gyali,nabwekityo apangisizza tayina kugaana gwapangisizza okukolera omulala,era omusaala (empeera) tegukakata okujjako ku mulimu (ogukoleddwa)
Empagi ze ndagaano yo kupaangisa
Abalagaana ababiri
Kitegeeza ,buli kikolwa ekinyweeza okwaatula endagaano mu mbeera ya mateeka ge nsi oba embeera ya bantu.
Omugaso
Kwekukyuuka okwo okuwa ekyenkana omugaso gwe bintu oba omuntu,kwekwenkana no muwendo oguli mundagaano yo kugula
Obukwakkulizo obutuusisa okupaangisa
Obudde bwe tteeka bwo musaala (empeera)go bupangisa.
Singa babeera basiimye ku kwanguya, oba okukereya,oba mu bitundu tundu kikkirizibwa,era gwebapangisizza empeera ye ebeera ekakase waba ajjuzza omulimu bulungi.
Singa okupaangisa kubeera ku kintu ekipangisibwa omusaala gukakata Oluvannyuma lwo kuganyulwa emigaso jaakyo, hadiith nga Eva Ku swahabah ayitibwa Abihurairah Allah asiime kuyye,ngajja ku nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«Allah yagamba: abantu bamuteeko essatu ngenda kubeekwatirako ku lunaku lwe nkomerero : omuntu eyaampa ate nanjijako ,no muntu eyatunda omuntu atali muddu nalya Omuwendo gwe(price) no'muntu eyapaangisa omukozi namukolera natamuwa musaala gwe».(Al bukhari 2227)
Embeera ezimalawo endagaano yo bupangisa
Okupaangisa tekusazibwaamu lwa kufa kwo mu kunjuuyi ebbiri,wadde okugulibwa kwe kintu ekipangisibwa, oyo yenna apangisa olwo ogweyawulidde Oluvannyuma naafa mazima okupaangisa kuba kusazibwaamu,wonna ebbaanga lyo kupaangisa weliggwera apangisa akijako omukono (akitabuti),naawaayo ekipangisibwa eri akipangisizza wekibanga kikyuusiddwa.